Twagala kulaba ku Ddwaliro lya Mbuya Military Hospital – Hon. Muwanga Kivumbi

Pulezidenti Museveni awadde eyakwata abatemula Lwomwa emotoka

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo naawa omusajja eyakwata abatta Omukulu w’Ekika ky’Endiga Lwomwa Bbosa Daniel ekirabo olunaku olwaleero mu State House Entebe. Pulezidenti Museveni awadde Abdul Katabazi omuddaali gwa Nalubaale era namwebaza okubeera omuvumu era yakola obuzira obutagambika. Agambye nti ono naye kati afuuse omulwanyi era neyeyama okuwa aba booda booda abalala abenyigira mu kugoba […]

Munnamateeka Malende akedde ku Kkooti e Nabweru

Omubaka omukyala owa Kampala era Munnamateeka wa basibe Bannakibiina kya National Unity Platform Hon. Shamim Malende yatuuse dda ku Kkooti e Nabweru ku misango gyobutujju egivunaanibwa abawagizi ba NUP okuli Magala Umar n’abalala 10. Bano kwateekebwako abalala 2 okuli; SSEBAGALA RASHID ne SSEKABEMBE SALIM, ye RESTY BIRUNGI ne FARIDA MASABA bagibwako emisango era nebayimbulwa.

Abakozi ba KCCA bagenda kusasulwa – Sipiika Among

Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among; “Mu Lukiiko olutudde ettuntu lyaleero wakati w’Abakulembe b’ekitongole ekitwala ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA okubadde; Executive Director Dorothy Kisaka ne Lord Mayor Erias Lukwago, tutuuse ku nzikiriziganya ku nsonga yobutasula bakozi balongoosa kibuga. Ndi musanyufu okubategeeza nti tusobodde okumaliriza ensonga eno.”

Byabashaija awagidde ekyokusengula ekkomera ly’e Luzira

Akulira ekitongole ky’amakomera mu Ggwanga ekya Uganda Prisons Service Johnson Byabashaija, avuddeyo nawagira ekiteeso kyokukyuusa ekkomera ly’e Luzira. Ono agamba nti kiba kyabuvunaanyizibwa okukozesa ettaka lino ekintu ekivaamu ensimbi era ngakiwa abantu abawerako emirimu okusinga okuteekawo ekkomera.

Nickson ne banne bejjeerezeddwa Kkooti y’Amaggye

Nickson Agasiirwe ayimbuddwa Kkooti y’Amaggye oluvannyuma lwokumuggyako emisango ye nabalala 2 okuli Hernet Muhangi ne Col. Nduhura Atwooki. Bano babadde bavunaanibwa emisango egyokuyambako n’okuwamba abantu, okuzzaayo Bannansi ba Rwanda ababundabunda ku mpaka wamu n’okuwa Bammemba ba Boda boda 2010 emmundu (okulemererwa okukuuma ebyokulwanyisa).

LOP akyaliddeko ku Hon. Ssegiriinya

Akulira Oludda Oluvuganya Gavumenti Joel Ssenyonyi akulembeddemu Ababaka Bannakibiina kya National Unity Platform okuli; Hon. Betty Ethel Naluyima Wakiso Dist. Woman MP, Hon. Hon Nyeko Derrick wamu ne Munnakibiina kya Democratic Party Uganda Hon. Luttamaguzi Paulson bakyaliddeko ku Mubaka wa Kawempe North Hon. Ssegirinya Muhammad FANS PAGE mu Ddwaliro lya Aga Khan Hospital-Nairobi. Bano bategeezezza […]

Pulezidenti Museveni atenderezza eyakwata abatta Lwomwa

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo naawa omusajja eyakwata abatta Omukulu w’Ekika ky’Endiga Lwomwa Bbosa Daniel ekirabo olunaku olwaleero mu State House Entebe. Pulezidenti Museveni awadde Abdul Katabazi omuddaali gwa Nalubaale era namwebaza okubeera omuvumu era yakola obuzira obutagambika. Agambye nti ono naye kati afuuse omulwanyi era neyeyama okuwa aba booda booda abalala abenyigira mu kugoba […]

Sirina buzibu bwonna ne Hon. Mpuuga – Bobi Wine

Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Sirina buzibu bwonna na mumyuuka wange Hon. Mathias Mpuuga Nsamba. Namulonda ku kifo kyomumyuuka wange, ekya Leader of the Opposition in Parliament, ne Parliamentary Commissioner. Mukulembeze mulungi era muwa ekitiibwa. Kitwagala akole ekyobugunjufu.”

IGP awaddeyo offiisi mu butongole

Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti IGP Martin Okoth Ochola olunaku olwaleero awaddeyo offiisi eri omumyuuka we DIGP Major General Tumusiime Kasigazi nga kino kidiridde endagaano ye okuggwako kuntandikwa y’omwezi guno. Omukolo gukoleddwa ku kitebe kya Poliisi mu kyaama.