Bobi Wine yekoonye ku motoka bweyalinnye ebbali – Mwogezi wa Poliisi

Ogwa Achileo Kivumbi gwakutandika okuwulirwa nga 8-10

Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina National Unity Platform Shamim Malende era nga yomu ku Bannamateeka ba NUP ategeezezza nti olwaleero mu Kkooti y’amaggye e Makindye akulira ebyokwerinda mu NIP Achileo Kivumbi aleeteddwa navunaanibwa okusangibwa n’ebintu by’amaggye. Oludda oluwaabi lutegeezezza nti lumalirizza okukola okunoonyereza ngomusango gwakutandika okuwulirwa nga 8/10/2024. Kwo okuwulira okusaba kwokweyimirirwa kwa nga 17/9/2024. […]

Temugenda kuntiisatiisa njakukiggusa – Omubaka Lumu

Omubaka akiikirira Mityana South Munnakibiina kya Democratic Party Uganda agamba nti tagenda kutiisibwatiisibwa nekyokumusimbako omuntu nti ekifo nebakitwala yalima dda emmwaanyi ze ate Munnamateeka alina ekyokukola. Ono agamba nti tajja kuweera okutuusa nga agusizza ensonga ye. #ffemmwemmweffe

Kigambibwa nti Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine alumiziddwa mukavuvungano abawagizi be kebabaddemu ne Uganda Police Force e Bulindo. Kigambibwa nti yandiba nga akubiddwa essasi oba akaccupa ka tear ggaasi ku kugulu. Ebisingawo birindirire mu mawulire gaffe. Atwaliddwa mu Ddwaliro e Nsambya okulaba nti afuna obujanjabi. #ffemmwemmweffe

Mbirozankya tokyali mukulu wa Kika ky’Effumbe, walya nsowole – Kkooti ya Kisekwa

Kkooti ya Kisekwa eramudde ku bukulu Bw’Ekika ky’Effumbe, kya kufuna Omutaka omuggya oluvannyuma lw’okukizuula nti  Yusuf Mbironzankya abadde nsowole. Kino kivudde ku nsala y’omusango ogwawabwa Katikkiro we Ssiga lya Magunda, James Walusimbi Kisasa, n’abalala mu kkooti ya Kiskewa, okukizuula nti Omutaka Yusuf Mbironzankya tali mu buufu bwa Kisitu Ntege omuva oyo alya obwa Walusimbi. Kkooti […]

MTN etonedde Night Ampurire emotoka ekika kya Nissan

Kkampuni y’ebyempuliziganya eya MTN Uganda olunaku olwaleero eduukiridde omukyala Night Ampurire eyalabikira mu mawulire ga NTV Uganda ngavuga emotoka ekika kya Pickup okutambuza ebibala byatunda ku luguudo lw’e Ntebe okusobola okulabirira abaana be 5, Night yasaba omuzira kisa yenna asobola okumuwa emotoka kuba gyabadde akozesa nkadde nnyo era olwaleero MTN emuwadde emotoka ekika kya Nissan […]

Bannakibiina kya NUP 3 bakwatiddwa e Gulu

Ekibiina kya National Unity Platform kivuddeyo nekitegeeza nga Uganda Police Force olunaku lw’eggulo bweyasazeeko offiisi z’ekibiina kino mu Kibuga Gulu nekwata abantu 3 okuli; Mungu Brian, Sebastian Ogoni ne Ocira Boniface. Mungu ne Ogoni basimbiddwa mu Kkooti nebavunaanibwa emisango Poliisi gyegamba nti bagizza emyezi egiyise. NUP egamba nti oluvannyuma RDC wa Gulu yavuddeyo nategeeza nti […]

Ssali n’Ababaka 3 begaanyi emisango egibavunaanibwa

Okuwulira omusango oguvunaanibwa eyali Omuwandiisi omukulu mu Minisitule y’Ebyobusuubuzi Geraldine Ssali wamu n’Ababaka 3 ne Munnamateeka ogwokubba obuwumbi 7 nga ssente zino zaalina okuliyirira aba Buyaka Growers Cooperative Society gutandise okuwulirwa ku Kkooti Enkulu evunaana abali b’enguzi n’abakenuzi mu Kampala. Bano bonna begaanye emisango gino egibavunaanibwa mu maaso g’omulamuzi Jane Kajuga. Ssali avunaanibwa wamu n’omubaka […]

Gavumenti y’e Saudi Arabia edduukiridde ababundabunda mu Nakivale

Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku bibamba n’ababundabunda Lillian Aber, ne Ambassador Mohammed Bin Khalil Faloudah owa Kingdom of Saudi Arabia olunaku olwaleero basimbudde mu butongole obuyambi bw’emmere bokisi 12,700 ze ttani 342 nga zibalirirwamu akawumbi 1 mu bukadde 80 nga yakugabibwa eri ababundabunda mu nkambi y’e Nakivale Refugee Camp esangibwa mu Disitulikiti y’e Isingiro. Nakivale ekwata […]

Eng. Bbosa namutta kuwolera kuttibwa kwa Kitange – Tabula Luggya

Tabula Luggya omuntu omukulu mu musango gw’okutta eyali Omukulu w’Ekika ky’Endiga Eng. Bbosa olunaku olwaleero atwaliddwa mu Kkooti ya Mwanga II nasomerwa emisango n’oluvannyuma nasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuuka nga 3-Ocotber-2024 lwenadda mu Kkooti ne banne 5 olwo basindikibwa mu Kkooti Enkulu batandike okuwerenemba n’emisango. Ono awuliddwako ngawera nti bbanja lya mwenge […]