Netonda ku lwabakyala bonna olwekikolwa kya Mercy – Hon. Namugga

Musonyiwe Mercy olwekyo kyeyakoze banage – Hon. Agasha

Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Mitooma Hon. Juliet Agasha Bashiisha avuddeyo olunaku olwaleero nategeeza Palamenti nti Omukyala Mercy Timbitwire Bashiisha eyakwatiddwa olwokukuba omusirikale wa Poliisi y’ebidduka oluyi bweyetonze olwekikola ekyo nategeeza nti ku lunaku kino lwekyatuukawo yalina ebizibu ebyali bimusumbuwa. Ono ayongeddeko nti Mercy mulamu we nga mukyala wa Mwanyina, nti era olunaku lw’eggulo bweyatwaliddwa […]

Kivumbi Achileo Kkooti emukirizza okweyimirirwa

Olunaku olwaleero Kkooti y’Amaggye ekirizza Munnakibiina kya National Unity Platform Achileo kivumbi okweyimirirwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 2 ezobiliwo ate abamweyimiridde bbo obukadde 10 ezitali zabuliwo. Ono alina okulabikako mu Kkooti buli luvannyuma lwa naku 14 ku Lwokutaano nga takirizibwa kufuluma Kampala ne Wakiso nga tafunye lukusa lwa Kkooti. Munnamateeka era Omubaka wa […]

Situlina kyetusobola kukolera bafere akaseera kano – Bbosa UCC

Omwogezi w’Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bifulumizibwa ku mpewo ekya Uganda Communications Commission – UCC Ibrahim Bbosa agamba nti bakyasanga obuzibu okunoonya abafere abayingira mu mikutu gya Lediyo nebatandika okufera abantu. Bya Kamali James #ffemmwemmweffe

IGP asiimye musajja we PC Tusiime Abdullah

Omusirikale wa Uganda Police Force okuva mu kitongole ky’ebidduka ku Poliisi ya Kira Road Police Constable Tusiime Abdullah, asiimiddwa Inspector General of Police olwokweeyo mu mbeera yonna okuweereza Bannayuganda. Tumusiime yakwatibwa ku katambi ngayambako ebidduka ebyali mu kalippagano ngenkuba etonnya wiiki eyise. Bya Kamali James #ffemmwemmweffe

Bannamawulire bagaaniddwa mu kkooti y’amaggye e Makindye

Bannamawulire bagaaniddwa okuyingira Kkooti ya Amaggye e Makindye, Bannakibiina kya National Unity Platform gyebatwaliddwa okuvunaanibwa emisango emiggya oluvannyuma lwokukiriza emisango. Bano kuliko; Olivia Lutaaya, Sanya Muhuydin Kakooza n’abalala 17 abakiriza emisango nebasaba ekisonyiwo kya Pulezidenti oluvannyuma lwokumala emyaka 4 mu kkomera nga tebavunaanibwa. Bano basooka nebegaana emisango gino wabula oluvannyuma nebekyuusa. #ffemmwemmweffe

Kisaka ne banne batwaliddwa mu Kkooti

Abakungu okuva mu Kitongole ekivunaanyizibwa ku Kibuga Kampala abagobwa omukulembeze w’Eggwanga gyebuvuddeko okuli eyali Executive Director Dorothy Kisaka,  Deputy ED Eng.  Edward  Luyimbazi ne Director  of Public Health  Dr. Daniel Okello batwaliddwa mu Kkooti y’Omulamuzi w’e Kasangati okuvunaanibwa omusango gw’obulagajjavu ekyaviirako abantu 30 okufiira mu njega eyaggwa e Kiteezi. Bano bakwatibwa ku lunaku olwokusatu bwebaali […]

Ssaabasajja Kabaka asiimye obuweereza bwa Bishop Ssekadde

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye obuweereza bw’Omugenzi Bp. Ssekadde Nnyinimu ategeezeza nti mu kiseera omugenzi we yabeerera omulabirizi w’e Namirembe yakolagananga bulungi n’Obwakabaka wamu ne Nnamulondo era abadde muntu wa kisa, omwetowaze ng’awa buli muntu ekitiibwa era waakusaalirwa nnyo. Asaasidde nnyo Nnamwandu Allen Ssekadde, bamulekwa n’olukiiko lw’Abalabirizi olw’okuviibwako omuntu waabwe. Obubaka bw’Omuteregga busomeddwa […]

Poliisi e Kiboga ekutte abadde yenyigira mu kuwamba abaana

Omwogezi wa Uganda Police Force ow’ettunduttundu lya Wamala Racheal Kawala avuddeyo nategeeza nga Poliisi e Kiboga bweyakutte Bukenya Rashid, 25 ngasoma busawo ku kigambibwa nti ono abadde yenyigira mu kuwamba abantu mu Disitulikiti y’e Kiboga. Kigambibwa nti ono bwebamukunyizza yakirizza okwenyigira mu kuwamba abaana 2 okuli; eyawambibwa nga 5 October ow’emyaka 4 nebasaba emitwalo 30 […]

Matia tunnyonyole, aba URA batuuka batya okweyongeza akasiimo – Sipiika

Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anita Annet Among avuddeyo nateeka Minisita w’Ebyensimbi Matia Kasaija ku nninga okuvaayo mu bunnambiro annyonyole Palamenti ku bigambibwa nti abakozi mu kitongole ekiwooza ky’emisolo ekya Uganda Revenue Authority (URA) begemulira akasiimo ka nsimbi obuwumbi 14 mu obukadde 600 so nga bano baalina kugabana ensimbi obuwumbi 11 mu obukadde 638 nga akasiimo […]