Abawagizi bange mwenna muwagire Taata mu 2026 – Gen. Muhoozi
Gen. Muhoozi Kainerugaba avuddeyo nategeeza ku mukutu ggwe ogwa X nga bwatagenda kwetaba mu kalulu kobwa Pulezidenti nti era azze mabega wa kitaawe Gen. Yoweri Kaguta Museveni. Ono asabye abawagize be mu PLU bonna okuwagira Kitaawe mu kalulu ka 2026. Kino kirekawa, Daudi Kabanda, Frank M. Gashumba, Balaam Ateenyi nabalala? #ffemmwemmweffe
Lwaki Sipiika atufuula abasiru? – Omubaka Alioni
Omubaka wa Aringa South Yorke Alioni avuddeyo natabukira Sipiika Anita Among gwagamba nti atuulidde ekiteeso kyabwe ekyokuggya obwesige mu Bakamisona ba Palamenti abegemulira akasiimo k’ensimbi ezisoba mu kawumbi 1. Ono agamba nti Ababaka 186 abateeka emikono ku kiteeso kino balina abantu bebakiikirira ababalonda nga basoba mu mitwalo 2 n’ekitundu nga bano bwobagatta baweza obukadde 4 […]
Olutindo lwa Karuma lwakuggalwa okuva nga 23 – September – Minisita Katumba
Minista avunaanyizibwa ku by’enguudo n’entambula Ge. Edward Katumba Wamala avuddeyo nalangirira ng’olutindo lwa Karuma bwerugenda okuggalwa okuva ku bbalaza nga 23-September-2024 nga tewali motoka yonna ejja kukirizibwa kuddamu kulukozesa. Minisita ategeezezza nti kkampuni eyaweereddwa kkontulakiti yakutandikirawo okumenya enkokoto okusobola okuddaabiriza olutindo luno era nga omulimu guno gusuubirwa okutwala emyezi 3. Abagoba bonna bakubiriziddwa okutandika okukozesa […]
Kitalo! Omukulu w’Ekika kye Kiwere afudde
Kitalo! Omukulu w’Ekika ky’Ekiwere, Omutaka Luwonko Mbale Zamuwanga James abuze. Gutusinze nnyo Ayi Ssaabasajja twakuumye bubi. #ffemmwemmweffe
Bbaasi za Jaguar ziyimiriziddwa okusaabaza abantu
Minisitule y’ebyentambula eyimirizza Bus za Kampuni ya Jaguar obutaddamu kusaabaza abantu okumala ebbanga lya naku kumi kisobozese Gavumenti okwongera okwekennenya omutindo gwabavuzi wamu ne bbaasi za kkampuni eno. Kino kiddiridde obubenje obweyongedde ku nguudo nga n’akakasembayo ke kabenje akagudde e Kabaale-Bugonzi ku luguudo oluva e kampala okudda e Masaka ku ntandikwa ya sabiiti eno bbaasi […]
Taata, Maama nabaana baabwe 2 abafiira mu kabenje e South Africa baziikiddwa
Famire y’abantu 4 abafiira mu kabenje mu Ggwanga lya South Africa okuli; Taata, Maama n’abaana baabwe 2 baziikiddwa omulundi gumu ku Kyalo Namyoya mu Disitulikiti y’e Mukono. Moses Ssemwogerere nga ye Taata, Maama ye Rebecca Arinaitwe, abaana baabwe Winfred Ssemwogerere 12, ne Samuel Ssemwogerere 2, akabenje bakafunira Eastern Cape Province e South Africa. Bya Latifah […]
Besigye ne Museveni bonna be bamu – Jack Sabiiti
Jack Sabiiti Munnakibiina kya Forum for Democratic Change; “Ekiruma Kizza Besigye nti ffe tulina ekkomo ku bisanja era tukiririzaamu nnyo. Kubanga yali alowooza nti ajja kukola nga Yoweri Kaguta Museveni bwakoze mu National Resistance Movement – NRM okubeera Pulezidenti ebbanga lyonna. Kyova olaba nti tugamba Besigye ne Museveni bebamu tebalina njawulo. Kyanaku nti abakulembeze abamu […]
Bobi Wine akyagaanye okutuwa sitaatimenti ye ku byaliwo – ACP Rusoke
Omwogezi wa Uganda Police Force ACP Rusoke Kituuma avuddeyo nategeeza nti bakyasanze akaseera akazibu mukunoonyereza kwabwe ku byaliwo e Bulindo Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine mweyafunira obuvune kuba agaanye okubawa obujulizi ku kyaliwo. Bya Kamali James #ffemmwemmweffe
Kitalo! Omusajja atamyeeko mukyala we omutwe e Katwe
Kitalo! Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango ategeezezza nga bwewaliwo ettemu eribadde e Katwe mu Kampala, omusajja ategeerekeseeko erya Kude ngali wakati w’emyaka 20-25 bwetamyeeko mukyala we Sharon Rukundo 19, omutwe. Bano nga batuuze b’omu Jjuuko Zone e Katwe mu Makindye Division nga babadde babadde mu bufumbo emyaka 2 nga balina n’omwana omu babadde […]