Pulezidenti Museveni akoze enkyuukakyuuka mu Poliisi

Bannamateeka ba Besigye bagaaniddwa okuyingira Kkooti

Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye wamu ne munne bwebavunaanibwa Hajji Obed Lutale Kamulegeya nga batuusibwa ku Kkooti y’amaggye e Makindye enkya yaleero. Bano baaniriziddwa wakati mu mizira abawagizi baabwe. Ekibinja kya Bannamateeka abesowoddeyo okuwolereza Dr. Kizza Besigye ne Hajji Obed Lutale Kamulegeya abakunukiriza 50 okuva mu Uganda ne Kenya bagaaniddwa okuyingira Kkooti y’amaggye e Makindye. […]

Bannamateeka ba Besigye bakedde ku ULS ku nsonga za Karua

Ekibinja kya Bannamateeka abawolereza Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye nga bakulembeddwa Loodi Mmeeya Erias Lukwago enkya yaleero bakedde ku kitebe kya Uganda Law Council okulondoola okusaba kwa Munnamateeka Martha Karua okuweebwa satifikeeti eyekiseera. Karua, ye munnamateeka omuggya agenda okukulembera ekibinja kya Bannamateeka 50 abavuddeyo okuwulereza Besigye mu Kkooti y’amaggye. #ffemmwemmweffe

Abatuuze bookezza emotoka y’abappunta e Luweero

Abatuuze ku kyalo Nsanvu Kibula, mu DIsitulikiti y’e Luwero olunaku lweggulo bavudde mu mbeera nebookya emotoka yabapunta abaleeteddwa okukuba ettaka. Abappunta babakubye mizibu nga babalaga okubba ettaka lyabatuuze wabaula Abappunta bategeezezza nti kino tebakimanyiiko nga bbo babapatanye kugenda kukuba ttaka eryabaddeko enkayaana okusobola okwerula ensalo. #ffemmwemmweffe

Njagala kifo kyomumyuuka wa Ssentebe wa NRM – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Annet Among avuddeyo nalangira nga bwagenda okwesimbawo ku kifo ky’omumyuuka wa Ssentebe omukyala owa National Resistance Movement – NRM ow’Eggwanga lyonna nga mu kaseera kano kirimu eyaliko Sipiika era omumyuuka asooka owa Ssaabaminisita Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga. #ffemmwemmweffe

Minisita Norbert Mao avuddeyo ku Munnamateeka ali mu musango gwa Alien Skin

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyamateeka n’essiga eddamuzi Norbert Mao avuddeyo ku Munnamateeka ali mu musango gw’omuyimbi Mulwana Patrick aka Alien Skin eyali asaba omulamuzi okweyimirirwa; “Wuliriza Munnamateeka ono! Essomero ly’amateeka lyeyasomeramu lyandimuddizza ebisale byeyasasula ngasoma! N’omuyizi ali mu mwaka gwe ogusooka yandisobodde okulambika ensonga eyeyimiriza omuntu!” #ffemmwemmweffe

Ssemujju ne banne abalala 7 bayimbuddwa

Omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemuju Nganda ne banne abalala 7 abakwatiddwa Uganda Police olwaleero nga bagambibwa okufuuka ebingingiri ku nguudo basimbiddwa mu maaso g’Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road nebavunaanibwa okukyankalanya entambula y’ebidduka. Abakwatiddwa kubaddeko; Ssemujju Nganda, Ingrid Kamateneti Turinawe, Masurudin Basalirwa, Abdul Ssebyala Bukenya, Nobert Chaku, Faridah Nangonzi ne Hillary Atwongirwe. Bano bakwatiddwa […]

Tetunagoba ku basibe abayimbuddwa – NUP

Ekibiina kya National Unity Platform kivuddeyo nekisambajja ebibadde biatambuzibwa Jennifer Nakanguubi aka Fulfigure nti abasibe Bannakibiina kya NUP abayimbuddwa olunaku lw’eggulo babagobye ku ofiisi z’ekibiina. NUP egamba nti bayaniriziddwa Ssaabawandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya era nebabasasulira nentambula eyabaleese era buli omu yaweereddwa ssente z’entambula ezibatuusa ewaabwe. Rubongoya agamba nti olwokuba batuuse kiro babasuuubizza okubasisinkana balabe […]

Ekisenge kya Besigye nsanze bakifuuzizza – Erias Lukwago

Munnamateeka wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye, Erias Lukwago avuddeyo nategeeza nti ebintu bya Besigye byeyalese mu wooteri mu Ggwanga lya Kenya yabifunye nti wabula yagenze okutuuka mu kisenge ono mweyali asula nga bambega okuva mu Directorate of Criminal Investigations – DCI eya Kenya bagifuuzizza dda bwatyo nategeeza nti talina bukakafu bwonna nti oba bano […]

Abantu 4 abakyuusiddwa ensingo basiibuddwa e Mulago

Eddwaliro ly’e Mulago lisiibudde abantu abalala 4 nga bano bakyuusiddwa ensigo nga bano babadde ku mutendera ogusembayo ogwobulwadde bwensigo. Kati abantu baweze 5 abakakyuusibwa ensigo mu Ddwaliro e Mulago. Executive Director Dr. Rosemary Byanyima yalangiridde kino. #ffemmwemmweffe