Police ekyakola okunoonyereza

Akutte owe 14 attiddwa

Omusajjja ow’emyaka 30 asangiddwa abatuuze ng’akabasanya omwana wa myaka 14 era nebamuligita emigoba nte egimututte ekalannamo. Police egenze okutuuka ng’awedde Bino bibadde Soroti og’omusajja abadde ayitibwa Dennis Onyara.

Ssaabalabirizi avumiridde okusuula abaana.

Ssaabalabirizi Kityo Luwalira – Namirembe  avumiridde  omuze gw’okusuula abaana, nti kikyamu ddala Bino abyogeredde ku Ssanyu Babies Home mu kukuza olunaku lw’omwana w’Africa leero Era asinzidde wano n’ategeeza nti ekkanisa ya Uganda etegese emisinde omunaava essente okukulaakulanya ekifo kino, era emisinde giggya kuba gya 10.000. okwetabamu.

Villa etutte Uganda cup

Akawungeezi ka Leero wali e Nambole Sports Club Villa ekubye KCCA goolo 3 ku 0 mu fayinolo za Uganda Cup Goolo za Villa ziteebeddwa: Waibi Yeseri, Nsubuga Augustine ne Kasule era n’ekwasibwa ekikopo kya 2015 UgandaCup  .

akabenje kagoyezza abayizi

Akabenje kagudde ku kyalo Kigisu mu gombolola y’e Kigando kuluguudo lw’e Mubende era nekagoya abaana b’essomero  76 ababadde bagenda ku mikolo gy’omwana w’ Africa. A bamu bakukutuseeko emikono ate abalala amagulu.Kibi nnyo!

Muslims Urged to lookout for the Moon Tonight

  The Director of Sharia Uganda Muslim Supreme Council Sheikh Yahaya Ibrahim Kakungulu has advised Muslims in Uganda to watch for the moon today evening – June 16th 2015 since it is the 29th day of the Islamic Month of Shaban. “If the moon is sighted today evening, fasting will commence tomorrow Wednesday June 17th 2015. If the […]

Uganda commemorates Day of the African child 2015

Uganda today joins the rest of the world to mark the day of the African child a day commemorated every year on 16 June. Main celebrations are taking place in Kayunga under the Theme Accelerating our Collective Efforts to End Child Marriage in Africa” Almost two million Ugandan minors are forced or lured into alleged […]

KCCA ewadde nsaleesale

Ekitongole kya Kampala Capital City Authority kiwadde aba Lufula ye Nsoba ne Kisiita nsaleesale wa myezi mukaaga gyokka nga batereezezza eby’obuyonjo mu Lufula zaabwe. Kino KCCA ekikoze okusinziira ku bukyafu obukwatiridde n’ekivundu by’esanze bw’ebadde erambula lufula zino.

Ebisomesebwa bisaana bikyusibwe

Amyuka Minisita avunaanyizibwa ku matendekero aga waggulu, Kakensa Takboa agamba nti ebintu  ebisomesebwa abayizi bisaana bikyusibwe, essira lisinge kutteekebwa ku kutumbula bitone  okusobola okulwanyisa ebbula ly’emirimu . Bino yabyogeredde ku Cerena Conference Center mu lukungaana olw’okumala ennaku essatu.

Al Bashir akomyewo e sudan

            Pulezidenti wa Sudan Al – Bashir akomyewo mirembe  e Sudan okuva mu lukungaana lw’abakulembeze b’amawanga g’ Africa olwa 25 oluyindidde mu South Africa, kooti y’ensi yonna gyeyabadde eyagala akwatibwe. Atuukidde mu kibuga Khartoum nga bannansi nkumu bamulinze okumwaniriza.