Abantu nga Among si kyekizibu kya Uganda – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Abantu nga Sipiika Anita Among si kyekizibu. Ekizibu kya kyennyini be bantu abenkwe abakolera abagwiira. Bano bali bankwe abakolera abagwiira ababi nga abasiyazi. Lwaki obeera oyogera nnyo ku bantu nga Anita Among ku social media okusinga kwabo abali b’enkwe? Ntandise okufuna obubaka ku bali b’enkwe bano era tugenda kubaanika. Mbadde mpulira […]
Pulezidenti weebale kukuza muto wange Muhoozi – Sipiika
Sipiika wa Palamenti Anitah Among; “Njagala okukwebaza nnyo (Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni) olwokukuza muto wange (mwanyinaze Muhoozi Kainerugaba) okufuuka CDF. Ffe tukiririza mu linnya lya Kitaffe, omwana n’omwoyo. Tukyaliwo naawe Taata, bwonotugamba okweyongerayo tujja kudda eri omutabani nga tulungamizibwa omwoyo omutukuvu.”
Pulezidenti Museveni aguddewo eddwaliro erizimbiddwa Sipiika Among
Omukulembeze w’Eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akuutidde abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okukomya okulinda nga Gavumenti okubaako kyebakolera abantu wabula bagikwasizeeko okuggusa ensonga ze balaba nti zitwala Eggwanga mu maaso naddala bwegutuuka ku by’obulamu. Okwogera bino Pulezidenti Museveni abadde aggulawo ettendekero ly’eddwaliro erya Bukedea Teaching Hospital erisangibwa mu Disitulikiti y’e Bukedea eryazimbiddwa Sipiika wa Palamenti Annet Anita […]
Eyaliko Omulabirizi we Mukono Bishop Micheal Solomon Ndawula Ssenyimba, aziikiddwa ku lutikko e Mukono.
Obwakabaka bakulembeddwamu Katikkiro Charles Peter Mayiga era yatuusizza obubaka bwa Kabaka. Kamalabyonna asabye abantu abakuguse, abakulembeze b’eddiini, n’abakulembeze b’ensu, naabo abalina obuvunaanyizibwa obwenjawulo, okwettanira enteekateeka z’Obwakabaka nga Bishop Micheal Ssenyimba bwakoze. Kikulu nnyo okutegeera ennono n’obuwangwa bwo, n’obuvunaanyizibwa bwolina mu kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko, nga bBishop Ssenyimba bwabadde abyenyigiramu obutereevu newankubadde abadde munnaddiini.
Pulezidenti Museveni webale kunonda ku bwa Minisita – Agens Nandutu
Omubaka Agnes Nandutu “Njagala okwebaza Omukulembeze w’Eggwanga olwokumpa omukisa okuweereza ku mutendera guno omunene mu Gavumenti nga Minisita.Yadde abantu bangi tebalina kyebali bandabamu, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ye alina kyeyandabamu era nononda ng’omu ku bantu 100 abomugaso mu Ggwanga era nkoze kyonna kyensobola okuweereza Eggwanga lino. Nalibadde mpeereza bulungi okusingawo naye wabaddewo okusoomooza, nkoze kitono […]
Balaam njakumuyigiriza okwambala essuuti ne ttaayi – Hon. Sseggona
Hon. Medard Lubega Sseggona (Busiro East) avuddeyo nayaniriza okulondebwa kwa Barugahara Balaam Ateenyi ku bwa Minisita Omubeezi avunaayizibwa ku nsonga z’abaana n’abavubuka nategeeza nti be bantu abalina okukola ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu kkabineeti ye. Ono yeyamye okuyamba Balaam okuyiga okwambala essuuti ne ttaayi.
Baafuna bukadde 50, Sseggona 118 yaziggyeewa – Hon. Dombo
Hon. Emmanuel Dombo nga ye Dircetor of Information and Publicity owa National Resistance Movement – NRM; “Batugamba nti ababaka ba Palamenti baafuna obukadde ataano ataano, Omubaka Sseggona bamusanze nezisingako awo. Mulimu abaafuna enyingi okukira ku baanabwe? Oba alina abalala beyafunira?” Yasinzidde ku bakanaabe abakwatiddwa olwokubba obukadde 118 okuva mu motoka ya Hon. Sseggona gyeyali abalekedde […]
LOP Ssenyonyi azizzaayo ssente ezenaku 4
Akulira Oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Joel Ssenyonyi avuddeyo nategeeza Bannamawulire nga bweyazizzaayo ssente ezayitamu kwezo zeyalina okufuna bweyali agenze e Nairobi okulambula ku Mubaka Ssegirinya Muhammad FANS PAGE, ono asabye ne Sipiika Anitah Among okuzaayo zeyafuna.
Poliisi yetaaga obuwumbi obusoba mu 7 okugula ennamba eza digito
Under Secretary mu Uganda Police Force Aggrey Wunyi avuddeyo nategeeza Palamenti nga Poliisi bweyetaaga obuwumbi 7 n’obukadde 714 zibayambe okugula ennamba empya eza digito ezanateekebwa ku motoka za Poliisi. Wunyi ategeezezza nti buli motoka yetaaga emitwalo 75 okuwandiisibwa nga Poliisi erina emotoka 10,245 zerina okuwandiisa.