LOP Ssenyonyi agaaniddwa okuyingira offiisi za Roko

Shakib bubefuse ne Kazoora e Lugogo

Ekikonde kinyooka e Lugogo, Shakib wa Zari bugenda kumwefuka ne Kazoora. Abawagizi beyiye mu bungi naye kale waliwo eyabanoonya gyebuvuddeko ku mbaga yagundi temwalabika!? Nomubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende nowuwe tebalutumiddwa mwana. #ffemmwemmweffe Bya Nampala Yusuf

Abavubuka batemyetemye abatuuze e Mityana

Abavubuka nga 7 ababadde babagalidde ejjambiya nga bali wakati w’emyaka 19-20)2 nga babadde batambulira ku booda booda balumbye amaka ga Ssonko ngono yaddukanya essomero lya Dreams Primary School, e Mityana nebatematema bebasanze mu nnyumba noluvannyma nebakuliita ne ssente za School Fees zebabadde bakungaanyizza okuva mu bazadde. #ffemmwemmweffe

Sipiika wa Nakawa agabidde abaliko obulemu obuggaali

Sipiika wa kkanso ye Nakawa Luyombya Godfrey ngayita mu Kitongole kye ekya Godfrey Luyombya Foundation adduukiridde abantu abaliko obulemu n’obuggaali bubayambeko mukutambula okusobola okubaako kyebekolera mu bulamu. #ffemmwemmweffe

Poliisi eyodde abakedde okwekalakaasa

Ekibinja kyabalwanirizi b’obutonde bw’ensi 5 okuva mu Weka Afri Sustainable Biodiversity and Food Security bakwatiddwa ku Jinja Road bwebabadde bekalakaasa okulaga obutali bumativu bwabwe ku kusanyizibwawo kwolutobazi lwa Lwera ngomusango baguteeka ku basigansimbi okuva e China balimiramu omucceere. Bya Kamali James #ffemmwemmweffe

Kikafuuwe okulya ssente ya Museveni- Mabikke

Mike Mabikke ne munne Samuel Walter Lubega Mukaaku bavuddeyo nebasambajja ebyayogeddwa abakulembeze okuva mu Kibiina kya Democratic Party Uganda okuli Stephan Mayanja n’omwogezi w’ekibiina Kennedy Mutenyu nti bano bafunye ensimbi okuva mu kibiina kya National Resistance Movement – NRM nekigendererwa ekyokukyankalanya oludda oluvuganya Gavumenti. Mutenyu yasabye bano badde ebbali basobole okunoonyerezebwako. Mabikke ngasinziira ku kitebe […]

Kasasiro munoonye gyemumutwala – Mmeeya Kalema

Meeya wa Katabi Town Council Ronald Kalema agadde ekifo awayiibwa kasasiro e Nkumba oluvannyuma lwa Entebe Municipality obutavaayo ku byebakaanyako ne prime minister webabasisikana ku nsonga yakasasiro. Ebimotoka bya kasasiro okuli; ebya Uganda Police Force, Nabugabo Updeal, Domestic waste ne Homeklin ebibadde bitisse kasasiro bigaaniddwa okumuyiwa mu kifo kino. Meeya Kalema abalagidde okugenda bayiwale kasasiro […]

Lukwago ne banne batandiwe okunoonya emikono

Pulezidenti ow’ekiseera ow’ekibiina kya Forum for Democratic Change ekiwayi eky’e Katonga Erias Lukwago olunaku olwaleero alangiridde nga bwebatandise okukungaanya emikono okwetoloola Eggwanga lyonna okubasobozesa okuwandiisa ekibiina kyaabwe ekiggya ekya People’s Front for Freedom. Mu tteeka bano balina okukungaanya emikono 50 okuva mu Disitulikiti lwakiri 97 eza Uganda. Bya Nasser Kayanja #ffemmwemmweffe

Gashumba nkusonyiye – Katikkiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Nkyazizza Frank M. Gashumba, azze okwetonda olw’ebigambo eby’obusagwa by’amaze ebbanga ng’anjogerera. Agambye nti bwe yekkaanyizza ate n’olwo’kubuulirirwa omugenzi Arch. Cyprian Lwanga, Bp. Serverus Jjumba ne Jude Mbabaali n’alaba ng’abadde mu nsobi. Okwetonda nkukkiriza kubanga Kabaka yatugamba nti okwetonda kikolwa kya Buntubulamu.” #ffemmwemmweffe

Don Nasser aziddwayo e Luzira

Don Nasser aziddwayo ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 23-10-24 oluvannyuma lwa Uganda Police Force okutegeeza nti ekyanoonyereza ku bigambibwa nti akulusa abantu wamu nokusobya ku baana abawala. Bya Christina Nabatanzi #ffemmwemmweffe