120 bafudde ebbugumu

Museveni tagaba buyinza lwa kalulu

Eyali omukwanaganya w’ebitongole ebikessi mu gwanga General David Ssejusa agamba ti Pulezidenti Museveni tasobola kugaba ntebe lwa kalulu. Agamba nti embeera mbi ddala teyinza kusobozesa kulonda kwa mazima nebwaba awanguddwa tayinza kukkiriza.

Al Shabab erumbye Mogadishu

Abajambula ba Al Shabab balumbye ekibuga Mogadishu e Somalia emmundu n’etokota, amasasi negatotoogana ng’obukolwa. Mu kavuvungano ako abajambula bana nebattibwa ate abalala ne batwalibwa ntyagi!

Ebitone bikendeeza ebbula ly’emirimu

Amyuka Minista w’ebyenjigiriza ate era avunaanyizibwa ku by’ensoma ebya Primary Ho. JC Muyingo agamba nti ebbula ly’emirimu lisobola okukendeezebwa nga bakutte ku bitone. Bino yabyegedde nga aggalawo empaka z’emipiira wali e Zirobwe mu Luweero.

Chartered bank eyambye ba muzibe

Bank ya Standard Chartererd eyambye abaana abatalaba ng’eyita mukubawa ebintu eby’enjawulo okuyimirizaawo obulamu, Bino byakoleddwa ku mukolo ogwabadde e Jinja era abakulira ekibiina kya Uganda National Association for the Blind bagamba nti abaana bano baamugaso era balina byebasobola okukola ebiyamba eggwanga.

Omukago gw’abebibiina tegusobola kukola

Omubaka omukyala owa Kampala Nabila Nagayi Ssempala, agamba nti omukago gw’abebibiina tegusobola kubaako kyegukola, Nti abantu ab’olubatu basalirawo batya abangi mu kukola omuakago, Era Nagayi ayongerako nti takkiriziganya na ngeri kalulu ka FDC gyekakubwamu, nti kaalimu okugulirira abalonzi , okusuubiza abantu amasimu, okutambuza abalonzi gattako n’okumetta enziro.

Dp eweereddwa amagezi

Ekibiina kya Dp kiweereddwa amagezi okwetereeza naddala mu kaseera kano nga NRM yeyuzaayuza Amagezi gano gaaweereddwa Keneth Paul Kakande omwogezi w’ekibiina kino bwebaabadde ku mikolo gy’okulayiza abakulembeze e Ggaba.

Museveni asiimye ab’amakolero

Pulezideni Museveni asiimye bannamakolero naddala ag’ebyuma era na’abasuubiza okubayambako. Wabula abakubirizza okukola ebibiina eby’awamu basobole okuyitimuka . Munno mubaddemu Roofings, Steel Mills n’endala nnyingi!

EC eyanukudde Mbabazi

Akakiiko k’ebyokulonda kaanukudde ebbaluwa ya Mbabazi, Wano kalabudde Mbabazi okugoberera obulungi amateeka, obutakuba nkungaana za bantu bangi,ezitatwala budde buwanvu nnyo kubanga akaseera ka kampeyini tekannatuuka.

Ssejusa siwakukomya mirimu gya byabufuzi.

General David Ssejusa agambye nti siwaakuva mu mirimu gye egy’ebyobufuzi era eky’okumukwata kabonero akalaga nti NRM etandise okutiitira Bino abyogedde oluvannyuma lw’okukwatibwa ate n’ateebwa wali ku Police ya Jinja road nga talina musango gw’avunaaniddwa