Byenayogera yali ndowooza yange wabula si bituufu – Dean Ssaava Lubowa

Bobi Wine ne famire ye batonodde Abatwa ttanka y’amazzi

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Emyezi egiyise, nze wamu ne Famire yange twakyalira ku bantu okuva mu ggwanga lya Batwa nga bawangalira mu Mpeerwa Camp e Nyakabande, mu Disitulikiti y’e Kisoro. Mu bizibu byebatubuulira mwemwali obuzibu bwokufuna amazzi amayonjo. Twabasuubiza okubayambako era olunaku lw’eggulo ttiimu yaffe yabatwalidde ttanka ya […]

Omubaka Malende asisinkanye Abakyala b’e Kibuli

Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Shamim Malende olunaku lweggulo yalumaze asisinkana bibiina by’Abakyala ebyokwekulaakulanya e Kibuli mu Makindye. Bateesezza ku nsonga eziwerako omuli; obuli bw’enguzi, ekiwamba bantu, emisolo egisukiridde n’ensonga ezekuusa ku kulaakulanya omukyala. Bamaama abasulirira okuzaala yabatonedde Mama kits era nabawaayo nakakadde 1 bakateeke mu kibiina kyabwe […]

Teri kuwandiisa bakozi ba Gavumenti bapya omwaka gwebyensimbi guno – Ramadhan Ggoobi

Omuwandiisi omukulu mu Minisitule y’ebyensimbi Ramadhan Ggoobi avuddeyo nategeeza mu mwaka gw’ebyensimbi 2024/25 Gavumenti eyimirizza okuyingiza abakozi abapya kababe nga ba Kkontulakiti oba nga bayise mu Public Service okuleka nga bajjuza kifo olwomuntu abaddewo okuba nga takyasobola kukola, awateereddwa ssente okufuna abasomesa wamu n’abasawo abali wansi wa Pulogulaamu ya UGIFT mpozzi nabo abafunye olukusa okuva […]

Mwe abagamba nti babasiyigira mu Poliisi mujje muwaabe – ACP Kituuma

Omwogezi wa Uganda Police Force ACP Kituuma Rusoke avudddeyo nawanjagira abo bonna abakwatibwa mu kwekalakaasa abagamba nti bwebaali mu buduukulu bwa Poliisi obwenjawulo bakolebwako ebikolwa ebyensonyi omwali n’okubavuga empanka okuvaayo mu bunnambiro bagende baggulewo emisango ku Poliisi ebali okumpi.

Bannabitone mukimanye nti obumanyifu tebujjira mu mwezi – Katikkiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Bannabitone basaana okukimanya nti obumanyifu tebujjira mu mwezi oba mwaka gumu, butwala ebbanga, n’olwekyo beewale eby’okucamuukiriza. Iryn Namubiru amaze ebbanga ng’ayimba, n’akuza ekitone kye, era ayoolesezza obumanyirivu ng’olaba buli muntu asiima nga n’ennyimba ze abantu bazimanyi. Tukubiriza Bannabitone okuggyayo bye bakola mu ngeri esaanidde awatali kuwemula oba kwambala bubi.”

Ndi Katikkiro wa Buganda muzima – Katikkiro Mayiga

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Nze ndi Katikkiro wa Buganda ‘Muzima’ sisobola kudda ku mutimbagano nempuliriza abantu abatalina makulu kubanga ebibavaamu tebingattako. Nze obudde bwange obw’eddembe mbumala nsoma oba nga mpandiika.” #amatikkira31

SC Villa egobye omutendesi Stojanovic

##SimbaSportsUpdates; Kiraabu ya SC Villa evuddeyo netegeeza nga bwetuuse ku nzikiriziganya nabadde omutendesi waabwe Dustan Stojanovic okugenda mu mirembe. Morley Byekwaso alondeddwa ng’omutendesi ow’ekiseera. Dustan bamusiimye olw’emirimu ettendo gyakoledde kiraabu eno mu kaseera wabeeredde omutendesi nga yabatuusa ne kubuwanguzi bw’ekikop9 kya liigi sizoni ewedde. #thejogoos

Ekitebe ky’Amerika kinenyezza Poliisi olwokukwata abekalakaasa mu mirembe

Ekitebe ky’Eggwanga lya Amerika mu Uganda kivuddeyo nekiraga obwennyamivu ku ngeri Bannayuganda abasoba mu 90 abavuddeyo okwekalakaasa mu mirembe nga balaga obutali bumativu bwabwe ku buli bw’enguzi n’obukenuzi gyebakwatiddwamu. Ekitebe kisabye wabeewo okunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo abantu abatulugunyiziddwa nti era nabo abakikoze basaanye bavunaanibwe. Ekitebe kisiimye nnyo emikutu gy’amawulire era kigisaba okugenda mu maaso […]

Poliisi etubuulire Wambi gyali – Rubongoya

Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo omuwagizi wa NUP Wambi Peter eyakwatibwa ku lunaku olwa bbalaza bweyali agenda mu lukiiko lwa Bannamawulire ku Kavvule. Rubongoya agamba nti nokutuusa olwaleero ono tamanyiddwako mayitire nga n’abafamire basobeddwa eka ne mu kibira. Photo credit: Reuters