Agambibwa okukukusa Bannayuganda okubatwala e Thailand akwatiddwa

Akatambi kemutambuza kakadde abo twabakwata – Luke Owoyesigyire

Omumyuuka wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza Bannayuganda nti akatambi akatambula ku mutimbagano akakwatibwa kkamera enketta bikolwa kakadde. Ono agamba nti akatambi kano ka 2022 nga obubbi buno bwakolebwa ku masaŋŋanzira ga Buganda Road okuliraana City Oil ku Bombo Road. Luke agamba nti ekibinja ky’abavubuka kyalumba Engineer eyalina obukadde 30 mu nsawo nebagezaako […]

Ababaka ba NRM temugeza nemuteeka emikono ku kiwandiiko kya Ssekikubo – Hon. Kinobere

Omumyuuka w’omwogezi wa kabondo k’Ababaka ba National Resistance Movement – NRM nga ye Mubaka akiikirira Kibuku County Herbert Kinobere avuddeyo nalagira Ababaka Bannakibiina kya NRM obutateeka mikono ku kiwandiiko kiggya bwesige mu Bakamisono ba Palamenti okutuusa nga bafunye okuwabulwa okuva ewa Ssentebe w’ekibiina. Ono ayongeddeko nti singa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni abagaana okuteeka omukono ku […]

Tugenda kutimba olukalala lwabo abatadde emikono ki kiwandiiko kyaffe – Hon. Ssekikubo

Omubaka Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga County) avuddeyo neyegaana ebigambibwa nti bayisa akawumbi 1 mu obukadde 700 nga akasiimu ka Bakamisona wamu n’omusaala gwabwe ogwobukadde 23. Ono asabye abo ababyogera okuvaayo baleete obujulizi. Bino Ssekikubo abyogeredde ku Palamenti bwabadde ayogerako eri Bannamawulire ngayanukula ekiragiro ekiyisiddwa omumyuuka w’omwogezi wa kabondo k’Ababaka ba National Resistance Movement – NRM Herbert […]

Ababaka abebuzaabuza ku nsonga enkulu mubajjukiranga mu kiseera kya kalulu – Sarah Opendi

Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Tororo Sarah Opendi avuddeyo nategeeza nti awulidde Ababaka abamu abagamba nti ensonga yaba Kkamisona abegemulira ensimbi ezisoba mu kawumbi kamu bandizikutte mu kyaama, era ngono yebuuza lwaki? Ono asabye Bannayuganda okutunula nnyo ekaliriza ku Babaka baabwe abebuzaabuza ku nsonga nga n’abalala babagamba okuva ku kyokuggya obwesige mu bantu bano kuba […]

Ababaka abamu babaddusizza baleme kuteeka mukono ku kiwandiiko – Ssekikubo

Omubaka Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga County) agamba; “Tukitegeddeko nti olweggulo lwaleero waliwo Ababaka ba Palamenti 30 abatwalibwa nga bakulemberwa Cissy Dionizia Namujju (Omubaka omukyala owa Lwengo Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM) ngabatwala Dar es Salaam mu Tanzania baleme kubaawo kuteeka mikono ku kiwandiiko. Wetwogerera waliwo ekibinja ky’Ababaka abali e Nairobo nga babaggyewo kireme kumanyibwa. […]

Poliisi eyimirizza enkungaana za NUP mbagirawo – Fred Enanga

Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga bwebayimirizza enkugaana za National Unity Platform ezokwebuuza ku bantu olwakabenje akfiiriddemu abantu 3 olwaleero ngegamba nti kino kivudde ku bulagajjavu. Enanga agamba nti abakulembeze ba NUP balemereddwa okuberera ebiragiro ebyabaweebwa nabwekityo, nga ekitongole kya Gavumenti ekivunaanyizibwa ku kukuuma abantu nebyebawe kwekusalawo okuyimirizza enkungaana zino […]

Waliwo Ababaka bebaddusiza obutateeka mukono ku kiwandiiko – Ssekikubo

Omubaka Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga County) agamba; “Tukitegeddeko nti olweggulo lwaleero waliwo Ababaka ba Palamenti 30 abatwalibwa nga bakulemberwa Cissy Dionizia Namujju (Omubaka omukyala owa Lwengo Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM) ngabatwala Dar es Salaam mu Tanzania baleme kubaawo kuteeka mikono ku kiwandiiko. Wetwogerera waliwo ekibinja ky’Ababaka abali e Nairobo nga babaggyewo kireme kumanyibwa. […]

Gavumenti etadde envumbo ku Sipiika Among nabalala 4

Gavumenti ya Amerika evuddeyo neteeka ekkoligo lyobutayigira Ggwanga eryo ku bakulu abalala 5 mu Gavumenti lwa buli bwa nguzi n’obukenuzi wamu n’okulinyirira eddembe ly’obuntu. Bano kuliko Sipiika wa Palamenti Anita Annet Among ngono bamuvunaanye buli bwanguzi obususse obwetololera ku Palamenti gyakulembera, eyali Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Karamoja Mary Goretti Kitutu, eyali Minisita omubeezi avunaanyizibwa […]

Abdu Katuntu yebalamye ebyokuteeka omukono ku kiwandiiko ekiggya obwesige mu ba Kkamisona

Abdu Katuntu (Bugweri County) avuddeyo nategeeza nga bwatasobola kuteeka mukono ku kiwandiiko kiggya obwesige mu ba Kkamisona ba Palamenti nga agamba nti Akakiiko kakulembera aka Parliament’s Rules Committee, kekaweebwa obuyinza okutunula mu nsonga ezikwatagana neneyisa y’Ababaka nga nabwekityo ekigenda mu maaso essaawa eno Ababaka bano bandifundikira nga basindikiddwa mu Kakiiko kakulembera.