UCC egenda kutandika okukwata abasaasanya obutambi bwobuseegu – Bbosa

Gavumenti eyongere okusomesa abantu ku bulabe ku bubenje bw’emotoka z’amafuta – Joel Ssenyonyi

Akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti LOP Joel Ssenyonyi asaasidde nnyo abafamire ezafiiriddwako abantu abafiiridde mu muliro ogwakutte loole yamafuta eyagudde e Kigoogwa. Ssenyonyi asabye Palamenti okufuba okulaba nti Gavumenti eyongera okusomesa abantu bamanye obulabe obuli mu motoka nga zino nga zigudde era wano wasabidde ne Gavumenti okuyamba ku famire ezo ezafiiriddwa abantu baazo mu […]

Ssaabasajja Kabaka alambudde ettaka ly’e Kaazi okulaba embeera gye lirimu n’ebikolebwako

Kabaka yeebaziza Buganda Land Board okukola obutaweera okusazaamu ebyapa eby’ekimpatiira ebyaali bikoleddwa bannakigwanyizi ku ttaka eryo era n’agisaba okwongeramu amaanyi okukuuma ettaka ly’Obwakabaka mu bitundu yonna gye liri. Omutanda alambuziddwa atwala eby’amateeka mu Buganda Land Board Mw. Denis Bugaya, Ssejjengo Baker(akulira abavubuka mu Buganda, Ashraf Kizito nga ye muwandiisi w’olukiiko olukulu olwa Uganda Scouts and […]

Ababaka Palamenti okuva mu Buganda baagala Minisita Mayanja aggibwemu obwesige

Ababaka ba Palamenti abava mu Buganda nga bakulembeddwamu Omubaka wa Kalungu West, Joseph Ssewungu baagala Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyettaka Sam Mayanja aggyibwemu obwesige olw’okuvvoola Ssaabasajja Kabaka. Ababaka bano bagamba alinga gwebawendulira Buganda kubanga buli lwabeera mu nkuŋŋaana ze avvoola Ssaabasajja nebategeeza nti obujulizi obumuluma babulina. Ensonga zino bazanjulidde Sipiika Annet Anita Among mu […]

Tusiime ne Makawa bakyuusibwe batandike okukolera ku Palamenti – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among olunaku olwaleero alagidde Minisita avunaanyizibwa ku nsonga zomunda mu Ggwanga okukwatagana n’omuduumizi wa Uganda Police Force okulaba nti PC Tusiime Abdallah n’omusirikale omulala eyalabikira mu katambi ng’omukyala amukuba oluyi Makawa Charles okulaba nti bano bakyuusibwa batwalibwe ku Palamenti gyebaba batandika okukolera. Bya David Turyatemba #ffemmwemmweffe

Netonda ku lwabakyala bonna olwekikolwa kya Mercy – Hon. Namugga

Omubaka akiikirira Mawogola South Gorreth Namugga avuddeyo neyetonda ku lw’abakyala bonna mu Ggwanga olw’ekikolwa ekyakoleddwa Mukyala munaabwe Mercy Timbitwire, eyakubye omusirikale wa Poliisi y’ebidduka oluyi. Namugga ategeezezza nti eno si yenneeyisa y’Abakyala era kitugwanidde nga abantu okuwaŋŋana ekitiibwa nga tetusinzidde ku kikula kyamuntu.Bya David Turyatemba#ffemmwemmweffe

Musonyiwe Mercy olwekyo kyeyakoze banage – Hon. Agasha

Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Mitooma Hon. Juliet Agasha Bashiisha avuddeyo olunaku olwaleero nategeeza Palamenti nti Omukyala Mercy Timbitwire Bashiisha eyakwatiddwa olwokukuba omusirikale wa Poliisi y’ebidduka oluyi bweyetonze olwekikola ekyo nategeeza nti ku lunaku kino lwekyatuukawo yalina ebizibu ebyali bimusumbuwa. Ono ayongeddeko nti Mercy mulamu we nga mukyala wa Mwanyina, nti era olunaku lw’eggulo bweyatwaliddwa […]

Kivumbi Achileo Kkooti emukirizza okweyimirirwa

Olunaku olwaleero Kkooti y’Amaggye ekirizza Munnakibiina kya National Unity Platform Achileo kivumbi okweyimirirwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 2 ezobiliwo ate abamweyimiridde bbo obukadde 10 ezitali zabuliwo. Ono alina okulabikako mu Kkooti buli luvannyuma lwa naku 14 ku Lwokutaano nga takirizibwa kufuluma Kampala ne Wakiso nga tafunye lukusa lwa Kkooti. Munnamateeka era Omubaka wa […]

Situlina kyetusobola kukolera bafere akaseera kano – Bbosa UCC

Omwogezi w’Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bifulumizibwa ku mpewo ekya Uganda Communications Commission – UCC Ibrahim Bbosa agamba nti bakyasanga obuzibu okunoonya abafere abayingira mu mikutu gya Lediyo nebatandika okufera abantu. Bya Kamali James #ffemmwemmweffe

IGP asiimye musajja we PC Tusiime Abdullah

Omusirikale wa Uganda Police Force okuva mu kitongole ky’ebidduka ku Poliisi ya Kira Road Police Constable Tusiime Abdullah, asiimiddwa Inspector General of Police olwokweeyo mu mbeera yonna okuweereza Bannayuganda. Tumusiime yakwatibwa ku katambi ngayambako ebidduka ebyali mu kalippagano ngenkuba etonnya wiiki eyise. Bya Kamali James #ffemmwemmweffe