LOP awaddeyo olukalala lw’abawagizi ba NUP abakwatibwa

Balaam enkalala azisaba kusaba kisonyiwo – Hon. Tinkasimire

Omubaka akiikirira Buyaga West Barnabas Tinkasimire avuddeyo nasaba Sipiika amutangaaza, Minisita omubeezi owa abaana n’abavubuka Balaam Ateenyi Barugahara kweyasinzidde okusaba olukalala lw’abantu abagambibwa okubuzibwawo. Tinkasimire yebuuzizza oba nga Balaam yagisabye kugenda kubasabira kisonyiwo ngayita mu Amnesty Commission. Ono ategeezezza nti bandiba nga bakubaganya ebirowoozo ku nsonga gyebatalina kwogerako mu kaseera ako. Ayongeddeko nti Uganda erina […]

Omukulembeze omulungi awuliriza era nateesa ne banne okugonjoola ensonga – Katikkiro

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Ababaka Hon. Mathias Mpuuga ne Hon. Hon Medard Sseggona bakiise embuga okugula emijoozi. Bano mbategeezeza nti ebigenda mu maaso mu Ggwanga mbigoberera bulungi era mbiraba. Mbajjukiza nti mu by’obufuzi mulimu ebisoomooza bingi, kyokka omukulembeze omutuufu y’oyo atuula n’awuliriza era n’ateesa ne banne okugonjoola ebisoomooza, kubanga okuwuliriza ssi kabonero ka bunafu wabula […]

Abazungu eno nsonga temugiyingiramu – Andrew Mwenda

Andrew M. Mwenda; “Eri mikwano gyaffe mu Mawanga gabeeru: bambi mwesonyiwe ensonga eno. Tubasiima okubeera awamu naffe, naye tetwetaaga buyambi bwammwe ku kino. Okuteeka envumbo ku bantu bano obutagenda mu nsi zammwe kikyuusa buli kimu, nemuba nga abaagala okutukakaatikako obuwangwa bwammwe mu Uganda.” Yabadde ayogerako eri Bannamawulire oluvannyuma l2a Kkooti etaputa Ssemateeka okugoba omusango gwebateekayo […]

URA yetaaga obuwumbi 30 okuzimba ettendekero

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) kivuddeyo nekitegeeza Palamenti nga bwekyetaaga obuwumbi obusoba mu 30 okuzimba ettendekero lyebyemisolo (Tax Academy) mwekinasomeseza abakozi baako wamu n’obuwumbi obulala obusoba mu 31 nga zino zakuzimba omukutu gwa ‘oil and gas monitoring system’ ogunakozesebwa okukungaanya omusolo ku mafuta nga Uganda yeteekerateekera okufulumya agaayo […]

Omulabirizi we Luwero omuggya Wilson Kisekka akyaddeko embuga

Omulabirizi we Luwero omuggya Wilson Kisekka akyaddeko embuga n’olukiiko lwakulembera nalwo obulabirizi buno Abadde wamu ne Mukyala we, bannaddiini, abakulira amasomero g’Obulabirizi mu Bulemeezi n’abakristo ab’enjawulo. Bwaabdde amwaniriza e Bulange, Katikkiro ayozaayozezza omulabirizi Kisekka olwokulondebwa mu kifo kino era nga obwakabaka bumulinamu essuubi ddene okutambuza emirimu gya Mukama Katonda. Amutegeezezza nti obukulembeze bujjiramu ebisoomooza, naye […]

Koffi Olomide ayagala kwesimbawo ku kifo kya Senate

Omuyimbi Koffi Olomide nga amannya ge amatuufu ye Antonie Abgepa 68, avuddeyo nategeeza nga bwagenda okwesimbawo ku kifo kya Senate okukiikirira Sud-Ubangi mu North-West Congo mu kalulu akagenda okubaawo nga 22 April nga wakukwatira ekibiina kya AFDC-A. Mu 2022, Koffi Olomide yalondebwa Pulezidenti Felix Tshisekedi nga Ambassador wa buwangwa bwa Congo.

Electoral Commission eyagala obukadde 500 okutegeka okusabira akalulu ka 2026 kabeere ka mirembe

Ababaka abatuula ku Kakiiko ka Palamenti aka Legal & Parliamentary Affairs Committee bavuddeyo nebawakanya ekya Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda okusaba akesedde 1 mu obuwumbi 119 okutandika okutegeka akalulu ka bonna aka 2026 nga Ababaka ba Palamenti abamu bagamba nti obuwumbi 18 obugenda okusasulwa Bannamateeka wamu n’obukadde 500 obwokutegeka emisa okusabira akalulu […]

Poliisi etandise okunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo emmere eyasangiddwamu ebitundu ebyekyaama

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nakakasa nga Poliisi bweyatadise edda okunoonyereza ku mmere egambibwa okuba yasangiddwamu ebitundu by’ekyaama ebyomwana omulenzi. Luke ategeezezza nti emmere yakwasiddwa dda abakugu okuzuula oba nga ddala bino bitundu bya kyaama ebyomuntu. Ayongeddeko nti omukyala nannyini kirabo ekitundu emmere wamu n’omukyala omulala aweereza […]

Omubaka Malende asiibuludde Abayisiraamu e Katwe Kinyolo

Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Shamim Malende olunaku lweggulo yasiibuludde Abasiraamu ku Muzigiti gwa MASJID Katwe Kinyolo (Gaaza). Oluvannyuma yafunyeemu akafubo n’obukulembeze bwomuzigiti wamu n’abakyala nebatandikawo SACCO ebayambe okwekulaakulanya. Yatonedde abakyala abasulirira okuzaala Mama kits. Bamubuulidde ebizibu byebayitamuvmu kitundu kyabwe okuli ebbula ly’emirimu, abaana okuva mu masomero, kasssiro asusse wamu nobukambwe […]