

Nali ntuukiriza mulimu ggwange ngomukulembeze – Churchill Ssentamu
Mutabani wa Ssaabakunzi wa National Unity Platform Nyanzi Fred Ssentamu, Ssentamu Churchill James nga ye Guild President wa Makerere University avuddeyo nayanukula ababadde bamunenya olwokubeera ku mukolo gwegumu ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni nalabikira ne mu kifaananyi. Ono agamba nti yabadde atuukiriza buvunaanyizibwa bwe ngomukulembeze w’abayizi era talina musango gwonna gweyakoze. Bya James Kamali #ffemmwemmweffe

Besigye ne Lutale bagaaniddwa okweyimirirwa
Kkooti Enkulu mu Kampala egaanye okusaba okwateekebwayo Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye wamu n’omuyambi we Hajji Obeid Lutale Kamulegeya okwokweyimirirwa netegeeza nti emisango egibavunaanibwa egyokulya mu nsi olukwe gya nnaggomola. Omulamuzi Rosette Kania ategeezeza nti yadde Besigye ne Lutale bawadde ensonga ezimatiza kwossa n’okuba nti balina amaka mwebabeera agamanyiddwa ssaako nababeyimirira abensa nti wabula ensonga […]

Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek. Anthony Wamala alambudde Amasiro ga Ssekabaka Namugala e Kitala Muyomba mu Busiro.
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek. Anthony Wamala alambudde Amasiro ga Ssekabaka Namugala e Kitala Muyomba mu Busiro. Owek. Wamala asanyukidde nnyo omulimu gw’okuyoyoota amasiro gano mu ngeri ey’omutindo ky’agambye nti kyakwongera okwagasiza abantu ennono yaabwe. Asinzidde wano n’asaba Abalangira okunyweza obukulembeze mu Lulyo Olulangira okusobola okufuna enkulaakulana ey’omuggundu. Jjajja w’Olulyo Olulangira, Omulangira Basajjansolo Luwangula akubirizza Abalangira […]

Pulezidenti Museveni awadde Ababaka obukadde 100
Waliwo ebigambibwa nti waliwo Ababaka ba Palamenti Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM, ba Independent wamu nabamu okuva mu bibiina ebivuganya Gavumenti abafunye obukadde 100 buli omu ng’ekirabo nga kigambibwa nti zavudde wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni. Kigambibwa nti ssente zino bazikimye wa Nampala wa Gavumenti mu Palamenti wakati w’essaawa 2 ezekiro ne 3 […]

Registrar wa NRM e Ibanda akwatiddwa Poliisi ku byekuusa ku kufa kwa Mukyala we
Poliisi e Ibanda yakutte Amwiine Innocent ngono Registrar wa National Resistance Movement – NRM kubigambibwa nti yakuba mukyala we Amanya Macklline Human Resource Officer owa Ibanda Municipality bubi nnyo oluvannyuma namusibira mu nnyumba okumala enaku, nga kigambibwa nti yali amulowoleza okwenda. Taata wa Macklline yeyamutaasa namuddusa mu ddwaliro. Amanya yafuna ebisago ebyamaanyi naddusibwa mu ddwaliro […]

Tugenda kukwata buli eyenyigidde mu kutta omusirikale waffe – Kituuma
Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma avumiridde ekikolwa ekyakoleddwa abatuuze e Ibanda abakubye omusirikale No. 75290 PC Chemonges Suleiman, 28 eyabadde agenze okuwa obukuumi mukuziika omusibe Kahangire Lazarus, eyafiira mu kkomera lya Nyabuhikye Government mu Disitulikiti y’e Ibanda. Rusoke ategeezezza nti abo bonna abenyigidde mu kikolwa kino ekyettima bakukwatibwa era bavunaanibwe. #ffemmwemmweffe

29 bakwatiddwa Poliisi ku byekuusa ku kutta omusirikale e Ibanda
Uganda Police Force e Ibanda evuddeyo netegeeza ngabwekutte abantu 29 kubikwatagana n’okutta omusirikale wa Poliisi PC Chemonges Suleiman 28, okuva ku Bisheshe Police Station eyabadde asindikiddwa okuwa obukuumi mu kuziika omusibe Kahangire Lazarus eyafiiridde mu kaduukulu ke Kkomera lya Nyabuhikye Government Prison Kahangire yali asindikiddwa ku alimanda kubigambibwa nti yagezaako okutemula omuntu mu bukuubagano bw’ettaka […]

Omubaka Rukaari abatuuze bamugobezza emiyini n’enkumbi byabadde abatwalidde
Abatuuze be Bunusya Ward mu Mbarara City North Division bavudde mu mbeera nebagoba Omubaka waabwe Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM, Robert Mwesigwa Rukaari nebazira n’enkumbi zeyabadde aleese okubagabira nga bamulanga obutatuukiriza bisuubizo byeyakola nganooya akalulu ka 2021 omwali obatuusiza amasanyalaze mu kitundu kyabwe. Rukaari nga kino kyekisanja kye ekisooka abadde nga awagira ebyobulimu […]

DPC Tyson lumba nze butereevu – Rtd AIGP Kasingye
Eyaliko omwogezi era Chief Politica Commisar wa Uganda Police Force Rtd. AIGP Asan Kasigye, avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X nalaga obutali bumativu bwe eri DPC wa Kira Road Police Division Tyson Rutambika ggwagamba nti asusse okumusojja oluwonzi. Kasingye agamba nti abadde akigumidde ebbanga naye kisusse. Kasingye agamba nti Rutambika atiisatiisa abakozi be mu kkampuni […]