LOP buli kimu akiwakanya – Hon. Alyek
Omubaka omukyala owa Disitulikiti ye Kole, Judith Alyek Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM yavuddeyo nayambalira akulira Oludda oluwabula Gavumenti Joel Ssenyonyi olwokuvaayo nategeeza nti ensimbi obuwumbi obugenda okusaasanyizibwa ku buli lutuula lwa Palamenti mu bitundu by’Eggwanga ebyenjawulo kuba kwonoona ssente ya muwi w’omusolo nga zandibadde zeyambisibwa ku bintu ebigasa abantu; “Kwonoona nsimbi ki […]
Tebibadde byangu baloopa ne NCHE okunemesa okutikkirwa – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Amawulire g’okutikkirwa kwange bwegafuluma, nga bulijjo abavaayo okugezaako okunnafuya nebavaayo, nebatandika okukola ekisoboka okulaba nti sotikkirwa. Abamu nga bamanyiddwa nti bakolera Gavumenti bagenda mu National Council for Higher Education. Abakungu okuva mu NCHE bagenda ku University nebasaba babawe ebiwandiiko ebikwatagama n’okusoma kwange okwali kwenasabira […]
Temuteka by’amawanga mu nsonga nkulu – LOP Ssenyonyi
Akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Joel Ssenyonyi avuddeyo nasaba Ababaka aba mu Mambuka abasunguwadde olwebyo byeyayogedde ku ntuula za Palamenti okuzitambuza mu bitundu eby’enajwulo obutatabinkirizaamu byamawanga nti wabula batunuulire ensonga eno mu ngeri eyekikulu nti singa nga ddala bagezaako kulwanyisa bwavu mu bitundu byabwe, bandibadde bateesa nti obuwumbi 5 obugenda okusaasanyizibwa ku lutuula luno […]
Sipiika alina obuyinza okutwala Palamenti wonna wayagala – Tayebwa
Omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa avuddeyo nawolereza ekya Palamenti okutwalibwa mu bitundu by’Eggwanga ebyenjawulo nategeeza nti Sipiika alina obuyinza okusalawo wa Palamenti wetuula nti era y’ensonga lwaki Palamenti ezze etuula ku Serena, e Kololo n’ebifo ebirala. Ayongeddeko nti Ababaka tebafangayo kukubaganya birowoozo ku kukyuusa ekifo werina okutuula. Tayebwa era asambagizza ebigambibwa nti Palamenti yakukozesa obuwumbi […]
Agambibwa okukuba omuyindi namubbako ebibye ku ESO Corner asindikiddwa e Luzira
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Jalia Basajjabalaba olunaku olwaleero asindise ku alimanda omuvubuka Mubaraka Sharayimu aka Musiraamu Mudandiri 24 ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 21 – August nga kigambibwa nti ono yali omu ku kibinja ky’ababbi abalumba Munnansi wa Buyindi ku ESO Corner mu Kampala nebamubkuba wamu n’okumubbako ebintu bye. Mubaraka […]
Bobi Wine bwomaliriza emisomo ku LDC tuyinza okukuwa omulimu – Dr. Baryomunsi
Minisita wa ICT Dr. Chris Baryomunsi; “Ntwala omukisa guno okuyozaayoza Bobi Wine. Osanga bwanaaba amaliriza ku LDC, tuyinza okutunula ekyokumuwa omulimu mu Offiisi ya Attorney General.” Bino Minisita Baryomunsi abyogeredde ku matikkira ga Cavendish University Uganda, Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine mwatikiriddwa Ddiguli mu mateeka. #ffemmwemmweffe
Mutembuli bamwanirizza mu mizira e Butaleja
Waliwo ekibinja ky’abantu okuva mu Disitulikiti y’e Butaleja abeyiye ku nguudo okwaniriza Omubaka wa Bunyole East, Yusuf Mutembuli nga bamukirisa okuva mu kkomera e Luzira gyabadde ku alimanda kumpi okumala emyezi 2 ku misango egyekuusa ku buli bw’enguzi. Mutembuli n’Ababaka abalala okuli; Paul Akamba owa Busiki County n’Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Lwengo Cissy Dionizia […]
Cheptegei ne Kiplimo tebagenda kwetaba mu misinde enkya
Ekibiina ekitwala emisinde mu Ggwanaga ekya @Uganda Athletes Federation kivuddeyo nekitegeeza nemunyeenye za Uganda mu misinde Joshua Cheptegei ne Jacob Kiplimo bwebatagenda kudduka mu misinde egya mita 5000 egiddirira egyakamalirizo olwobukoowo bwebafuna okuva mu misinde egya mita 10000 ngemibiri gyabwe gyetaaga okuwummula ekimala. Oscar Chelimo wakuzetabamu yekka. #ffemmwemmweffe
Tetugenda kwenyigira mu ntuula za Palamenti ezomubitundu – LOP Ssenyonyi
Ababaka mu Palamenti okuva ku ludda oluwabula Gavumenti bakombye kwebaza eriibwa nti kikafuuwe tebagenda kwetaba ntuula za Palamenti ezigenda okutambuzibwa mu bitundu by’Eggwanga ebyenajawulo. Okuva nga 28 August okutuusa nga 30 entuula za Palamenti zakutandikira mu Kibuga Gulu olwo entuula endala zitwalibwe mu bitundu ebirala. Mu lukiiko lwa Bannamawulire olwayitiddwa akulira Oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina […]