Mpuuga ne banno ensala ya Kkooti mwagiggyawa nga Kkooti zaali mu luwummula – Gen. Ssejusa
Rtd. Gen. David Sejusa avuddeyo nakuba ebituli mu nsala ya Kkooti ku nsonga za Bakamisona abegemulira akasiimo; “Spire newuunya engeri Mpuuga ne banne gyebafunamu ensala ya Kkooti mu kaseera nga Kkooti yali mu luwummula? Nalina ebiwandiiko byenetaaga okuva mu Kkooti Enkulu, wabula nebatengeeza nzireyo wiiki eddako kuba Kkooti zaali mu luwummula. Naye olweggulo lwolunaku olwo […]
Sipiika wa Nakawa agulidde ba foot soldier ba NUP piki piki empya
Sipiika wa Kkanso ye Nakawa Luyombya Godfrey agulidde abawagizi ba National Unity Platform piki piki empya ttuku bano nga batuuze b’e Mutungo ngabasiima olwomulimu omulungi gwebakola okukunga abawagizi b’ekibiina. Ssenyonga Tom ne Ssenkuba Willy nga bano batambula kyalo ku kyalo ne bendera ya NUP ku piki piki yaabwe nga basaasanya engiri y’enkyuukakyuuka. #ffemmwemmweffe
Nebwanasalawo Palamenti kugituuza mu luguudo wakati ejja kutuula wo – Sipiika Among
Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among avuddeyo neyeyama okugenda mu maaso nokuyamba Famire y’omugenzi Jacob Oulanyah akaseera kanamala nga ye Sipiika wa Palamenti. Ono ategeezezza nti akyalinayo ekisanja ekirala kimu nga Sipiika era nga akola n’enteekateeka ezokusindika muwala wa Oulanyah, Katen Atim okugenda ebweru w’Eggwanga asome ‘Pediatrics’ kuba kino yakisuubiza kitaawe. Among ayongeddeko nti balayira […]
Jack Sabiti yafuna ssente okuva ewa Museveni – Wafula Oguttu
Eyaliko akulira Oludda oluwabula Gavumenti, Phillip Wafula Oguttu, avuddeyo nategeeza nti Ssentebe wa Forum for Democratic Change FDC ekiwayi eky’e Najjanankumbi yasisinkana Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni era nateesa ku ssente eziba zimuweebwa. Oguttu agamba nti Sabiti yasaba Rtd Col. Dr. Kizza Besigye okumweyungako bagende bonna ewa Pulezidenti Museveni abawe ssente kuba baali bakadiye nga tebakyalina […]
Nkiyita kwegemulira kuba muwa ekitiibwa naye amazima yabba – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Kituufu munaffe yegemulira obukadde 500, nkozesa ekigambo okwegemulira lwa kumuwa kitiibwa naye amazima gali nti yazibba. Omuntu gwenjogerako mutaayi waffe; nze nakulemberamu ttiimu eyamuteeka mu kifo ekyo era simulinaako buzibu bwonna nga omuntu. Twagala kukola kintu kituufu era tubeere ekyokulabirako kuba abantu batutunuulidde neriiso […]
Ekyatuukawo e Kiteezi bwali bulagajjavu bwa Gavumenti – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Bingi ebyali bisobola okukolebwa nga enjega y’e Kiteezi tenatuukawo. Gavumenti yali yetaaga obuwumbi 6 bwokka okukyuusa gyeyiwa kasasiro naye nebategeeza nti ssente ezo zaali teziriiwo. Naye nga ssente ezibbibwa buli wiiki zaali zisobola bulungi okukola ku kino. Kyanaku nnyo nyi twafiirwa abantu baffe.” #ffemmwemmweffe
Tusaba kutusonyiwa olw’abantu bammwe abattibwa – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku lw’eggulo yasisinkanye famire okuli ey’omugenzi Col. (Rtd). Charles Okello Engola Macodwogo ne Zebra Ssenyange abattibwa abasirikale ba UPDF mu butanwa nabetondera. Engola yali Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi, emirimu wamu n’amakolero so nga Ssenyange yali mukubi wa bikonde. Pulezidenti Museveni ng’omuduumizi wa w’eggye owokuntikko yatumya famire zino zombi okuzetondera […]
Nali mpoolera Bbosa ne famire ye batta kitange – Tabula Luggya
Tabula Luggya omuntu omukulu mubavunaanibwa okwenyigira mu ttemu lyeyali omukulu w’ekika ky’e ndiga Eng. Bbosa Kakeedo olunaku lw’eggulo yatwaliddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Ronald Kayizzi okukola ‘Extra judicial statement’ ngeno ekolebwa omuntu abeera akirizza okuzza omusango mu maaso ga Uganda Police Force awatali kumukaka. Ono omulamuzi yasoose kumutegeeza nti akimanye buli […]
Minisitule y’Ebyensimbi egenda kufulumya obuwumbi 10 – Kabanda
Omubaka Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM akiikirira Kasambya County Daudi Kabanda avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X nategeeza nga Minisitule y’Ebyensimbi bwerina enteekateeka yokufulumya ensimbi obuwumbi 10 buweebwe ekitongole ekimu so nga waliwo ebintu ebyenjawulo ebirala ebinyiga Eggwanga nga byetaaga ensimbi. #ffemmwemmweffe