Tugenda kuddamu okwekalakaasa – Isa Ssekitto

Muhoozi awaddeyo ente 10 okutegeka emikolo gy’amatikkira

Bannakisinde ki Patriotic League of Uganda bakiise Embuga ne batwala ebirabo eri Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu kujaguza Amatikkira ge ag’omulundi ogwa 31. Bano baaniriziddwa Minisita ow’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda era Ssentebe w’enteekateeka z’Amatikkira Anthony Wamala. Bano bakulembeddwamu Micheal Toyota Kaguta, Minisita Balaam Barugahare, Hon. Daudi Kabanda n’abalala, bamukwasizza Ente 10 ng’ebirabo […]

Eyekalakaasiza ku Ekereziya e Lubaga ayimbuddwa

Namala Claire 25 yasimbiddwa mu Kkooti olunaku lweggulo navunaanibwa omusango gwokutaataganya emisa ku Lubaga Cathedral bweyakwata ekipande wabweru wa Ekereziya nawanika ekipande ngayagala Sipiika Anita Annet Among alekulire olwobuli bw’enguzi. Emisango yagyegaanye, era Omulamuzi Amon Mugezi namuyimbula ku kakalu ka Kkooti akatali kabuliwo ka kitwalo 50. Bya Christina Nabatanzi

Mpuuga ayagala bakendeeze ku Babaka bafuuke 360

Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform akiikirira Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nategeeza nga bwamalirizza okubaga ennongoosereza zaayagala zikolebwe mu ssemateeka wa Uganda ezekuusa kubyokulonda. Mu zimu kunsonga zayagala zikyuusibwemu Mpuuga ayagala omuwendo gw’Ababaka ba Palamenti gukendeezebwe okuva ku Babaka 559 okudda ku Babaka 360 kisobole okukendeeza ku muwendo gw’ensimbi ogusaasaanyizibwa ku Palamenti.

Byenayogera yali ndowooza yange wabula si bituufu – Dean Ssaava Lubowa

Akulira Oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform Joel Ssenyonyi avuddeyo nategeeza nti gyebuvuddeko yatwala mu Kkooti omuntu (Dean Ssaava Lubowa) eyali asaasanya amawulire ag’obulimba. Ssenyonyi agamba nti ekigendererwa kye yali ayagala ono aleete obujulizi ku byeyali ayogera bweyagamba nti alina wamu n’amaloboozi. Lubowa ngayita mu Bannamateeka be aba M/S Alaka and Co. Advocates […]

Bobi Wine ne famire ye batonodde Abatwa ttanka y’amazzi

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Emyezi egiyise, nze wamu ne Famire yange twakyalira ku bantu okuva mu ggwanga lya Batwa nga bawangalira mu Mpeerwa Camp e Nyakabande, mu Disitulikiti y’e Kisoro. Mu bizibu byebatubuulira mwemwali obuzibu bwokufuna amazzi amayonjo. Twabasuubiza okubayambako era olunaku lw’eggulo ttiimu yaffe yabatwalidde ttanka ya […]

Omubaka Malende asisinkanye Abakyala b’e Kibuli

Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Shamim Malende olunaku lweggulo yalumaze asisinkana bibiina by’Abakyala ebyokwekulaakulanya e Kibuli mu Makindye. Bateesezza ku nsonga eziwerako omuli; obuli bw’enguzi, ekiwamba bantu, emisolo egisukiridde n’ensonga ezekuusa ku kulaakulanya omukyala. Bamaama abasulirira okuzaala yabatonedde Mama kits era nabawaayo nakakadde 1 bakateeke mu kibiina kyabwe […]

Teri kuwandiisa bakozi ba Gavumenti bapya omwaka gwebyensimbi guno – Ramadhan Ggoobi

Omuwandiisi omukulu mu Minisitule y’ebyensimbi Ramadhan Ggoobi avuddeyo nategeeza mu mwaka gw’ebyensimbi 2024/25 Gavumenti eyimirizza okuyingiza abakozi abapya kababe nga ba Kkontulakiti oba nga bayise mu Public Service okuleka nga bajjuza kifo olwomuntu abaddewo okuba nga takyasobola kukola, awateereddwa ssente okufuna abasomesa wamu n’abasawo abali wansi wa Pulogulaamu ya UGIFT mpozzi nabo abafunye olukusa okuva […]

Mwe abagamba nti babasiyigira mu Poliisi mujje muwaabe – ACP Kituuma

Omwogezi wa Uganda Police Force ACP Kituuma Rusoke avudddeyo nawanjagira abo bonna abakwatibwa mu kwekalakaasa abagamba nti bwebaali mu buduukulu bwa Poliisi obwenjawulo bakolebwako ebikolwa ebyensonyi omwali n’okubavuga empanka okuvaayo mu bunnambiro bagende baggulewo emisango ku Poliisi ebali okumpi.

Bannabitone mukimanye nti obumanyifu tebujjira mu mwezi – Katikkiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Bannabitone basaana okukimanya nti obumanyifu tebujjira mu mwezi oba mwaka gumu, butwala ebbanga, n’olwekyo beewale eby’okucamuukiriza. Iryn Namubiru amaze ebbanga ng’ayimba, n’akuza ekitone kye, era ayoolesezza obumanyirivu ng’olaba buli muntu asiima nga n’ennyimba ze abantu bazimanyi. Tukubiriza Bannabitone okuggyayo bye bakola mu ngeri esaanidde awatali kuwemula oba kwambala bubi.”