Pulezidenti Museveni adduukiridde kaweefube w’emmwanyi terimba

Poliisi ekutte akulira abakama amafuta mu motoka e Mulago

Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Poliisi y’e Wandegeya bweyakoze ekikwekweto ku bigobero e Mulago ku Mulago Mortuary washing bay, Busia zone, Wandegeya Parish Kawempe Division. Kino kyadiridde akatambi akabadde katambuzibwa ku mutimbagano nga abantu 3 bakama amafuta okuva mu motoka ekika kya Double Cabin. Poliisi yakutte Mutebi Peter 30 ngono […]

Ababaka 3 basindikiddwa mu Kkooti evunaana abali b’enguzi

Ababaka 3 Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM okuli; Yusuf Mutembule, Paul Akamba ne Cissy Namujju olunaku olwaleero batwaliddwa mu Kkooti evunaana abali b’enguzi n’abakenuzi e Nakasero bavunaanibwe emisango gyobulyake. Kigambibwa nti bano nga 11-May-2024 ku Hotel Africana mu Kampala basaba Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe ly’obuntu mu Ggwanga aka Uganda Human Rights Commission – […]

NEMA ekyamenya ennyumba z’abantu mu Lubigi

Abantu abasoba mu 1000 bebasigadde ttayo oluvannyuma lw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukuuma obutonde bw’ensi ekya National Environment Management Authority (NEMA) Uganda okumenya amayumba gaabwe mu Lubigi nga kigamba nti bano besenza mu ntobazi. Mu bano kuliko ne ssentebe w’abatasoma ne National Resistance Movement – NRM ow’ekitundu Hajji Kasimu Kasasa.

Poliisi ekutte abagambibwa okukuba ebiccupuli ku Nasser

Omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga ekitongole kya Poliisi ekya Directorate of Crime Intelligence nga kikolera wamu n’ebitongole byebyokwerinda ebirala bwekyakoze ekikwekweto ku Elite Arcade ku Nasser Road, shop A-08, nekikwata abantu 8 abagambibwa okwenyigira mukujingirira ssente, okuzitunda wamu n’okuzisaasaanya. Abakwatiddwa kuliko abakulira Mukasa Ronald, ne banne okuli; Mugumya Geey, […]

Mpuuga ne banne kiki kyebakola ekyenjawulo ekibasiimisa – Nandala Mafabi

Omubaka akiikirira Budadiri West Nathan Nandala – Mafabi avuddeyo nasaba Uganda Police okukwata Ababaka bonna abatuula ku kakiiko ka Palamenti aka Legal & Parliamentary Affairs Committee, nga agamba nti bano bekobaana mu kuyisa akasiimo akakawumbi 1 mu obukadde 700 ezaweebwa ba Kkamisona 4 ngogyeeko ekyokujjuza abeŋŋanda zaabwe mu bifo bya Palamenti ebisava. Okwogera bino abadde […]

Ssekikubo asobodde okukungaanya emikono 145 mu wiiki 3

Omubaka Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga County) avuddeyo nategeeza nti oluvannyuma lwa wiiki 3 nga batongozza ekiteeso kyokuggya obwesige mu ba Kkamisona ba Palamenti abegemulira akasiimo akakawumbi 1 mu obukadde 700 basobodde okukungaanya emikono okuva mu babaka 145 nga bakyalemereddwa okuweza emikono 177. Bwabadde ayogerako eri Bannamawulire Ssekikubo yewuunyizza lwaki Ababaka bangi batidde okuteeka omukono ku kiwandiiko […]

Eyanyaga ensawo y’omulamuzi asibiddwa emyaka 15

Mulinzi Bilal 30, (eyambadde enkofiira) asaliddwa omusango gwokulumbagana Omulamuzi Gladys Kamasanyi namunyagako ensawo ye omwali akakadde 1 mu emitwalo 85, identity card y’obulamuzi, ebizigo wamu n’essimu ekika kya Iphone. Mulinzi akirizza okwenyigira mu bubbi buno ne munne era nga batuuse obuvune ku mulamuzi Kamasanyu eyali agenze okukima ebivudde mu bigezo by’omwana we ebya PLE ku […]

Omubaka Basalirwa akata beggwe mu malaka ne Ssekikubo

Wabaddewo okusika omuguwa wakati wa Babaka abaakulemberamu enteekateeka eyokuggya obwesige mu ba Kkaminsona ba Palamenti 4 ngomubaka wa Munisipaali ye Bugiri Asuman Basalirwa ayagala kumanya amateeka bano kwebeesigama okutwala enteekateeka eno mu maaso. Ono asekeredde kawefube ono nga bwatalina gyalaga olwokubuuka emitendera kwebesigamye ngate ne nsimbi zebavunaana ziri mu mateeka.

Ekitongole kya Keddi Foundation kitutte Bannayuganda 100 okukola Hijja

Ekitongole ekimanyiddwa nga Keddi Foundation kitutte Bannayuganda abawalera ddala 100 okugenda okukola Hijja e Mecca. Bano basimbuddwa Chief Executive Officer wa Keddi Foundation Keddi Steven Eric Zuluba bwatyo nabakuutira okwongera okweyisa obulungi nebwaba bakomyeewo. Ono era yabasabye okusabira ennyo Eggwanga mu kaseera kano nga tugenda mu kalulu wabukalewo emirembe n’obumu. Ye Sheikh Miradu Kaluuma yebaazizza […]