Akulira abakuumi ku kitebe kya NUP awambiddwa – Bobi Wine

Ababaka 186 bebatadde emikono ku kiteeso – Ssekikubo

Omubaka wa Lwemiyaga County, Theodore Ssekikubo avuddeyo nafulumya olukala lwa Disitulikiti 37 nga agamba nti Ababaka abava mu Disitulikiti ezo bagaana okuteeka omukono ku kiteeso ekiggya obwesige mu Bakamisona ba Palamenti obwesige. Ssekkikubo ayongeddeko nti Ababaka abakiikirira Eggye lya UPDF mu Palamenti nabo bagaanye okuteeka omukono ku kiwandiiko kino nga kwekuli n’Ababaka abakiikirira abakadde so […]

Wagandya aleeteddwa ng’omujulizi wa Gavumenti mu gwokulya enguzi

Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe lyobuntu mu Ggwanga aka Uganda Human Rights Commission – UHRC Mariam Wangadya olunaku olwaleero aleeteddwa ng’omujulizi asooka mu Kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi okuwa obujulizi ku Babaka Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM 3 okuli; Cissy Namujju Dionizia , Paul Akamba ne Yusuf Mutembuli abavunaanibwa emisango gy’okulya enguzi nga kigambibwa nti […]

Ababaka begaanyi ekyokusaba enguzi okuva eri Wangadya

Ababaka ba Palamenti abasatu abakwatibwa ku bigambibwa nti bagezaako okusaba enguzi ya bitundu 20 ku 100 ku mbalirira y’Akakiiko akalera eddembe lyobuntu aka Uganda Human Rights Commission – UHRC nga bino byaliwo mu nsisinkano gyebalimu ne Ssentebe w’Akakiiko kano Mariam Wangadya bakomezeddwawo mu Kkooti y’Omulamuzi Lawrence Gidudu nebegaana omusango. Bano kuliko; Yusuf Mutembule , Paul […]

Uganda Museum egaddwawo okumala emyezi 10

Uganda Tourism Board-UTB evuddeyo netegeeza nti @Uganda National Museum bwegaddwawo okuva olunaku olwaleero okumala emyezi 10 kisobozese okugidaabiriza. Mu kiseera kino bagenda kugidaabiriza okugituusa ku mutindo. Jacline Besigye Nyiracyiza agamba nti ebintu ebirimu byakuggibwamu biterekebwe bulungi okwewala okubyonoona nga balongoosa era nasaba abalambuzi okukyalira ebifo ebirala mu Ggwanga ebyobulambuzi.

UNRA tusasule ssente zaffe – Abakozi abakola oluguudo lw’e Garuga – Gerenge

Abakozi abawerako abakola ku luguudo lwa Garuga-Gerenge oluwezaako kiromita 9 oluli mu kukolebwa enkya yaleero bakedde kwekalakaasa nga baagala ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority – UNRA okubasasula ssente zaabwe zebabanja okuva omwezi gwa Janaury so nga babadde bakola. Bano bagamba nti bewuubye ku offiiisi za UNRA ezenjawulo wabula nga […]

Tugenda kuddamu okwekalakaasa – Isa Ssekitto

Abasuubuzi mu Kibuga Kampala bavuddeyo nebategeeza nga bwebagenda okuggalawo bizineesi zaabwe okutandika n’olunaku olw’enkya okutuusa nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni atadde ekitiibwa mu nsonga zaabwe wamu n’okwogerako gyebali mu ngeri eyekitiibwa. Omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi bano ekya KACITA, Isa Ssekitto okwogera bino kidiridde Pulezidenti Museveni okusazzaamu ensisinkano gyebalina okubeera naye nga 31-July ku nsonga za […]

Muhoozi awaddeyo ente 10 okutegeka emikolo gy’amatikkira

Bannakisinde ki Patriotic League of Uganda bakiise Embuga ne batwala ebirabo eri Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu kujaguza Amatikkira ge ag’omulundi ogwa 31. Bano baaniriziddwa Minisita ow’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda era Ssentebe w’enteekateeka z’Amatikkira Anthony Wamala. Bano bakulembeddwamu Micheal Toyota Kaguta, Minisita Balaam Barugahare, Hon. Daudi Kabanda n’abalala, bamukwasizza Ente 10 ng’ebirabo […]

Eyekalakaasiza ku Ekereziya e Lubaga ayimbuddwa

Namala Claire 25 yasimbiddwa mu Kkooti olunaku lweggulo navunaanibwa omusango gwokutaataganya emisa ku Lubaga Cathedral bweyakwata ekipande wabweru wa Ekereziya nawanika ekipande ngayagala Sipiika Anita Annet Among alekulire olwobuli bw’enguzi. Emisango yagyegaanye, era Omulamuzi Amon Mugezi namuyimbula ku kakalu ka Kkooti akatali kabuliwo ka kitwalo 50. Bya Christina Nabatanzi

Mpuuga ayagala bakendeeze ku Babaka bafuuke 360

Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform akiikirira Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nategeeza nga bwamalirizza okubaga ennongoosereza zaayagala zikolebwe mu ssemateeka wa Uganda ezekuusa kubyokulonda. Mu zimu kunsonga zayagala zikyuusibwemu Mpuuga ayagala omuwendo gw’Ababaka ba Palamenti gukendeezebwe okuva ku Babaka 559 okudda ku Babaka 360 kisobole okukendeeza ku muwendo gw’ensimbi ogusaasaanyizibwa ku Palamenti.