Omusajja ow’emyaka 90 azirikidde mu kkooti e Ntebe lwa ttaka.

Ekiggunda Thenga thengeta ebula ennaku 29, okuthengeta

Thenga Thenga thengeta, e Nakivubo, just 29 days to go. nga 02 August, bino sibyakugeta.

Kooti eragidde UCC azzeeko TV ku Analog ezaggibwako.

Kooti eragidde UCC azzeeko TV ku Analog ezaggibwako, omulamuzi ku kooti ya Mwanga II road Samuel Kagoda alagidde ekitongole ekikola ku byempuliziganya kizzeeko Tv ku Analog.

Abali ebweru w’eggwanga tebagenda kulonda -Akakiiko k’ebyokulonda 2016.

Akakiiko k’ebyokulonda kagamba nti tekagenda kusobola kuteekawo nteekateeka esobozesa bali bweru wa ggwanga kulonda N’olwekyo tebagenda kulonda  mu kalulu akabindabinda aka 2016.

Besigye yewandiisizza mu kibiina okuvuganya ku Ntebe y’eggwanga 2016.

Eyaliko Pulezidenti wa FDC col Dr. Kiiza Besigye akawungeezi ka ggyo yewandiisizza mu kibiina okuvuganya ku Ntebe y’eggwanga 2016.

Obubenje buva ku kuvuga ndiima – aba UNRA.

Eng. James Okiror wa kitongole kya UNRA, agamba nti obubenje obugwa ku luguudo lw’e Masaka buva ku kuvuga ndiima, nti era abadereeva olulaba akaguudo akateredde nga bongeza. Eng. bino yabyogedde ng’asinziira ku kabenje akagudde wo ku luguudo olwo eggulo.

Eyali Katikkiro JB Walusimbi akukkulumidde abaasuula enkola y’omumuli.

Eyali Katikkiro wa Buganda Eng. JB Walusimbi akukkulumidde abaasuula enkola y’omumuli ye kennyini gyeyatandika nga akyali katikkiro. JB agamba nti enkola eno yali yaakuyamba enfuna y’amaka, yabadde ku e Kelezia e Nakulabye.

Sheikh Hassan Kirya Laid to rest at Nkoowe.

The body of Sheikh Hassan Kirya has been laid to rest today at Nkoowe Wakiso district. Sheikh Hassan Kirya has been the spokes person for kibuli and  he was shot to death last night at Bweyogerere.

Ettemu lyeyongedde, Omusajja ne Mukazi we basangiddwa nga battiddwa.

Kitalo ettemu mu Uganda lyongedde okwegiriisa, Omusajja ne Mukazi we basangiddwa nga battiddwa mu nju nga emirambo gyabwe gimaze ennaku eziwera. Bino bibadde mu Namagabi A mu Kayunga. I

Bikumi na bikubi bakunngaanye wali e Kibuli okukungubagira Sheikh Hassan Kirya

Ebikumi n’ebikumi by’abantu bakunngaanye e Kibuli okukungubagira Sheikh Hassan Kirya eyakubiddwa amasasi ku nkingiizi za Kampala e Bweyogerere Sheikh Hassan Kirya yaabadde omwogezi wa Kibuli.