Enkuba ekedde okutonnya erese enguudo eziwerako mu Kampala nga zisaliddwako

Abakungu 3 ku Disitulikiti y’e Mubende bakwatiddwa

Akakiiko akalwanyisa obukenuzi wamu n’obuli bw’enguzi okuva mu maka g’omukulembeze w’Eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne Uganda Police Force kakutte abakozi ba Disitulikiti y’e Mubende 3 okuli; 1. John Baptist Muzibira – District Engineer, 2. Kamya John Birungi – Civil Engineer ne 3. Ssendikadiwa Vito Bosco – Acting […]

Palamenti eyisizza ekiteeso kyokugatta UNMA ku Minisitule evunaanyizibwa ku butonde bw’ensi

Palamenti eyisizza ekiteeso kyokukyuusa emirimu egibadde gikolebwa Uganda National Meteorological Authority (UNMA) gitwalibwe mu Ministry of Water and Environment oluvannyuma lwokugaana okuwabulwa okwakoleddwa akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku butonge bw’ensi nti UNMA esigalewo nga yetengeredde olw’emirimu egyekikugu gyerina okukola.

Kitalo! Munnamateeka afiiridde mu kabenje e Nkumba enkya yaleero

Kitalo! Munnamateeka Raphael Okiot nga abadde akola ne Maldes Advocates era Musomesa ku Ssetendekero wa Uganda Christian University yafiiridde mu kabenje enkya yaleero ku bitaala by’e Nkumba loole ya mixer bweremeredde omugoba waayo negwiira emotoka ye nemuttiramu.

Kitalo! Loole egwiridde emotoka mu bitaala e Nkumba

Akabenje kagudde ku bitaala bya Nkumba University ku luguudo lw’e Ntebe ddereeva wa Loole eya mixer nnamba UAN836D bwemulemeredde nagezaako okuwalampa pavement wabula negwiire emotoka eya buyonjo ekika kya Mitsubishi RVR nnamba UBQ 371P. Okusinziira ku babaddewo bagamba nti emotoka gyegwiiridde ebaddemu omuntu omu era nga kirozoozebwa nti yandiba nga afudde. Ye ddereeva wa loole […]

Mulekerawo okuleeta omuzannyo mu Palamenti – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Anitah Among yavuddeyo nategeeza Omubaka wa Iganga Municipality Peter Mugema okuleeta ensonga yebigambibwa nti waliwo abagezaako okutemula akulira oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform Joel Ssenyonyi nategeeza nti on Sipiika yasabye oyo yenna atiisibwatiisibwa okugenda aloope ku Poliisi okusinga okulowooza nti binaleetebwa mu Palamenti. Sipiika yategeezezza nti; “Banange mulemu kuzannyira […]

Abasuubuzi bagaddewo amadduuka mu Kampala ne Luweero

Abasuubuzi mu Kampala bakyagenda mu maaso nokwekalakaasa bano nga bagaddewo amadduuka gaabwe okulaga obutali bumativu bwabwe eri ekitongole ekisolooza omusolo ekya Uganda Revenue Authority (URA) ne Gavumenti olwemisolo gyebagamba nti gisusse obungi. Akediimo kabasuubuzi nga bawakanya emisolo gyebagamba nti gisusse keyongeddeyo nga kati katuuse ne mu ttawuni e Luweero ngeno nayo abasuubuzi bagaddewo amadduuka gaabwe.

Oweek. Nakate asaasidde aba Buganda Royal Institute

Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko akedde ku Buganda Royal Institute – Mengo okwongera okubasaasira n’okukubakugiza olw’okufiirwa abayizi mu kabenje akaaliwo ku lw’omukaaga ku luguudo lw’e Garuga. Ssenkulu w’ettendekero, Oweek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu amubuulidde ebyaliwo ku mbeera y’ekikangabwa kino ekyagwawo omwafiira abayizi abana n’ababiri okuvaawo n’ebisago. Era ategeezeza nti abasawo bagamba omu ku bali mu ddwaaliro akubye […]

NUP efunye ba Mmemba abapya okuva mu DP, NRM ne FDC

Waliwo abantu abavudde mu bibiina ebirala abegasse ku kibiina kya National Unity Platform nga bano baniriziddwa mu Kibiina Pulezidenti wa NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine ku kitebe ky’ekibiina ku Kavule e Makerere olwaleero. Bano bavudde mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo okubadde neyali Ssentebe wa LC 5 owa Disitulikiti y’e Masaka Jude Mbabaali. Abagasse ku […]

Munnakibiina kya NUP akubiddwa muzibu lwakuleekanira mu Kkooti

Omu ku Bannakibiina kya National Unity Platform 28 abagaaniddwa okweyimirirwa olunaku olweggulo yawuliddwako ngategeeza nti; “Tetugenda kwegayirira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okutuyimbula kuba tetulina musango. Baagala kututta olwokuba twali tulwanirira Eggwanga lyaffe. Batukwata lwakuba twali tukuuma bululu bwa Robert Kyagulanyi Bobi Wine nti kati babasuubira okwegayirira basobole okutuddiza eddembe lyaffe. Twazza musango ki? Tetujja kuggwamu […]