Kivumbi Achileo asindikiddwa e Luzira
Akulira ebyokwerinda ku Kitebe kya National Unity Platform Achileo Kivumbi era nga yomu ku bakuumi ba Pulezidenti wa NUP Kyangulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine asindikiddwa ku alimanda mu Kkomera e Luzira okutuusa nga 2 August oluvannyuma lwokuvunaanibwa mu Kkooti y’Amaggye Makindye. Kigambiwa nti ono yasangiddwa ne nnyota z’eddaala lya Lt. Col. #ffemmwemmweffe Bya Christina […]
Poliisi e Tororo ekugge ffaaza ku byekuusa ku kufa kwomukozi wa URA
Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Tororo erina Reverend Father gwekutte neggalira agiyambeko mu kunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa mukozi w’ekitongole ekiwooza ky’omusolo ekya Uganda Revenue Authority (URA) John Bosco Ngorok, e Entebe mu Disitulikiti y’e Wakiso. #ffemmwemmweffe
Abayizi ba Pulayimale balumbye Poliisi nga baagala eyimbule omukulu w’essomero
Abayizi okuva ku ssomero eriyambibwako Gavumenti eyra Bumboi Primary School ettuntu lyaleero balumbye Poliisi y’e Busoba nga baagala eyimbule omukulu w’essomero lyabwe Mary Goretti Nelima. Nelima yakwatiddwa Poliisi ku biragiro bya RCC wa Mbale James Bwire Mbabazi ku bigambibwa nti asasuza abayizi ssente nnyingi wamu n’okugoba ababangibwa. Kyaddaaki Poliisi eyimbudde Nelima ku kakalu kaayo. #ffemmwemmweffe
Akulira abakuumi ku kitebe kya NUP awambiddwa – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine yavuddeyo nategeeza nga akulira ebyokwerinda ku kitebe kya NUP Achileo Kivumbi, bweyakwatiddwa abasajja ababadde babagalidde emigemera wala nga batambulira mu motoka ekika kya Noah nnamba UAP 164P nga kigambibwa nti bano bamugoberedde ngadda ewuwe. Kigambibwa nti aba Famire ye bagezezzaako okubabuuza wa gyebamutwala wabula […]
Ababaka 186 bebatadde emikono ku kiteeso – Ssekikubo
Omubaka wa Lwemiyaga County, Theodore Ssekikubo avuddeyo nafulumya olukala lwa Disitulikiti 37 nga agamba nti Ababaka abava mu Disitulikiti ezo bagaana okuteeka omukono ku kiteeso ekiggya obwesige mu Bakamisona ba Palamenti obwesige. Ssekkikubo ayongeddeko nti Ababaka abakiikirira Eggye lya UPDF mu Palamenti nabo bagaanye okuteeka omukono ku kiwandiiko kino nga kwekuli n’Ababaka abakiikirira abakadde so […]
Wagandya aleeteddwa ng’omujulizi wa Gavumenti mu gwokulya enguzi
Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe lyobuntu mu Ggwanga aka Uganda Human Rights Commission – UHRC Mariam Wangadya olunaku olwaleero aleeteddwa ng’omujulizi asooka mu Kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi okuwa obujulizi ku Babaka Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM 3 okuli; Cissy Namujju Dionizia , Paul Akamba ne Yusuf Mutembuli abavunaanibwa emisango gy’okulya enguzi nga kigambibwa nti […]
Ababaka begaanyi ekyokusaba enguzi okuva eri Wangadya
Ababaka ba Palamenti abasatu abakwatibwa ku bigambibwa nti bagezaako okusaba enguzi ya bitundu 20 ku 100 ku mbalirira y’Akakiiko akalera eddembe lyobuntu aka Uganda Human Rights Commission – UHRC nga bino byaliwo mu nsisinkano gyebalimu ne Ssentebe w’Akakiiko kano Mariam Wangadya bakomezeddwawo mu Kkooti y’Omulamuzi Lawrence Gidudu nebegaana omusango. Bano kuliko; Yusuf Mutembule , Paul […]
Uganda Museum egaddwawo okumala emyezi 10
Uganda Tourism Board-UTB evuddeyo netegeeza nti @Uganda National Museum bwegaddwawo okuva olunaku olwaleero okumala emyezi 10 kisobozese okugidaabiriza. Mu kiseera kino bagenda kugidaabiriza okugituusa ku mutindo. Jacline Besigye Nyiracyiza agamba nti ebintu ebirimu byakuggibwamu biterekebwe bulungi okwewala okubyonoona nga balongoosa era nasaba abalambuzi okukyalira ebifo ebirala mu Ggwanga ebyobulambuzi.
UNRA tusasule ssente zaffe – Abakozi abakola oluguudo lw’e Garuga – Gerenge
Abakozi abawerako abakola ku luguudo lwa Garuga-Gerenge oluwezaako kiromita 9 oluli mu kukolebwa enkya yaleero bakedde kwekalakaasa nga baagala ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority – UNRA okubasasula ssente zaabwe zebabanja okuva omwezi gwa Janaury so nga babadde bakola. Bano bagamba nti bewuubye ku offiiisi za UNRA ezenjawulo wabula nga […]