Abakulu mu Poliisi basisinkanye omukyala eyakuluddwa mu katambi
Director of Operations AIGP Mwesigwa Frank olunaku olwaleero asisinkanye mukyala Adrian Victoria eyalabiddwako mu katambi ngakululwa mu bitaba abasirikale ba Uganda Police Force wamu ne muwala we nga bano ensisinkano ebadde ku Regional headquarters e Mbarara. Alagiddde bakole alipoota enzijuvu ku nsonga eno. Mu lukiiko luno mubaddemu ne Deputy Director of Human Rights & Legal […]
Birds of the same featjers… – Alien Skin
Patrick Mulwana aka AlienskinUg olunaku olwaleero akoze endagaano n’ekisinde kya Democratic Alliance (DA) ekirangiriddwa Omubaka Mathias Mpuuga Nsamba; “…lwakuba mukulu wange ebigambo byayogera byabuvunaanyizibwa …kazzi nange byenjogera byabuvunaanyizibwa naye biyisaamu amaaso. Sigenda kubawa mpoozi zemwagala kuwulira, sigenda kuyisaamu muntu yenna maaso yadde gwengenda okunyomoola……….naye ate olumu tetukozesebwa mu kulumba bantu era tetufunangayo kadde kafumintiriza nti […]
Bakutte omusaabaze n’emmundu mu Kisenyi Bus Terminal
Abebyokwerinda mu Kisenyi Bus Terminal bakutte omusaabaze abadde n’emmumdu ekika kya sub-machine gun (SMG) n’amasasi 24, magazine endala 2 ezijjudde amasasi, ejjambiya 3 wamu ne liita 1 eyamafuta ga petulooli nemiguwa.Akwatiddwa ye David Tumwine aka Busoni, ngabadde ava Kyotera ngayolekera mu Disitulikiti y’e Busia.Ono akujmirwa ku Poliisi ya Old Kampala gyatwaliddwa annyonyole gyabadde atwala emmundu […]
Kitalo! Ettabi liwaguse ku muti gwa Nakayimba lisse 4
Kitalo! Abantu 4 bebakakasiddwa okuba nga baafudde oluvannyuma lw’ettabi ku muti ogwebyafaayo oguyitibwa Nakayima ogusangibwa ku lusozi Bbooma okuwaguka nerikuna abantu abasoba mu 10. Kigambibwa nti enjega eno yaguddewo lunaku lweggulo ku ssaawa nga 12 ezokumakya, ngabakoseddwa bebamu ku bantu ababadde betegekera omukolo ogubadde gulina okubaawo olwaleero nga basiima Maama Nakayima. Abebyobuwangwa ku lusozi Bbooma […]
Hajji Ali Mwizera ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti
Kyaddaaki Hajji Ali Mwizera akiriziddwa Kkooti okweyimirirwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 2 ezoobuliwo. Ono agugulana ne Mukyala we Hajati Zuula eyavaayo namuwawabira nti yagwenyuuka neyebaka ku muwala we atanetuuka nti era n’obujulizi yali abulina. Bya Christina Nabatanzi #ffemmwemmweffe
Omukolo gwa DP-Bloc okulangirira ekiddako gwankya
Aba DP-Bloc bavuddeyo olunaku olwaleero nebategeeza ng’enteekateeka z’omukolo kwebagenda okulangiririra ekiddako olunaku lw’enkya ku Malibu Gardens e Namirembe – Bbakuli ziwedde era ng’olunaku olwaleero abakulu mu Uganda Police Force batuuseeyo okulambula ekifo. Omubaka wa Nnyendo – Mukungwe Owek. Mathias Mpuuga Nsamba ye mugenyi omukulu. Bya Nasser Kayanja #ffemmwemmweffe
Kekaseera Bannayuganda mukwasize wamu tweyambule Gavumenti – Norbert Mao
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyamateeka n’essiga eddamuzi era Pulezidenti wa Democratic Party Uganda Norbert Mao; “Kifuuse kizibu okubeera mu Uganda enaku zino olw’ebbeeyi y’ebintu eyekanamye, so nga sukaali akolebwa wano. Kyanaku nti Bannansi basibiddwa emikono nga babanika emisolo emiyitirivu. Mu byonna ekisinga kwekuba nti tebalina mirimu ekibaviiriddeko okubeera mu bwavu obutagambika mu bitundu by’Eggwanga ebyenjawulo. […]
Besigye ne Lutale babazizzayo mu kkomera
Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye ne Hajji Obed Lutale Kamulegeya baziddwayo ku alimanda mu kkomera okutuusa nga 10 December, 2024. Bannamateeka baabwe basabye Kkooti ebawe akadde basobole okufuna satifikeeti eyekiseera eya Munnamateeka waabwe abakulira ku musango guno Martha Karua. Kino kidiridde ensinsikano etakiriziddwamu bamawulire wakati wa Besigye ne Bannamateeka be nga ekulungudde eddakiika 30. Bya […]
Abamaggye bawambye ensawo ya Munnamateeka Karua
Executive Director wa UNAIDS era mukyala wa Dr. Kizza Besigye, Winnie Byanyima avuddeyo nategeeza nga abebyokwerinda ku ggeeti ya Kkooti y’amaggye e Makindye bwebawambye ensawo ya Munnamateeka Martha Karua wabula oluvannyuma lwokwogerezeganya okumala akabanga wamu n’abasirikale bano okukuba amasimu agawerako mu babakulira bamuddizza ensawo ye. #ffemmwemmweffe