Mungoba muleete ani ansinga – Dr. Mukiza

Okubeera n’omukyala nga temuli bafumbo mu mateeka gwandifuuka omusango

Mu bbago ly’obufumbo erya Marriage Bill 2024 eryatwalibwa mu Palamenti nga 3-October ebiteeso bingi ebyeyolekeramu omuli; 1. Okubeera n’omuntu nga temuli mu bufumbo bwamateeka/ okwewasa mu butongole musango. Oyo omusango gwegusinga asasule engasi yabukadde 10 oba okusibwa emyaka 3. 2. Okwefuula n’okumenya ekisuubizo kyokuwasa omuntu musango. Ekibonerezo oliwa ensimbi oli zasaazanyizza. 3. Singa muba musazeewo […]

Sipiika Luyombya adduukiridde essomero eryakwata omuliro

Sipiika wa Kkanso y’e Nakawa Godfrey Luyombya era nga yemutandisi wa Godfrey Luyombya Foundation, adduukiridde essomero lya Side View Nursery and Primary School erisangibwa e Mbuya mu Nakawa eryakwata omuliro gyebuvuddeko ebintu bingi nebyonoonebwa omwali n’entebe. Ono atonedde essomero lino n’entebe 100 okwo kwogatta n’ebintu ebirala ebikozesebwa abayizi mu kusoma. #ffemmwemmweffe

Nze sinywa mwenge – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Nze sinywa mwenge yadde, naye mpulira nti abantu bagwagala nnyo. Sisobola nakukwata ku ccupa yagwo y’esonga lwaki nsobodde okuweza emyaka 80 egyobukulu. Osobola okwongera omutindo ku matooke mu ngeri endala so ssi kugakolamu mwenge kyokka. Ebintu byonna ebikozesebwa abantu mu bungi nga amatooke, amata, emmwaanyi, kasooli n’omuwembe bisobola okwongerwako omutindo nebivaamu […]

Mulekerawo okwawulayawula mu mawanga – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Mulekerawo okwawulayawula mu bantu nga mwesigamye ku mawanga n’eddiini. Mwagale Uganda kuba mugyetaaga mu nkulaakulana. Yagala Afirika kuba ogyetaaga okugenda mu maaso. Twetaaga East Africa ne Afirika okugaziya akatale.” #ffemmwemmweffe #UgandaAt62

Ssekikubo avuddewo ne Sipiika Anita Among

Wabadde katemba atali musasulire mu lutuula lwa Palamenti olunaku lw’eggulo Omubaka Theodore Ssekikubu bweyagasimbaganye ne Sipiika Anita Among ngamulemesa okuleeta ekiteeso kye nga ye Sipiika ayagala kugenda kukiddako ku ‘order paper’. Ssekikubo yawaliriziddwa okuyimirira okumala akabanga ngayagala Sipiika amuwe omukisa okwogera ensonga ye. #ffemmwemmweffe #PlenaryUg

UNRA etandise okumenya ebizimbe ebiri mu road reserve

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority UNRA kikyagenda mu maaso n’okwerula ensalo z’enguudo zimwasanjala mu Ggwanga nga kyatandikidde Wantoni mu Mukono okumenya ebizimbe n’ebintu ebyateekebwa ku Road Reserve nga kati boolekedde Nakawa. UNRA egamba nti kino kikoleddwa okwerula oluguudo lwa Kampala – Jinja wamu n’okukisobozesa okukola emyala wamu n’ebifo abantu […]

Bano 5 mubayimbule tebalina musango – Ttabula

Abantu 5 abakwatibwa ku byekuusa ku kutemula eyali omukulu w’Ekika ky’Endiga Eng. Daniel Bbosa Kakeedo bavuddeyo nebasaba omulamuzi wa Kkooti ya Mwanga II okubayimbula kuba agambibwa okutegeka olukwe luno lwonna yakwatibwa era nakiriza nti yeyali omutwe omukulu mu kino. Bano bagamba nti bbo tebalina musango nti era tekiba kyabwenkanya okubakuumira mu kkomera sso nga balina […]

Ekiteeso kya Lumu mukireeta lwa busungu – Hon. Ssemujju

Omubaka akiikirira Kira Municipality avuddeyo nawakanya ekimu ku birowoozo ebiri mu bbago ly’Omubaka Lumu nategeeza nti kigenda kuteekawo ekyokulabirako ekikyaamu ennyo mu demokulasiya wa Uganda. Ssemujju agamba nti obutakkaanya bwebalina n’akulira oludda oluwabula Gavumenti si kyekirina okubasindikiiriza okukyuusa etteeka olwokuba tebamwagala. Ssemujju agamba nti Ekibiina ekisinga ku ludda oluvuganya kisinziira ku kalulu kabonna, wadde okiriziganya […]

Sipiika Among ne Munno mwagala tusooke kubooleza masowaani mu maka gammwe mulyoke muleete amabago gaffe? – Babaka

Ababaka bavuddeyo nebalumiriza Sipiika Anita Among wamu n’omumyuuka we Thomas Tayebwa nga bwebalina kyekubiira ku mabago agaleetebwa Ababaka ku lwabwe, nga nabamu batuuse n’okwebuuza oba nga balina kugenda ewa Among ne Tayebwa babooleze essowaani mu maka gaabwe oba batandika okwera mu mpya zaabwe nga kyekijja okubayamba nabo okubanguyiza ebiteeso byabwe nga bwebakoze ku kya Richard […]