Poliisi eyise bannanyini piki piki ezakwatibwa okuzikima
Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka SP kananura Michael yavuddeyo nategeeza nga bwewaliwo booda booda nnyingi ezipakingiddwa ku Poliisi ezenjawulo wabula nga zino tezirina misango ginoonyerezebwako nga zimazzeewo ebbanga eriwera. Kananura asabye bannanyini piki piki zino nga balina ebiwandiiko byazo ebiraga obwannanyini okugenda ku Poliisi zino babawe piki piki zaabwe.
Pulezidenti Museveni atadde omukono ku mateeka amaggya 19
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni atadde omukono ku mabago 19 okugafuula amateeka okuli ne Income Tax. Asudde ekirowoozo ekyali kireeteddwa ekyokutwala ebitundu 5 ku 100 ku kutunda kw’ettaka mu bibuga wamu ne Munisipaali okuggyako ekifo wobeera nennyumba ezipangisibwa kuba zisula omusolo gwamayumba agapangisibwa. Bya Turyatemba David
Kkooti eragidde Munnansi wa Turkey abadde ayiwa malamu mu lutobazi okuliwa obukadde 200
Kkooti ewesezza Munnansi wa Turkey engasi ya bukadde 200 bwalemererwa asibwe emyaka 5 lwakuyiwa malamu mu lutobazi ku kyalo Gongobe mu Muluka ggwe Sseeta Goma sub-County mu Disitulikiti y’e Mukono. Kerim Ray 56 alagiddwa Kkooti ya Standards and Utilities okuzzaawo olutobazi luno mu naku 30. Bya Christina Nabatanzi
UPDF ekutte abadde yeyita ow’amaggye ku ddaala lya Lt. Col.
Maj. Charles Kabona omwogezi w’ekibinja ekisooka eky’Eggye lya UPDF avuddeyo nategeeza nga bwebakutte abasajja 2 okuli; John Adams Ssentongo, omutuuze w’e Kabanyoro mu Kasangati Town Council, mu Disitulikiti y’e Wakiso ngono yasangiddwa n’ebintu by’amaggye okuli ebyambalo, enyota, engatto n’ebirala. Ono yategeezezza nti ebyambalo yabifuna okuva eri omusirikale wa UPDF mu nkambi ya Military e Mbuya. […]
Poliisi n’amaggye biremesezza Bobi Wine okukuba olukungaana e Bundibugyo
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Olwaleero tuzzeemu okutalaaga Eggwanga nga tusookedde Bundibugyo. Gavumenti etulemesezza okwogerako eri abantu baffe ab’e Bundibugyo ku Leediyo gyetwasasulidde wamu n’okugenda ku kisaawe kya Booma, ekifo kyetwasaulidde. Batugambye nti ekifo kyaweereddwa abantu abalala. Leediyo bazigaanye okuyisa ebirango byaffe, enguudo ezigenda ku magombolola bazigadde era n’abantu […]
Munnamateeka wa Katanga aleeteddwa ngomujulizi owomukaaga
Munnamateeka w’omugenzi Katanga Ronald Mugabe Ruranga aleeteddwa okuwa obujulizi ku muntu we mu Kkooti Enkulu nategeeza nti enaku 2 nga tanafa Katanga yamunoonya ngayagala okukola ekiraamo. Ono ategeezezza nti ekyenaku teyasobola kumusisinkana kuba olunaku lwebaali bategereganye olwa 2-November 2023, Mugambe yalinda Katanga mu offiisi ye ku kizimbe kya Cooperative Allaince okutuusa ssaawa mukaaga ezomuttuntu webamutegereza […]
Temwetantala kweyunga ku bagenda kutambula kugenda ku Palamenti – Rusoke
Rusoke Kituuma avuddeyo nategeeza nga Uganda Police Force bwekitegeddeko nti waliwo abantu abatandise okukunga Bannayuganda nga bayita ku Social Media nga babayita batambule okugenda ku Palamenti ku lwokubiri nga 23-July-2024. Poliisi egamba nti bano basudde nebipande nga bakubiriza abantu okubegattako mu kutambula kuno. Kituuma agamba nti wabula obudde nenteekateeka yonna temanyiddwa nga kino kireetedde Poliisi […]
UCC ewere oluyimba lwa Gravity – Uganda Medical Association
Pulezidenti w’Ekibiina ekitaba Abasawo mu Ggwanga ekya Uganda Medical Association Dr. Herbert Luswata avuddeyo nategeeza nga bwebawandiikidde ekitongole ekivunaanyizibwa ku bifulumizibwa ku mpewo ekya Uganda Communications Commission – UCC nga bakisaba obutakiriza vidiyo eyakoleddwa omuyimbi Gereson Wabuyi, aka Gravity Omutujju obutafuluma nga bagamba nti yakozesezza ebintu ebikozesebwa abasawo nga ettaawo wamu ne stethoscope mu ngeri […]
Museveni yakulemberamu obuli bwenguzi – Besigye
Eyaliko Pulezidenti wa Forum for Democratic Change Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwabadde ayogerako eri Bannamawulire olwaleero e Katongo avuddeyo nanenya Pulezidenti Museveni wamu n’obukulembeze bwe nategeeza nti Pulezidenti Museveni yakulira obuli bw’enguzi mu Uganda. Besigye anokoddeyo ebintu ebyenjawulo ebyoleka obulyake wamu n’okukozesa obubi obuyinza bino nabinenyeza Pulezidenti olwokulemererwa okugonjoola ebizibu bya Bannayuganda. Ono ategeezezza […]