Bannakibiina kya NUP 2 basimbiddwa mu Kkooti e Njeru

Bannayuganda ababadde basiranira e Myanmar bakomezeddwawo mu Ggwanga

Bannayuganda abawerera ddala 23 abakukusibwa nebatwalibwa mu Ggwanga lya Myanmar bakomezeddwawo okwaboobwe ngenteeka eno yakoleddwa Gavumenti ya Uganda ngeyita mu Minisitule evunaanyizibwa ku nsonga zebweru. Bano babadde baggalirwa Tachileik, Myanmar, oluvannyuma lwokulimbibwalimbibwa nti bagenda kubafunira emirimu egisasula ensimbi empitirivu. Bya Shanita

Bannakibiina kya NUP abakwatiddwa e Kamuli basindikiddwa ku alimanda

Bannakibiina kya National Unity Platform 13 abakwatiddwa olunaku lweggulo e Kamuli, olunaku olwaleero basinbiddwa mu Kkooti nebavunaanibwa emisango 2 okuli; okukuma omuliro mu bantu wamu n’okunyomoola ebiragiro ebiri mu mateeka. Munnamateeka waabwe Hon. Shamim Malende ategeezezza nti bataddemu okusaba kwabwe okwokweyimirirwa wabila omuwaabi wa Gavumenti nategeeza nti akyetaaga obudde okwetegereza abavuddeyo okubeyimirira. Bano bakudda mu […]

Poliisi esudde emisanvu mu makubo agoolekera e Pallisa

Uganda Police Force esudde emisanvu ku luguudo lwa Tirinyi – Mbale ngekebera emotoka eziva ku ludda lw’e Iganga nga bwebalindirira Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine eyesomye okukuba olukungaana e Palisa olunaku olwaleero. Wabula Kyagulanyi bamusaliddeko ku mugga Ssezibwa ku luguudo lw’e Kayunga. Bya Waki Moses

Poliisi etandise okuyigga abakwatiddwa ku katambi nga bakuba omusajja

Omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nti okunoonyereza ku bikolwa ebyakwatiddwa ku katambi okuva ku kkamera enkettabikolwa kwatandise dda nti era omwami eyalabikiddemu ngakubwa ye Mugisha Tomson, 40, omutuuze w’e Kyebando nga yali akubwa abantu abatanategeerekeka. Bino byali ku Ben Kiwanuka Street ku ssaawa nga bbiri ez’ekiro, nga 22-May-2024. Poliisi […]

DPC wa Kibuku akazizza abawagizi ba NUP 2 bamubuulira wa Kyagulanyi gyali

DPC wa Disitulikiti y’e Kibuku Dickens Turyatemba mu katambi ngabuuza abawagizi ba National Unity Platform 2 bebayimirizza mu lutobazi lwa Mpologoma ku luguudo lwa Mbale -Tirinya bwebabadde boolekera mu Disitulikiti y’e Pallisa Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine gyabadde asuubira okukuba olukungaana.

Mpuuga ne banno temujja kwezibika ssente zizimba ddwaliro buli omu muyineyine – Hon. Sarah Opendi

Omubaka Omukyala owa Disitulikiti y’e Tororo Sarah Opendi Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM; “Kiba kikyamu nze okutuula nensirika nga eddwaliro ddamu liweereddwa omuntu omu. Njagala mukimanye nti Minisitule y’ebyobulamu ngayeyambisa UPDF Construction Brigade bwebadde eddaabiriza amalwaliro ga Health Centre II okugasobozesa okugakuza okufuuka Health Centre III yakozesa obukadde 500 ku buli limu. Lwakiri […]

Poliisi esazeeko Kyagulanyi n’abawagizi be tebaganyizza kuyingira Kamuli

Uganda Police Force ewaliriziddwa okukuba omukka ogubalaga okulemesa Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine wamu n’abawagizi okutuuka ku kifo wagenda okukuba olukungaana. Kyagulanyi Poliisi emusaliddeko ku Kyalo Buwolero, mu Buwenge Sub County, mu Disitulikiti y’e Jinja. Munnamateeka era Omubaka omukyala owa Kampala, omu Shamim Malende, agamba nti abamu ku bawagizi […]

Poliisi ekutte Bigirwa bwabadde akunga abantu ku Radio

Mu Disitulikiti y’e Kamuli Pulezidenti wa National Unity Platform Robert Kyagukanyi Ssentamu aka Bobi Wine gyalina okukuba olukungaana lwe olusooka, Uganda Police Force eyiye basajja baayo abawanvu n’abampi okunyweza ebyokulinda. Abebyokwerinda balumbye Radio ya Kamuli Broadcasting Services nabasikayo ba Cordinator ba NUP mu Busoga okubadde Mosese Bigirwa nga bamulanga okukunga abantu.

Abakulembeze ba NUP bezoobye ne Poliisi e Jinja

Bannakibiina kya National Unity Platform nga bakulembeddwamu omwogezi w’ekibiina Joel Ssenyonyi wamu ne Ssaabawandiisi David Lewis Rubongoya bezoobye ne Uganda Police Force ku lutindo lw’e Jinja ngetabwe evudde ku ba piki piki ababadde babawerekera Poliisi begamba nti tebalina kukozesa lutindo lupya nga balina kuyita ku lukadde. Oluvannyuma bakiriziganyizza era bano ne beyongerayo.