Abawagizi ba Mbabazi bakwatiddwa
Abawagizi ba eyaliko Ssaabawandiisi wa NRM Amama Mbabazi e Mubende bakwatiddwa era nebaggalirwa oluvannyuma lw’okubasanga n’obufulaano nga buliko ebifaananyi bya Mbabazi.
General David ssejusa ateereddwa
Eyaliko omukwanaganya w’ekitongole ekikessi mu ggwanga General David Ssejusa akwatiddwa e ttuntu lya leero era n’atwalibwa ku police ya Jinja Road, Wabula oluvannyuma n’ateebwa nga tavunaaniddwa musango gwonna era n’ayolekera olukungaana lwa DP e Ggaba.
Gavumenti ezzeeko Tv zonna ezaasaliddwako
Palamenti esabye Gavumenti ezzeeko Tv zonna ezaasaliddwako paka nga Gavumenti yeetegese. Ababaka ab’enjawulo naddala ab’oludda oluvuganya Gavumenti omuli Cecilia Ogwal, Betty Nambooze, Wayira Majegere n’abalala bakolokose kino.
Gavumenti terina kyakubakolera
Minisita w’amawulire n’okulungamya eggwanga Hon Jim Muhwezi agambye nti Gavumenti terina kyakukolera baasalidwako Tv. Nti Gavumenti yateeka dda omukono ku ndagaano y’ensi yonna eragira emikutu okudda ku Digital. Ayongeddeko nti n’ebitundu ebitannasalwako bajja temweyibaala.
Ababaka bajuumuuse lwa ttaka lya ssomero
Akakiiko akakola ku kunoonyereza ku kibba ttaka ly’amasomero, akakulirwa Hon. Robert Migadde Ndugwa kavudde mu mbeera nekalagira police ekwate nannyini Kampuni ya Boost Investment olwokumenyawo essomero lya Nnaabagereka Primary School nga tebayise mu mateeka matuufu era n’akwatibwa.
Palamenti eyisizza ebbago
Akawungeezi ka leero Palamenti eyisizza ebbago ly’etteeka ery’okulwanyisa obutujju. Bino bikoleddwa wakati mu kuwakanyizibwa ab’oludda oluvuganya Gavumenti era beekandazze nebafuluma palamenti nti omuwendo teguwera okuyisa eteeka.
Expell Mbabazi From NRM
By Joshua Mutale A group of Kampala NRM Youth uder their Umbrella NRM Cadres 2014 have petitioned the NRM central executive commited demanding for the dismosal of former Secretary general Amama Mbabazi. The youth who are gathered at Nakivubo blue primary school have handed over their petition to the Youth and children Minister Hon Evlyn […]
Ekisiibo kitandika Lwakuna
Ekisiibo ky’abasiraamu mu nsi yonna kyakutandika olunaku olw’enkya ku lwokuna nga 18 / 06 / 2015. Wano mu Uganda kino kyakakasiddwa akulira Shariya Sheikh Ibrahim Yahaya Kakungulu ku Uganda Muslim Supreme Council.
Ba puliida bakyasoya ebibuuzo
Ba puliida b’abawawaabirwa mu musango gw’okutega Bbomu mu Kampala – Lugogo omwafiira abantu, bakutte olunaku olwokusatu nga basoya kajogijogi w’ebibuuzi omujulizi wa Gavumenti Nsubuga . Nsubuga ono yasooka kuba muwawaabirwa ate oluvannyuma n’afulibwa omujulizi. Ba puliida ba Kalebu Alaka.!!