Mu motoka ezikwatiddwa Poliisi mubaddemu neya Minisita
Mu bikwekweto ebikoleddwa olunaku olwaleero okukwata emotoka eziriko obugombe mu bukyaamu ssaako n’amataala agatakirizibwa, Poliisi ekutte emotoka eziwerako nezitwalibwa ku Inspectorate of Motor Vehicles e Naguru, mu Kampala. Muzikwatiddwa olwaleero mwemuli n’emotoka ya Minisita Omubeezi mu Offiisi ya Ssaabaminisita ne ya Ssentebe wa National Resistance Movement – NRM mu Disitulikiti y’e Sironko.
Ntadde omukono ku kiwandiiko kino olwokuba abantu bange kyebaagala – Hon. Ttebandeke
Omubaka akiikirira Bbaale County Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Ttebandeke Charles; “Abalonzi bange bampadde ddereeva, emotoka era nebagiteekamu n’amafuta, nebalagira ddereeva abeerewo ng’omujulizi nga nteeka omukono ku kiwandiiko kyekiteeso ekiggya obwesige mu ba kkamisona era nkitaddeko omukono. Nina okukola abalonzi bange kyebansaba, kyebategeera era ekizimba Uganda. Olwokuba ndi mu Mubaka akiikirira Abantu be Bbaale, […]
Abasirikale ba Military bateekeddwa ku nguudo okuyamba ku ba Traffic – Col. Deo Akiiki
Omumyuuka w’omwogezi w’eggye lya UPDF Col. Deo Akiiki avuddeyo nategeeza nti nga eggye lya UPDF bweriyungudde Abasirikale baalyo okuva mu Military Police Traffic Department okuyambako abasirikale ba Uganda Police Force abavunaanyizibwa ku bidduka mukukwasisa amateeka g’okunguudo oluvannyuma lw’abakulu mu UPDF okuvaayo nebemulugunya ku neeyisa yabagoba b’ebidduka. Akiiki agamba nti ekigendererwa mulimu nokukwata abo abakozesa ebyambalo […]
Eby’Ababaka 30 tetubimanyiiko – Fred Enanga
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nasambajja ebibadde bitambuzibwa ku Social Media nga kigambibwa nti waliwo Ababaka ba Palamenti 30 abayitiddwa Poliisi okulabikako ku kitebe kyabambega ku nsonga ezekuusa ku buli bw’enguzi n’obukenuzi. Enanga agamba nti luno lugambo oluwedde emirimu olutalina kugobererwa. Bya James Kamali
DPP alagidde Ababaka 3 aba NRM okusindikibwa mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe
DPP alagidde Ababaka 3 Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM basindikibwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe omusango gwa ‘Budget corruption’. Omuwaabi wa Gavumenti Jonathan Muwaganya ategeezezza Kkooti evunaana abali b’enguzi nabalyake ebadde ekubirizibwa Omulamuzi Joan Aciro nti DPP alagidde bano batwalibwe mu Kkooti Enkulu oluvannyuma lwa Uganda Police Force okufundikira okunoonyereza kwayo. Wabula olunaku olwaleero […]
Poliisi yeyambisizza omukka ogubalagala okugumbulula abantu mu Lubigi
Uganda Police Force ettuntu lyaleero yeyambisizza omukka ogubalagala okugumbulula abatuuze mu Lubigi ababadde batandise okukuŋŋaana oluvannyuma lwakulira oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform Joel Ssenyonyi okutuuka mu kifo National Environment Management Authority (NEMA) Uganda weyakoonye amayumba g’abatuuze ng’egamba nti besenza mu lutobazi.
Omubaka Akamba bazzeemu okumukwata nga yakayimbulwa Kkooti
Omubaka Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM akiikirira Busiki County Hon. Paul Akamba, omu ku Babaka 3 abakwatiddwa nasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira olunaku olwaleero bwebakomezeddwawo okusaba okweyimirirwa nayimbulwa Kkooti kukalu kaayo kabukadde 13 obwobuliwo azzeemu nakwatibwa abebyokwerinda nebamuteeka mu motoka ebadde erinze. Abawagizi be naboluganda basigadde basobeddwa nga tebamanyi wa gyebamututte.
Newuunya abavubuka abagamba nti mu Uganda tewali mirimu – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Emirimu wegiri mu Ggwanga, naye mpulira abavubuka nga bakaaba, emirimu emirimu. Balina empapula zaabwe zebakiririzaamu nga Daily Monitor, balinga balabe ba Afirika. Enaku eziyise nabalaba (Monitor) amasanyalaze bwegaggibwako nga bagezesa Karuma, nebawandiika nga bajaguza nti abasaasaanya amasanyalaze tebalina busobozi. Nawulira endowooza eno ne mu bakozi ba Gavumenti, kinewuunyisa engeri abalabe gyebakwataganamu.”
Abawagizi b’Ababaka 3 abasindikiddwa e Luzira beyiye mu Kkooti
Abawagizi b’Ababaka Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM 3 okuli Cissy Namujju Dionizia, Paul Akamba ne Yusuf Mutembuli bakedde kweyiwa ku Kkooti ewozesa abalyake nga bano bakomezeddwawo olunaku olwaleero okusaba okweyimirirwa ku misango gy’obulyake. Bya Christina Nabatanzi