Katikkiro akomyeewo mu offiisi mu butongole
Katikkiro Charles Peter Mayiga mu butongole akomyewo mu Woofiisi oluvannyuma lwa ssabbiiti bbiri nga ali mu luwummula. Ayise mu alipoota ey’ensonga enkulu ezibadde mu mbuga mu bbanga lyamaze nga taliiwo. Yebaza Omumyuka Asooka owa Katikkiro Oweek Prof. Twaha Kigongo Kaawaase abadde akuuma Woofiisi ya Katikkiro, Baminisita n’Abaweereza bonna olw’emirimu emirungi egikoleddwa.
Ebigambo bya Bannayuganda tebijja kungigula ttama – Kituuma
Omwogezi wa Uganda Police Force Kituuma Rusoke; “Manyi bulungi omulimu gwenjolekedde naye mbasuubiza okukola kyonna ekisoboka nga nkozesa obumanyirivu bwenina okulaba ntuukiriza ebiruubirirwa bya IGP, Poliisi wamu ne Bannayuganda.” Kituuma agamba nti mpaawo bigambo Bannayuganda bigenda kumuyigula ttama kuva ku mulimu gwalina kukola.
Emisango egivunaanibwa Burora miyiiye – Bannamateeka be
Bannamateeka beyaliko RCC wa Lubaga nga bakulembeddwamu David Kamukama, bavuddeyo nebasaba Kkooti egobe omusango oguvunaanibwa omuntu waabwe ogwokusaasanya amawulire agobukyaayi ku Sipiika wa Palamenti Anita Among. Banno bagamba oludda oluwaabi terwannyonyola kimala ku ngeri omuntu waabwe gyeyazzaamu emisango egimuvunaanibwa.
Okweyimirirwa ddembe lyaffe erituweebwa Ssemateeka – Ababa ba NRM abakwatibwa
Ababaka ba Palamenti 3 okuli owa, Igara East Michael Mawanda, owa Elgon County Ignatius Mudimi Wamakuyu, nowa Busiki County Paul Akamba, baleeteddwa olunaku olwaleero mu Kkooti evunaana abali b’enguzi n’abakenuzi okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa. Bano bavunaanibwa wamu ne Munnamateeka Julius Kirya Taitankoko ne Leonard Kavundiira, Principal Cooperative Officer mu Ministry of Trade, Industry, and Cooperatives, […]
Abali b’enguzi mulye kamanye ngakoza nowebbwa – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku lweggulo bweyabadde aggulawo olusirika lwa Bamnisita, Bammemba ba Central Execituve Committee aba National Resistance Movement – NRM wamu n’Abawandiisi abakulu mu Minisitule ez’enajawulo oluyindira e Kyankwanzi yerayiridde okufufugaza abali b’enguzi mu Uganda. Okusinziira ku alipoota ya IGG, Uganda efiirwa obwesedde 9 mu obuwumbi 7 mu buli bw’enguzi buli mwaka.
Okuzza ssente lwakiri nebuuka – Dr. Kyalimpa
Dr. Paul Kyalimpa, Deputy Director General owa Uganda Investment Authority agenda okuwummula, avuddeyo nakomba kwebaze eriibwa nti tagenda kuzza nsimbi obukadde 58 zeyafuna kwezo obukadde 280 ye ne banne abakulu mu UIA zebegabira nga akasiimo. Ensimbi zino zaggibwa ku nsimbi ezowolebwa okuzimba Namanve Industrial Park. Minisita Hon Anite Evelyn yavaayo nabalagira okuzza ensimbi zino mu […]
Poliisi temuba nga muli munteekateeka eggalawo essomero lya NUP – SG Rubongoya
Ssaabawandiisi w’ekibiina kya National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo ku nsisinkano gyebabaddemu ne Uganda Police Force ku nsonga y’ettendekero lya National Unity Platform School of Leadership; “Mu lukiiko lwetwabaddemu ne Poliisi ku nsonga za National Unity Platform School of Leadership, batubuuzizza lwaki twatandikawo essomoro? Tulina abayizi bameka? Bafuna batya ebifo? Tuluubirira bantu ki? Baani […]
Mpuuga abantu balamu baaliyo naye bwewanoonya bewegattako wajja mu banywi banjaga – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nayanukulu Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “….. Simanyi oba mu Uganda, East Africa, Africa oba n’Ensi yonna teri muntu atamanyi byafaayo byaffe…. naye nammwe nsaba mwebuzeemu nti guluupu y’abantu abakulemberwa Kyagulanyi bomanyi obulungi nojja nobegattako, nga banywi banjaga bamwenge naye newegatta ku banywi banjaga. […]
Gavumenti yava dda ku Bannayuganda – Hon. Ssemujju
Omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda; “Mujjukira nti Palamenti eno yawa kkampuni ya Roko ensimbi obuwumbi 270. Kati Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yaggyeewo ssente ezibadde zirina okugula emotoka agafemulago 80, ssente za Regional Referral Hospitals okusobola okufuna obuwumbi 300 bwanaawa kkampuni ya Roko eyobwannanyini.”