Bannakibiina kya NUP babagaanye okweyimirirwa
Ebyokwerinda ku Kkooti y’amaggye e Makindye binywezeddwa nga Bannakibiina kya National Unity Platform 28 baleeteddwa okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa. Abasibe naboluganda bavudde mu mbeera okuvannyuma lwa Kkooti okugaana okusaba kwabwe omulundi ogwokusatu. r the 3rd time. Ssentebe wa Kkooti eno Brig. Gen. Freeman Mugabe ategeezezza nti bano 28 tebalina bifo byankalakkalira gyebabeera nga singa baba […]
Olutalo mu kuziika Sarah Eperu
Wabaddewo okusika omuguwa mukuziika omulwanirizi w’eddembe Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Sarah Eperu olunaku lweggulo e Koloin, mu Disitulikiti y’e Ngora wakati w’ekiwayi kya FDC ekye Najjanankumbi ne kye Katonga. Kino kyadiridde abantu okwekutulamu ku ani aba asooka okwogera nga abatuuze bagamba nti owmana womu kitundu Patrick Oboi Amuriat yalina okusooka okwogera oli ayite […]
Sipiika Among alambudde ekisaawe ky’e Namboole
Sipiika wa Palamenti Anitah Among olunaku olwaleero akedde kulambula mirimu gyokudaabiriza ekisaawe kya Mandela National Stadium oluvannyuma lw’ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere ekya Confederation of African Football (CAF) okugaana okuyisa emirimu egyakoleddwa ku kisaawe kino egyawemense obuwumbi 80 nga omulimu gwakoleddwa ekitongole ky’Eggye lya UPDF ekizimbi ekya UPDF Engineering Brigade. Emirimu egibulayo kwekuli okuteekayo kkamera enkettabikolwa, […]
Minisita Ogwang jangu onnyonyole ensimbi obuwumbi 97 kyebwakoze e Namboole – Sipiika
Sipiika wa Palementi Anitah Annet Among alagidde Minisita Omubeezi ow’ebyemizannyo Peter Ogwang MP okuwaayo ensaasaanya y’ensimbi obuwumbi 97 obwakozeseddwa okuddaabiriza ekisaawe kya Mandela National Stadium – Namboole oluvannyuma lwa alipoota eyakoleddwa ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere ku lukalu lwa Africa ekya Confederation of African Football – CAF oluvannyuma lwokukirambula nekitegeeza nti omulimu ogwakoleddwa ekitongole ky’eggye lya […]
Nazze kuteesa ku bintu byamakulu mu Ggwanga – Sipiika Among
Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among olunaku olwaleero alemesezza Omubaka wa Lwemiyaga County Theodore Ssekikubo okuleeta ekiteeso ku buli bw’enguzi obwateekebwa ku mutimbagano mu mwoleso ogwakolebwa ku Social Media ogwatuumibwa #UgandaParliamentExhibition, nategeeza nti abadde ayagala kuwa Babaka budde bumala kukwata ku nsonga ezamakulu ennyo. Ono ategeezezza nti ekimukeeza okuva ewuwe okujja mu Palamenti kuba kukubaganya […]
NEMA ekutte emotoka zesanze zisomba omusenyu mu Lwera
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi mu Ggwanga ekya National Environment Management Authority (NEMA) Uganda kiboye emotoka, loole wamu tulakita ezikozesebwa okusima n’okusomba omusenyu okuva mu nnyanja Nalubaale mu Lwera. Ebirombe byonna bigaddwa. Maj. Joshua Karamagi akulembeddemu ekikwekweto akakasizza nti ekikwekweto kino kigenda kukolebwa mu birombe byonna 4 ebisangibwamu Lwera.
Pulezidenti wa NUP talina buyinza buyimiriza mu myuuka we – Mathias Mpuuga
Omubaka Mathias Mpuuga Nsamba; “Ndi mmemba wa Commission. Commission yemu eyawa Ababaka ba Palamenti ssente z’emotoka. Balekulira? Ompita otya omubbi? Ssemateeka wa National Unity Platform mumanyi bulungi. Manyi obuyinza bwa Pulezidenti webukoma. Alina obuyinza ku bintu ebimu, wabula okuyimiriza omumyuuka we si kyekimu ku byo. Ku nkomerero ya byonna tutendekebwa era tuli banjawulo. Terujja kukeera […]
Pressure 247 aziddwayo ku alimanda mu kkomera e Luzira
Ibrahim Musana aka Pressure 247 eyateekayo obutambi ngavvoola Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II wamu n’abakungu ba Gavumenti ab’enjawulo nga kwotadde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agaaniddwa okweyimirirwa nazzibwayo mu kkomero e Luzira okutuusa nga 29/April/2024. Uganda Police Force egamba nti ekyakola okunoonyereza kwayo.
Poliisi ekutte ababadde babba ssente kuba mobile money
Ekitongole kya Uganda Police Force ekirwanyisa obuzigu obw’emmundu nobutujju ekya Counter Terrorism kizinzeeko ekibinja ky’ababbi ababadde babba ssente kuba mobile money ngabakozesa emmundu. Poliisi ngeyambibwako abavuzi ba booda booda esobodde okusalako emotoka ekika kya Noah nnamba UBN360N mwebabadde batambulira ku luguudo lwa Northern Bypass ku nkulungo y’e Naalya okukakana ngekutteko 2 ku babbi 4 ababadde […]