Ababaka bajuumuuse lwa ttaka lya ssomero
Akakiiko akakola ku kunoonyereza ku kibba ttaka ly’amasomero, akakulirwa Hon. Robert Migadde Ndugwa kavudde mu mbeera nekalagira police ekwate nannyini Kampuni ya Boost Investment olwokumenyawo essomero lya Nnaabagereka Primary School nga tebayise mu mateeka matuufu era n’akwatibwa.
Palamenti eyisizza ebbago
Akawungeezi ka leero Palamenti eyisizza ebbago ly’etteeka ery’okulwanyisa obutujju. Bino bikoleddwa wakati mu kuwakanyizibwa ab’oludda oluvuganya Gavumenti era beekandazze nebafuluma palamenti nti omuwendo teguwera okuyisa eteeka.
Expell Mbabazi From NRM
By Joshua Mutale A group of Kampala NRM Youth uder their Umbrella NRM Cadres 2014 have petitioned the NRM central executive commited demanding for the dismosal of former Secretary general Amama Mbabazi. The youth who are gathered at Nakivubo blue primary school have handed over their petition to the Youth and children Minister Hon Evlyn […]
Ekisiibo kitandika Lwakuna
Ekisiibo ky’abasiraamu mu nsi yonna kyakutandika olunaku olw’enkya ku lwokuna nga 18 / 06 / 2015. Wano mu Uganda kino kyakakasiddwa akulira Shariya Sheikh Ibrahim Yahaya Kakungulu ku Uganda Muslim Supreme Council.
Ba puliida bakyasoya ebibuuzo
Ba puliida b’abawawaabirwa mu musango gw’okutega Bbomu mu Kampala – Lugogo omwafiira abantu, bakutte olunaku olwokusatu nga basoya kajogijogi w’ebibuuzi omujulizi wa Gavumenti Nsubuga . Nsubuga ono yasooka kuba muwawaabirwa ate oluvannyuma n’afulibwa omujulizi. Ba puliida ba Kalebu Alaka.!!
Police ekyakola okunoonyereza
Police mu Disitulikiti ye Jinja mu gombolola y’e Buwenge ekyanonyereza oluvannyuma lw’omusajja amanyiddwa nga Micheal kintu eyetugidde mu nju lwa Muganzi we gw’abadde ayagala ennyo okumwabulira n’agenda n’omusajja omulala nga bategeka na kwanjula . Omusajja ono abadde muvuzi wa bodaboda na buli kasente ka’kola akawa mukazi ono.
Akutte owe 14 attiddwa
Omusajjja ow’emyaka 30 asangiddwa abatuuze ng’akabasanya omwana wa myaka 14 era nebamuligita emigoba nte egimututte ekalannamo. Police egenze okutuuka ng’awedde Bino bibadde Soroti og’omusajja abadde ayitibwa Dennis Onyara.
Ssaabalabirizi avumiridde okusuula abaana.
Ssaabalabirizi Kityo Luwalira – Namirembe avumiridde omuze gw’okusuula abaana, nti kikyamu ddala Bino abyogeredde ku Ssanyu Babies Home mu kukuza olunaku lw’omwana w’Africa leero Era asinzidde wano n’ategeeza nti ekkanisa ya Uganda etegese emisinde omunaava essente okukulaakulanya ekifo kino, era emisinde giggya kuba gya 10.000. okwetabamu.
Villa etutte Uganda cup
Akawungeezi ka Leero wali e Nambole Sports Club Villa ekubye KCCA goolo 3 ku 0 mu fayinolo za Uganda Cup Goolo za Villa ziteebeddwa: Waibi Yeseri, Nsubuga Augustine ne Kasule era n’ekwasibwa ekikopo kya 2015 UgandaCup .