Omusomesa atanziddwa obukadde 4 lwakuwayiriza HM

Kabaka ajja kudda essaawa yonna – Katikkiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Olukiiko lwa Buganda lutudde enkya ya leero. Nzizeemu okutegeeza Obuganda, Ssaabasajja Kabaka akyali bweru wa Ggwanga gye yagenda okulaba abasawo be. Nnyinimu ajja kudda, abasawo nga bakakasiza nti embeera ye emukkirizisa okukomawo. Mu ngeri y’emu nnyajulidde Obuganda embeera nga bweyimiridde mu Bwakabaka.” #lukiikolwabuganda2024

Poliisi ekutte ababbira ku Northern Bypass 70

Omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police; “Oluvannyuma lwobumenyi bw’amateeka okweyongera ku luguudo lwa Northern Bypass omuli abakuba abantu ne motoka amayinja ne paver, Kira Road ne mu Kimbejja, Kyaliwajjala ne Namugongo, Poliisi yakoze ekikweto nga kino kyabaddemu aba LC, PISOS, GISO, CMI, UPDF, CI, wamu ne Poliisi zomu bitundu nekigendererwa kyokumulawo obumenyi bw’amateeka buno. Abamenyi […]

Baminisita nabo batandike okugula amafuta g’emotoka zaabwe – Hon. Ssemujju

Hon. Ibrahim Ssemujju (Kira Municipality) avuddeyo naleeta ekiteeso ngayagala Bannayuganda balekerawo okusasulira amafuta g’emotoka za Gavumenti, nti olwo Abakulembeze bwebanmanya obulumi Bannansi bwebayitamu. Ono agamba nti Minisita gwebateera amafuta mu motoka tasaanye kusemba kyakwongeza musolo ku mafuta mu ngeri eyekyeyonoonere.

Poliisi tenafuna kusaba kwa NUP kukutalaaga Eggwanga – Enanga

Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti Poliisi tenafuna kusaba kwonna ku eri Kibiina kya National Unity Platform – NUP ku nteekateeka ezalangirirwa Omukulembeze waakyo Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine ezokuddamu okutalaaga ebitundu by’Eggwanga eby’enjawulo okufefetta obuwagizi bw’ekibiina. Enanga agamba nti okusaba kwebalina kya kiwayi ky’ekibiina kya Forum for Democratic Change […]

Munnansi wa China akwatiddwa lwakutunda bintu by’amaggye

Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi mu ttunduttundu lya Kampala Metropolitan North bweyakola ekikwekweto mweyakwatira Munnansi wa China, JIN YUNGUNG, 33, ngabadde abeera Ganda mu Nansana Municipality, Wakiso. YUNGUNG abadde n’edduuka nga litunda ebintu bya Gavumenti ya Uganda mu bumenyi bw’amateeka okuli engatto z’amaggye, yunifoomu wamu ne giraavuzi. Abadde n’edduuka […]

Twetonda olw’ekikolwa ekyakoleddwa mu Ekereziya – Rev. Fr. Edward Muwanga

Rev Fr Edward Muwanga, Parish Priest wa St. Charles Lwanga Catholic Parish Ntinda avuddeyo neyetondera Bannayuganda kwekyo ekyaliwo omwana omuto omuwala bweyaggya okubatizibwa ngavuga ekimotoka ky’abaana mu Ekereziya. Obutambi obwatambuzibwa ku mutimbagano bwalaga omwana omuto ngayingira Ekereziya mu kimotoka ky’abaana eky’amasanyalaze okuva ku mulyango omunene okutuuka ku wolutaali era nga waliwo nowa kkamera eyali akwata […]

UPDF ne Poliisi eteguludde bbomu 4 enkolerere

Abebyokwerinda abawanvu nabampi bayiiriddwa e Kwata-Komamboga mu Kawempe Division, mu Kampala enkya yaleero oluvannyuma lwokukitegeerako nti wabaddeyo bboumu enkolerere. Abebyokwerinda basazeeko ekitundu kino nga bayigga abagambibwa okubeera abayeekera ADF. Maj. Charles Kabona, omwogezi w;ekibinja ekisooka eky’eggye lya UPDF agamba nti waliwo abayeekera ba ADF abakwatiddwa era ekikwekweto kyakugenda mu maaso okukwata abalala. Kigambibwa nti bateguludde […]

Buli eyatawala amabaati avunaanibwe – Pulezidenti Museveni

Nga 17-March-2023 Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Omuntu bwaba yabba amabaati agaali aga ba Karahuma nagawa abantu oba amasinzizo oba amasomero mu kitundu kyakiikirira buba buli bwanguzi (Political corruption). Kuba kugulirira balonzi basobole okukulonda. Wano obeera otadde ebyokwerinda by’Eggwanga. Abo bonna abagatwala balina okugazza oba omuwendo gw’ensimbi ogubalirirwamu amabaati gano naye era balina okukwasibwa Poliisi bavunaanibwe […]

Tetusobola kunyigiriza bantu mu misolo buli kadde – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Anita Among; “Tetukigenderera kulumya Bannayuganda naddala bwekituuka ku musolo. Tulina abantu bangi abatutunuulidde era bwotandika okuggya omusolo ku mafuta g’ettaala ngolemereddwa okutwala amasanyalaze mu byalo, kati olwo nakomawo? Ndowooza nze nnumiriddwa ennyo olw’abantu bange obutaba n’amasanyalaze mu byalo. Tebasola nakwegulira Solar.”