Sinayogerako n’abantu bange okuva lwebankwatira e Kenya – Besigye

Besigye ne Lutale bavunaaniddwa emisango 3 okuli okusangibwa ne basitoola mu bumenyi bw’amateeka

Oludda oluwaabi olwamaggye mu musango oguvunaanibwa Dr. Kizza Besigye wamu ne Hajji Obed Lutale nga lukulembeddwamu Reaphel Mugisha lutegeezezza Kkooti nti wakati wa October 2023 ne November 2024 mu bibuga okuli Athens ekya Greece, Geneva ekya Switzerland ne Nairobi ekya Kenya, Besigye ne Hajji Lutale batuuza enkiiko nekigendererwa ekyokusonda ensimbi n’ebintu ebirala basoble okutaataganya ebyokwerinda […]

Madubarah avunaaniddwa okuvuma Sipiika ne Gen. Muhoozi

Omutembeeyi w’engatto Juma Musuuza aka Madubarah 27, ye Tiktoker owa 5 okusimbibwa mu Kkooti navunaanibwa emisango gyokulebula Famire y’Omukulembeze w’Eggwanga era nasindikibwa ku alimanda. Madubarah avunaanibwa okuvaayo nagamba nti; “Singa Yoweri Kaguta Museveni (Pulezidenti) akeera nakwasa mutabani we omutamiivu obuyinza, Uganda yakufaafagana efuuke matongo mu naku 2 zokka, Bannayuganda mwesabire, musabire ne Uganda.” Kigambibwa nti […]

Omukungu aggyeeyo basitoola mu Lukiiko e Lango

Abebyokwerinda wamu n’abantu babulijjo basanze akaseera akazibu bwebabadde bagezaako okuggya emmundu ekika kya basitoola okuva ku eyali omumyuuka w’Omubaka wa Uganda mu Ggwanga lya Amerika Dickson Ogwang Okul eyabadde avudde mu mbeera mu lukiiko lwebabaddemu mu Lango Cultural Centre mu Kibuga Lira. Mu lukiiko luno abakulu babadde batudde okuteekateeka abakungu okuva mu Lango abanetaba mu […]

KCCA yanzikiriza okuzimba ku mwala gw’e Nakivubo – Hamis Kiggundu

Omusuubuzi w’omu Kampala Hamis Kiggundu amanyiddwa ennyo nga Ham avuddeyo natangaaza ku nsonga zokuzimba ku mwala gw’e Nakivubo oluvanynuma lw’abantu ab’enjawulo okuli nabalwanirizi b’obutonde bw’Ensi okuvaayo nebekubira enduulu. Ekiwandiiko ekivudde mu Kkampuni ya Kiggundu eya Ham Enterprises kiraga nti ebizimbibwa byebimu byateekebwateekebwa mu kuddamu okuzimba ekisaawe ky’e Nakivubo okusobola okutumbula endabika y’e Kibuga. Ayongerako nti […]

Gideon Tugume olina okwetondera Obuganda – Minisita Kiyimba

Obwakabaka bufulumizza ekiwandiiko okulabula Gideon Tugume olw’ebigambo bya kalebule by’azze ayogera ku KKatikkiro Charles Peter Mayigane Gavumenti ya Kabaka. Tugume era awereddwa ennaku 7 zokka okuva ekiwandiiko kino lwe kifulumye okwetonda n’okumenyawo by’azze ayogera ku mikutu gy’ebyempulizanya egy’enjawulo. Ekiwandiiko kisomeddwa Minisita Noah Kiyimba akola ng’Omwogezi w’Obwakabaka mu kiseera kino era kiteereddwako omukono Ssaabawolereza wa Buganda […]

Amaggye gaggibwe ku nnyanja – Al Hajji Nadduli

Eyaliko Minisita owaguno naguli era nga kati ye muwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’ebyobufuzi nokukunga Al Haji Abdul Nadduli ayagala abasirikale abaatekekebwa ku nnyanja (Protection Fisheries Unity) baggibweyo nga agamba nti ebikolwa byebakolerayo bittattana erinnya lya Gavumenti n’Omukulembeze w’Eggwanga. Hajji Nadduli agamba nti ebizibu ebiri ku nnyanja tebitaliza kubanga ebiri ku Kyoga byebiri ku Muttanzige, […]

Aba Our Lady of Carmel Busuubizi bajaguzza emyaka 125

Omuyuuka w’Omukulembeze w’Eggwanga Rtd. Maj Jessica Alupo avuddeyo nasiima Abakatuliki olwokulafubana ennyo okulaba nti batumbula enkola za Gavumenti ezenjawulo ezigenderera okugoba obwavu mu bantu. Alupo okwogera bino abadde Mityana aba Our Lady of Carmel Busuubizi Catholic Parish esangibwa mu Kiyinda – Mityana Diocese kwebajaguliza okuweza emyaka 125 okuva lweyatandikibwawo. Alupo yasabye Abakulu b’eddiini okuvaayo bakwataganire […]

Buganda yakuzimba ekyuuma kyayo ekisunsula emmwaanyi e Nakisunga

“Gavumenti ya Ssaabasajja esaba abantu ba Buganda okugenda mu maaso n’okulima emmwanyi era Obwakabaka bwawadde ekitongole kya Mwanyi Terimba Limited ettaka e Nakisunga ewagenda okuzimbibwa ekyuma ekisunsula emmwanyi n’ekisiika kaawa okwongera okugatta omutindo ku mmwanyi” – Oweek. Waggwa Nsibirwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro #EmmwanyiTerimba

5 balumiziddwa mu kabenje akagudde ku Entebe Express Way

Abantu 5 balumiziddwa byansusso, 8 nebabuukawo n’ebisago ebitonotono mu kabenje akagudde ku luguudo lwa Entebe Espress Way loole ya Kkampuni ya Coca-Cola Beverages Uganda bwetomereganye ne Takisi ya kkampuni ya Fly Express kiromita 4 e Kajjansi ngodda e Busega ekireeseewo akalippagano k’ebidduka. Kigambibwa nti akabenje kavudde kukuvuga endiima wamu n’okuyisiza ku ludda olukyamu. #ffemmwemmweffe