Sinakwata ku ssente wabula eyaleeta ekiteeso simwesiga – Hon. Luttamaguzi

Minisita eyabba omuceere ne nnyama e Masaka ku mukolo gwa Gen. Muhoozi tomuyitanga? – Gashumba

Omumyuuka wa Ssentebe owa massekkati owa Patriotic League of Uganda, Frank M. Gashumba alumbye Director for mobilization, era Omubaka akiikirira Igara East mu Disitulikiti ye Bushenyi Michael Mawanda. Kino kyaddiridde Gashumba okuvaayo nawandiika ku mukutu gwa X ngayagala abavunaanyizibwa ku byokwerinda mu Ggwanga okuvaayo bunnambiro bataase Bannayuganda ku bakifeesi ababatiggomya wabula Omubaka Mawanda namuyita Bunnambiro […]

Abasirikale ba Poliisi 3 bafiiridde mu kabenje enkya yaleero

Kitalo! Abantu 3 bafiiriddewo mbulaga nga bano basirikale ba Uganda Police Force nga batomeddwa enkya yaleero nebafiirawo ku luguudo lwa Lugogo Bypass. Bano batomeddwa ekimotoka ekitambuza enkokoto nnamba UBK 189V.

Omubaka Nsibambi naye atadde omukono ku kiwandiiko ekiggya obwesige mu kkamisona

Nampala w’Ababaka ba Forum for Democratic Change mu Palamenti akiikirira Mawokota South Yusuf Nsibambi avuddeyo nagenda okuteeka omukono ku kiwandiiko ekiggyamu ba Kkamisono ba Palamenti 4 abegemulira akasiimo akaweza ensimbi akawumbi 1 mu obukadde 700 so nga ate baali bafuna obukadde 23 nga ngomusaala buli mwezi. Ono yegaanye okuba nakakuku konna ku bantu bano 4 […]

Bigira Moses atandiseewo ekisinde ekikye

Bigirwa Moses avuddeyo nategeeza nga bwatandiseewo ekisinde ekikye ngayawukana ku Kibiina kya National Unity Platform. Bigirwa agamba nti ekisinde kyabwe kyakuyitibwa Eastern Revolutionary Platform (ERP). Ayongeddeko nti Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine talina kyagatta ku Busoga ye kwekutandikawo ekisinde ekigenda okugatta ku kitundu kino.

IGP wewale entalo naba Opposition – Minisita Otafiire

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu Ggwanga Maj. Gen. Kahinda Otafiire avuddeyo nakalataira Ssaabadduumizi wa Uganda Police Force omuggya IGP Abas Byakagaba obutasaawo ntalo na bannabyafuuzi abali ku ludda oluvuganya Gavumenti wabula abakwate mu ngeri amateeka gyegamulambikamu bwewaba nga waliwo ebitatambula bulungi.

Persis Namuganza naye awagidde ekyokuggya obwesige mu ba KKamisona

Minisita omubeezi owettaka avunaanyizibwa ku nsonga zamayumba Persis Namuganza asekeredde ba Kkaminsona ba Palamenti olw’okukemererwa okuyimirira ku bigambo byabwe eby’okulwanirira abantu, ne batuuka okwegabanya ensimbi y’omuwi w’omusolo bwebeewa akasiimo ngate be bamu ku baakulemberamu enteekateeka y’okumuggyamu obwesiga ku kifo ky’obwa minisita omwaka oguwedde. Bino Minisita Namuganza abyogedde bwabadde assa omukono ku kiwandiiko ekiggya obwesige mu […]

IGP ne DIGP abaggya bakwasiddwa offiisi mu butongole

Ekiriwo kati: Okuwaayo offiisi wamu n’okutuuza abaggya Inspector General of Police ne Deputy Inspector General of Police. Omukolo gguno gugenda mu maaso ku kitebe kya Uganda Police Force e Naguru. Omukolo gwetabiddwa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga zomunda mu Gggwanga Hon. Maj. Gen. Kahinda Otafiire ne Minisita Omubeezi ow’ensonga zomunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi.

Poliisi ekutte abavubuka 15 e Kira

Omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyakoze ekikwekweto oluvannyuma lwokutemezebwako nekwata abantu 15 abagambibwa okuba abamenyi b’amateeka mu Kira Division nga 27-May. Poliisi yakutte abamenyi bamateeka lukulwe mu bitundu bya; Nsawo Zone, Kyaliwajala Ward, Namugongo Division, mu Disitulikiti y’e Wakiso. Bano kuliko; Syino Michael, Katumba Ashraf alias Cobler […]

Poliisi eyise abakulembeze ba NUP mu Lukiiko ku bbalaza

Omwogezi wa National Unity Platform Hon. Joel Ssenyonyi avuddeyo nategeeza nga Uganda Police Force wamu n’amaggye bwebabalemesezza okwolekera e Pallisa nga babasaliddeko ku lutindo lwa Ssezibwa ku luguudo lw’e Kayunga. Ayongeddeko nti abakulira Poliisi babawandiikidde nga babayita mu lukiiko nabo ku bbalaza. Ono ategeezezza nti bajja kugendayo bongere okubannyonyola bategeere lwaki abalala bakirizibwa okutambula naye […]