Mpuuga abantu balamu baaliyo naye bwewanoonya bewegattako wajja mu banywi banjaga – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nayanukulu Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “….. Simanyi oba mu Uganda, East Africa, Africa oba n’Ensi yonna teri muntu atamanyi byafaayo byaffe…. naye nammwe nsaba mwebuzeemu nti guluupu y’abantu abakulemberwa Kyagulanyi bomanyi obulungi nojja nobegattako, nga banywi banjaga bamwenge naye newegatta ku banywi banjaga. […]
Gavumenti yava dda ku Bannayuganda – Hon. Ssemujju
Omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda; “Mujjukira nti Palamenti eno yawa kkampuni ya Roko ensimbi obuwumbi 270. Kati Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yaggyeewo ssente ezibadde zirina okugula emotoka agafemulago 80, ssente za Regional Referral Hospitals okusobola okufuna obuwumbi 300 bwanaawa kkampuni ya Roko eyobwannanyini.”
Munnayuganda alemedde mu bwavu wakusibwa – PM Nabbanja
Ssaabaminisita Robinah Nabbanja avuddeyo nategeeza nti agenda kukozesa ekifo kye mu Gavumenti okulaba nti bakuba Bannayuganda bonna abakyali mu bwavu mbuga za Poliisi bannyonyole lwaki bakyali baavu wadde nga Gavumenti ebateereddewo obuwumbi nobuwumbi bwensimbi ngeyita mu nkola ez’enjawulo wabula bbo nebalemera mu bwavu.
Lwaki muzimba obutale ku ssente z’abakyala ezokwekulaakulanya – Hon. Opendi
Akakiiko ka Palamenti aka Public Accounts Committee akakulemberwa Hon. Muwanga Kivumbi kasisinkanye abakungu okuva mu Minisitule y’ekikula ky’abantu bannyonyole ku nsimbi obuwumbi 806.860 nga kyekitundu ekinene ekisinga obunene ku ssente za Pulojekiti ya Growth Opportunities and Productivity for Women Enterprises (GROW), zakugenda mu kulondoola emirimu gya Pulojekiti eno ngolwo ssente entono ezisigaddewo zezokuweebwa abakyala okwekulaakulanya. […]
Ezibadde ezokugula Ambulance 80 baziwadde Rock – Hon. Ayume
Eyali Ssentebe w’Akakiiko aka Palamenti akavunaanyizibwa ku byobulamu Omubaka Charles Ayume akiikirira Koboko Municipality avuddeyo neyewuunya engeri Gavumenti gyeyakoze okusalawo neggya ensimbi obuwumbi 300 mu mbalirira y’ebyensimbi eyomwkaa 2024/25 ezaali ezokugula emotoka agafemulago ziyambeko mu kutambuza abalwadde nesalawo ziweebwa kkampuni eyobwannanyini enzimbi eya Roko Construction Company eri mu kattu k’ebyensimbi. Ayume avuddeyo ku mukutu gwe […]
Burora atwaliddwa mu Kkooti lwakulebula Sipiika Among
Eyali RCC wa Rubaga Burora Herbert Anderson asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road olwaleero era ngavunaanibwa emisango okuli okusaasanya amawulire agobulimba wamu n’ettima bweyawandiika ku Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among wakati w’omwezi gwa March ne June 2024 mweyali ayogerera ku buli bw’enguzi wamu n’obubbi bwe ssente bweyagamba nti bufumbekedde mu Palamenti […]
Oluguudo lwa Kira-Kasangati-Matugga nga bwerunafaanana
Omwogezi w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority – UNRA Allan Ssempebwa avuddeyo nagumya Bannayuganda nti pulojekiti y’okukola oluguudo lwa Kyaliwajjala okuyita e Kira, Kasangati okutuuka e Matugga nga luweza kiromita 18 bwegenda mu maaso nti era kuno kuliko n’okukola oluguudo lwa Najjeera Buwaate Spur oluweza kiromita 5. Ono era ategeezezza […]
Abataka boolekedde Namibia okulaba ku Kabaka
Abataka ba Buganda nga bakulembeddwamu Kyaddondo Kasirye Mbugeeramula (Nvuma), Mawesano Deus Kyeyune (ŋŋaali), Sheba Kakande (Ngeye), Erias Lwasi Buuzaabo (Ndiga), Godfrey Natiigo (Katikkiro w’Ekika ky’Olugave) ne Walusimbi Mbirozankya (Ffumbe) bagenze e Namibia gyebagenda okumala enaku 5 gyebagenze okukebera ku Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II. Bano bagamba nti ekyabatutte kwekumalawo eŋŋambo ezibadde zitambuzibwa ku […]
Siteegi egudde ku mukolo gwa PLU e Hoima
Abantu abawerako basimattuse okukubwa siteegi kwebabadde bwegudde ku mukolo gwa Patriotic League of Uganda ogwategekeddwa okuyozayoza mutabani w’omukulembeze w’Eggwanga Gen. Muhoozi Kainerugaba olwokulondebwa ku buduumizi bw’eggye lya Uganda. Omusirikale wa Poliisi omu (VIP Protection) yalumiziddwa. Omukolo gubadde mu Kibuga Hoima, wabula omukulembeze wa PLU Gen. Muhoozi tabaddeewo. Wabula kino tekirobedde mukolo kugenda mu maaso.