Eyeyita Yeesu eyagaanye okubalibwa n’abantu be asindikiddwa ku alimanda

Eyakutte akatambi nga yewaana nga bwasumulula essimu enzibe yakwatiddwa

Umar savior 19, nga muyizi ku Uganda Institute of Information and Communication Technology-Nakawa, ne mukwano ggwe bwebakutte akatambi nga bagamba nti amasimu agabbibwa bagabatwalira bategeezezza Uganda Police Force nti akatambi bakakutte kufuna views ku tiktok. Bano bakutwalibwa mu Kkooti bavunaanibwe omusango gwa computer misuse. Bya Kamali James

Pulezidenti Museveni akoze enkyuukakyuuka mu maggye

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alonze Maj. Gen. Richard Otto ngomuduumizi omuggya owa Mountain Division era nga yemuduumizi wa Operation Shuuja. Maj. Gen. Dick Olum asindikiddwa okukulira South Sudan Stabilisation Mechanism, ngaddira Maj Gen Otto mu bigere.

Poliisi esazeeko amaka g’Omubaka Nyeko

Mukyala w’Omubaka wa Makindye East Derrick Nyeko Munnakibiina kya National Unity Platform, Ruth Twagira Kirabo, agamba nti Uganda Police Force n’maggye bisazeeko amaka gaabwe nebatandika okwaza ennyumba yaabwe nti banoonya mmundu. Ono ategeezezza nti balina ekiragiro kya Kkooti.

Kitalo! Omutendesi Kajoba afudde

Kitalo! Eyaliko omusambi wa ttiimu y’Eggwanga Uganda Cranes era omutendesi wabakuumi ba ggoolo ku ttiimu y’Eggwanga Fred Kajoba Kisitu afudde. Ono afiiridde mu Ggwanga lya Tanzania.

Omubaka Mwijukye akyuusiddwa naleetebwa e Kampala okufuna obujanjabi

Omubaka akiikiria Buhweju Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Francis Mwijukye akyuusiddwa naweerezebwa e Kampala okufuna obujanjabi obusingako okuva mu Ddwaliro lya Devine Mercy mu Kibuga Mbarara gyabadde afunira obujanjabi oluvannyuma lwokulumbibwa abantu ababadde babagalidde emiggo nebaleka ngalumiziddwa. Ono bamulumbidde ku Rwanyamabare Catholic Church mu Disitulikiti y’e Buhweju gyeyabadde agenze okuwuliriza ensonga zokubba ettaka ly’e […]

Bakifeesi bonoonye ebintu byabasuubuzi mu Katale ka Kabaka e Bwaise

Abantu abagambibwa okubeera ba kifeesi balumbye akatale ka Kabaka ak’e Bwaise mu kiro ekikeesezza olwaleero nebakoonakona emidaala saako nokwonoona emmaali y’abasuubuzi. Okusinziira ku basuubuzi abasula mu Katale Kano bategeezezza nti abazigu babalumbye ku ssaawa 7 ogw’ekiro nga babagalidde ebijambiya n’enyondo nebatandika okukoona ssaako nokumenya emidaala gyabasuubuzi. Okusinziira ku Vicent Ssenono Omuwandiisi ku kakiiko akakulembera abasuubuzi […]

Eyakedde okukubiriza abantu basigale awaka bababale bafumisi

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu Njeru municipality, mu Disitulikiti y’e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa. Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu […]

Mwebale kugaana kunywa chaayi kindaze muli bakozi – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yavuddeyo ku mukutu gwe ogwa X natendereza ababala abantu abagenze ku State Lodge e Nakasero ye ne Mukyala we Janet Kataaha Museveni bwebabawadde ka chaayi wabula abakulu bano nebakagaana. Pulezidenti yategeezezza nti bano bayolesezza obukugu ku mulimu gwabwe kuba abantu bemitima emibi bayinza okubawa omwenge negubalemesa okukola omulimu ogwabaweereddwa. Bano kwabaddeko […]

Ebibiina byobufuzi 7 bisabye EC okubiwandiisa

Waliwo ebibiina by’obufuzi 7 ebipya ebyesowoddeyo nebisaba okuwandiisibwa Akakiiko akavunaanyizibwa ku byokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda (IEC) nga tweteekerateekera akalulu ka bonna 2026 nga bino kuliko; National Foundation Party, National Revival Coalition, National Agrarian Party, People Power Front, Shine Uganda, Uganda Prosperity Party ne National Economic and Redemption Party. Bino byasindikiddwa okunoonya emikono […]