Oluyimba lw’ekiggunda olwolunaku, Gyogenda
Oluyinba lw’ekiggunda leero mu pulogulaamu zonna, Gyogenda aka Phina Mugerwa okikola otya, :genda mu simu yo type – tune space teekawo 51575 sindika ku 170 osobola okuwangula ticket y’ekiggunda.
Palamenti emaze n’ekkiriza Digital
Kyaddaaki palamenti ekkirizza tookuva mu analog okudda ku the digital nga bweyali ekisimbidde ekkuuli okusooka. Era Minisita avuunaanyizibwa ku bya technology Hon, Nyombi Thembo asuubizza nti Gavumenti yaakuleeta obuuma obutali bwa buseere.
UPDF asuuzizaa Abayeekera ba LRA e
E eggye lya Uganda lisuuzizza abayeekera ba LRA Ebyokulwanyisa omuli Smg ne zi AK
Ekitebe kya Dp kirumbiddwa
Police egumbuludde abavubuka ababadde balumbye ekitebe kya Dp ku City house mu Kampala.
Kiggunda super count down 39 days
Kati tuzibalira ku ngalo anti Thenga thenga thengeta Nakivubo naki??????????????
Omusawo yasala omwana n’amutta
Kale kyewunyusa, omusawo e Jinja yasaze omwana n’amutta nga a zaalisa,!!!!
Ekiggunda ebula ennaku 40 zokka Thengeta
Kitokota bwekibimba nga buli muntu ali mu kayisanyo ka Kiggunda kati tubala ebula ennaku 40 zokka tuserengete e Nakivubo nga 02 / 08/ 2015 gwe osinga kwesunga ki?
Abasawo balaajanye e Mubende
Abasawo abazaalisa e Mubende balaajanye olw’embeera embi ennyo gyebakoleramu, nga namukyo abakyala abazaala beyongedde okufa , nga ebikozesebwa bya kkekwa ate nga ebiriwo byava dda ku mulembe, tewali mazzi gankalakkalira, leero kwegali enkya tegaliiko.
Ba kansala bavudde mu mbeera
Ba kansala ku lukiiko lw’e Ggombolola y’e Buwama batabukidde Ssentebe John Mary Luwakanya abalage ensaasaanya ya sente ku luguudo olwakolebwa mu ngeri ya gadibe ngalye, nga emigga gyakoleddwa bubi nnyo, kyokka. kino kizze oluvannyuma nga embalirira yayisibwa ya buwumbi 19 ate enguudo neziweebwako obuwumbi 4 bwokka.