Woman passenger dies in Bus
A woman passenger has died in Abus that was travelling from Buyende towards Kamuli. The body has been taken to Kamuli Mortuary. RIP.
Palamenti ewaddeyo kamera nnya eri e ddwaliro lya Mulago.
Enkya ya leero eddwaliro lya Mulago liweereddwa kamera nnya okuva eri Palamenti ya Uganda Kino kigendereddwamu kukendeeza ku kibba baana okuva mu ddwaliro lino. Kino kikuliddwamu omukubiriza wa Palamenti R. Hon Rebecca Kadaga.
Omusajja atemyeko munne omutwe naye nebamutemako ogugwe
Entiisa ebuutikidde abantu b’e Kajjansi ku luguudo lw’e Ntebe, omusajja bw’atemyeko mulirwana we omutwe ate naye abatuuze nebamutemako ogugwe, kati emitwe gyombi giri awo.
Police ezinzeeko ekizimbe ekiteeberezebwa okuyingirwamu ababbi e Kabalagala
Police enkya ya leero ezinzeeko ekizimbe ekiteeberezebwa okuyingirwamu ababbi. Ekizimbe kino kiyitibwa kings Gate okuli ettabi lya Crane Bank.
Nabbambula w’omuliro akutte ekizimbe mu nkambi y’amagye ey’e Nsambya
Enkya ya leero Nabbambula w’omuliro akutte ekizimbe mu nkambi y’amagye ey’e Nsambya n’aasaanyaawo ebintu bingi wabula mubabaddemu omwana ayidde naye ekirungi tafudde era addusiddwa mu ddwaliro. Nti ekizimbe ekirimu ekiwanvu ky’ekiyidde.
Akalulu ka LC kakusimba mu mugongo
Minisita wa Gavumenti ezebitundu, Adolf Mwesigye agamba nti Gavumenti terina sente zimala ku kalulu ka LC era kagenda kuba kaakusimba mu mugongo!
Ky’ekiseera okukyusa
Amama Mbabazi agamba nti kino ky’ekiseera Museveni okuwaayo entebe mu mirembe n’abalala bakwate enkasi.
Bannansi basaanye okutunuza eriiso ejjogi
Bannansi bakubiriziddwa okutunuza eriiso ejjogi ku buli bw’enguzi kubanga Uganda ekwata ekifo kyakumwanjo mu kugirya. Kino kisabiddwa ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi ekya TRANSPARENCY INTERNATIONAL
Gavumenti esabiddwa okuzimba laboratory
Ssaabawaabi wa Gavumenti Michael Kibita asabye Gavumenti ezimbe laboratory ezimala okwanguyizaako okunoonyereza.