Abakulembeze ba FDC balayiziddwa
Abakulembeze mu kibiina kya FDC abaalondeddwa mu bifo ebisoba 35 omuli Amyuka Pulezidenti, Ssaabawandiisi, Omuwanika n’ebirala balayiziddwa olwaleero era nga kino kikoleddwa Pulida Lwakafuzi.
Museveni ataddewo akakiiko
Pulezidenti Museveni ataddewo akakiiko kanoonyereze ku buli bwenguzi mu kitongole ky’ebyenguudo ( UNRA) era buli anaakwatibwako wakukajjuutuka.
Kooti esalawo leero.
Kooti ya South Africa esalawo leero okuwaayo Pulezidenti wa Sudan Omar El Bashir eri kooti y’ensi yonna ku misango egimuvunaanibwa.
NRM tetidde
Abakulembeze b’ekibiina kya NRM bagamba tebatidde ku biguddewo enkya ya leero Amama Mbabazi bw’alangiridde okwesimbawo mu kalulu ka 2016 okuvuganya Ku ntebe y’eggwanga. Ssaabawandiisi w’ekibiina Kasule Lumumba agamba nti omutnu waddembe okukola ekyo ky’ayagala naye ekijja kijje.
Mbabazi declares He will stand for President
After months of speculation, former prime minister and President Musevenis right hand man John Patrick Amama Mbabazi has finally declared that he will stand for the office of the presidency in the upcoming presidential elections. In another first, and probably to minimise interference, he used his social media account on Facebook and Twitter to announce […]
Akulira ababbi ba Piki yeetuze
Abadde akulira ababbi ba Piki piki e Tororo yeetugidde mu nju ya Mulirwana. Owere Yawerino myaka 37 yalabye poliisi ezze okumunona n’addukira mu nju ya Mulirwana neyeetugira omwo . Bino bibadde Tororo – Eastern Uganda.
Omar El – Bashir akwatibwe
Kkooti y’ensi yonna eragidde Gavumenti ya South Africa ekwate pulezidenti wa Sudan Umar El – Bashir avunaanibwe. nt kubanga kooti yamwetaaga dda era wetwogerera bino nga Bashir ali South Africa mu lukungaana lw’abakulembeze ba Africa bonna.
Nabbambula w’omuliro ayokezza ekisulo
Nabbambula w’omuliro ayokezza ekisulo ky’ssomero lya Highway ss Mubende,eky’abalenzi era ebintu byabaana bya bukadde bisirikidde mu muliro. okusinga ekisulo ky’abaana abalenzi s.3, s.4, ne s.6 byebikoseddwa.
Pope May Visit Uganda in November
The leader of the Catholic Church, Pope Francis has mentioned that he is planning to travel to Africa this November, in a trip that may take him to the Central African Republic, Uganda, and possibly Kenya. The Pope said this while attending a meeting with hundreds of priests from around the world participating in the […]