Omubaka Zzaake ne banne bayimbuddwa

Lubega Obed aka Reign ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti

Omubaka omukyala owa Kampala era Munnamateeka Hon. Shamim Malende avuddeyo nategeeza ng’Omulamuzi wa Kkooti ya Mwanga II e Mengo akirizza Lubega Obed aka Reign okweyimirirwa ku kakalu ka Kkooti ka Kakadde kamu akobuliwo ate abamweyimiridde obukadde 10 buli omu ezitali zabuliwo. Ono avunaaniddwa omusango gwokugezaako okuzza omusango kwokusaasaanya obubaka obwobulabe.

Abakedde okwekalakaasa bakwatiddwa Poliisi

Waliwo Abavubuka abakwatiddwa abebyokwerinda mu Kampala enkya yaleero nga bano babadde bavuddeyo okwekalakaasa ngabalaga obutali bumativu bwabwe ku buli bw’enguzi obukudde ejjembe mu Ggwanga nga babadde boolekera Palamenti. Bano babadde n’ebipande nga bawandiiseeko ebigambo nti Sipiika wa Palamenti alina okulekulira. Bano babadde batambula okuva mu Nasser Road nga boolekera Palamenti. Bano babakwatidde ku Railway Grounds.

Pulezidenti nnyamba abaana bangoba mu nnyumba – Winfred Rurangaranga

Mukyala w’omugenzi Maj. Edward Rurangaranga eyali Munnakibiina kya Uganda Peoples Congress Official, Winfred Rurangaranga, avuddeyo neyekubira enduulu eri Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ayingire mu nsonga ze kuba waliwo abaana bamuggya we abesomye okumugoba mu maka agasangibwa e Rukondo, Kitagata Town Council, mu Disitulikiti y’e Sheema, Ono agamba nti obuzibu buva kwani alina okuddukanya ebintu byomugenzi […]

Bannayuganda mwebale butenyigira mu kwekalakaasa – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Njagala okuyozayoza ebitongole b’ebyokwekrinda wamu ne Bannayuganda olwobutenyigira mu kwekalakaasa okubi okwabadde kutegekeddwa ku lwokubiri. Okwekalakaasa okwo kwabaddemu ebintu ebibi 2; ekisooka Abazungu bebabadde bakutaddemu ssente nga bamaze ebbanga nga beyingiza mu nsonga za Afirika. Ekyokubiri, abategeka okwekalakaasa kuno nabo abakwenyigiramu baali bategeka okukola ebintu ebikyaamu ku Bannayuganda.”

Agambibwa okulya omwana ow’emyaka 16 ebisiyaga asindikiddwa e Luzira

Waliwo omukozi w’ekitongole ekyobwannakyeewa ekimu e Kanyanya mu Gombolola y’e Kawempe Kavuma Godfrey asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti y’e Kasangati nasomerwa omusango gwokusiyiga omwana ow’emyaka 16 ngamusiiga yoghurt emabega. Kigambibwa nti oluvannyuma lwokwekubira enduulu ku Poliisi Kavuma n’ekitongole kye bajjanjaba omwana ono eyali avuddeyo ekyenda nekiddayo naye nga mukaseera kano takyasobola kutuula ku kintu […]

Pulezidenti alagidde CID ekwate abakozi ba Gavumenti abatondawo abakozi abataliiyo

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alagidde ekitongole kya Uganda Police Force ekyabambega ekya Criminal Investigations Directorate (CID), okunoonyereza wamu n’okuvunaana abakozi ba Gavumenti bonna abenyigira mu kutondawo enkalala z’Abakozi ba Gavumenti abataliiyo wabula nga basasulwa omusaala okuva mu Gauvmenti.

Bannakibiina kya NUP abakwatiddwa enkya yaleero basindikiddwa Luzira

Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo ku banaabwe abakwatiddwa olwaleero okuva mu Kitebe; “Zibadde zigenderera okuwera ssaawa emu eyekiro, banaffe abakwatiddwa okuva ku kitebe kya NUP basimbiddwa mu Kkooti ya LDC nebasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira. Tugezezzaako okubeyimirira wabula Kkooti netegeeza nti babadde betaaga obudde obumala okwanukula. MP Zaake Francis […]

PS Geraldine Ssali asindikiddwa mu Kkooti Enkulu

Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi okuva mu State House aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu n’ekitongole kya Uganda Police Force ekya bambega wamu ne offiisi ya DPP batutte omuwandiisi omukulu mu Minisitule y’Ebyobusuubuzi, Geraldine Ssali Busuulwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti evunaana abali b’enguzi n’abakenuzi navunaanibwa emisango okuli okukozesa obubi offiisi, […]

Gavumenti yakwetaaga abakozi abasoba mu 3000 UMEME bwenagenda

Paul Mwesigwa, Managing Director wa Uganda Electricity Distribution Company Limited (UEDCLTD) avuddeyo nategeeza nti Gavumenti erina okufuna abakozi 3000 nga bano bakukola mu kitongole ekisaasaanya amasanyalaze, Kkontulakiti ya Umeme Limited bwenaaba eweddeko nga 31 March 2025, era ng’omukisa gwokusooka kuweebwa bakozi ba UMEME abalina emirimu kati. Okwogera bino abadde alabiseeko mu Kakiiko ka Committee of […]