Sirina buzibu bwonna ne Hon. Mpuuga – Bobi Wine
Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Sirina buzibu bwonna na mumyuuka wange Hon. Mathias Mpuuga Nsamba. Namulonda ku kifo kyomumyuuka wange, ekya Leader of the Opposition in Parliament, ne Parliamentary Commissioner. Mukulembeze mulungi era muwa ekitiibwa. Kitwagala akole ekyobugunjufu.”
IGP awaddeyo offiisi mu butongole
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti IGP Martin Okoth Ochola olunaku olwaleero awaddeyo offiisi eri omumyuuka we DIGP Major General Tumusiime Kasigazi nga kino kidiridde endagaano ye okuggwako kuntandikwa y’omwezi guno. Omukolo gukoleddwa ku kitebe kya Poliisi mu kyaama.
Poliisi etaddewo obukadde 10 eri oyo abawa amawulire agakwata ku Luggya
Uganda Police Force evuddeyo neteekawo obukadde 10 nga buno bwakuweebwa oyo yenna anavaayo nagiwa amawulire aganagiyamba okuzuula Luggya Bbosa Tabula, nga kigambibwa nti ono yeyali emabega w’olukwe lwokutta Lwomwa omubuze Eng. Daniel Bbosa, eyali omukulu w’ekika ky’Endiga eyattibwa ku Sunday, nga 25 February 2024, e Lungujja, mu Lubaga.
Ab’Enzikiriza ya Faith of Unity bajaguza emyaka 44
Ab’enzikiriza ya Faith of Unity omwaka guno bajaguzza okuweza emyaka 44 era nebabakubiriza okwenyigira mu pulogulaamu za Gavumenti basobole okwegobako obwavu nga bayita mu kwekulaakulanya. Hajjat Hadijah Uzeiye Namyaalo yasabye abantu b’e Bunyoro okwaniriza enteekateeka za Gavumenti okusobola okufuna ensimbi eziyimirizaawo amaka gaabwe. Bino Namyalo yabyogeredde mu Ttawuni y’e Muhoro mu Disitulikiti y’e Kagadi ku […]
Akabenje kagudde e Namagunga
Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka SP kananura Michael avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo akabenje akamaanyi akagudde e Namagunga nga kabaddemu tuleela, ttipa ne pickup nekasalako oluguudo lwa Kampala – Jinja. Ategeezezza abagoba b’ebidduka bonna nti emotoka zonna ezidda e Jinja kati ziyita Katosi nga zikyamira Wantoni – Mukono, nga nezidda e Kampala […]
Aba Poliisi 2 bakwatiddwa lwa bubbi e Katuna
Omwogezi wa Uganda Police Force ow’ettundutundu ly’e Kigezi Elly Maate avuddeyo nategeeza nga abasirikale ba Poliisi ya Uganda 2 nga bano bakolera ku nsalo ye Katuna mu Disitulikiti y’e Kabale bwebakwatiddwa ababoyinza nga kigambibwa nti babadde benyigira mu bubbi. Maate agamba nti bano kuliko Police Constable (PC) Gracious Tusiime 25, ne PC Zechariah Ekiyankundire 26 […]
Njakulwanyisa abo bonna abesenza ku ttaka lyamakuumiro g’ebisolo – Pulezidenti Museveni
Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister olunaku olwaleero akiikiridde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku mukolo gwokukuza olunaku lw’ebisolo olwa UN World Wildlife Day ogubadde ku ssomero lya Kagorogoro Primary School mu Disitulikiti y’e Kyenjojo. Mu mubaka bwa Pulezidenti bwasomye, ategeezezza nti okukuza olunaku luno mukisa gwamaanyi okukuuma obutonde obuli mu nsi eno obwenjawulo era Pulezidenti […]
Edduwa ekulembera omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan esomeddwa olwaleero
Olunaku olwaleero Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Shamim Malende yetabye mu Dua ekulembera omwezi Omutukuvu ogwa Ramadhan ku muzigiti gw’e Kyadondo. Edduwa eno yetabiddwako Omulangira Kasim Nakibinge, Omulangira Khalifan, Supreme Mufti Muhammad Galabuzi n’abalala.
Sirina kasiimo kenafuna nga nvudde ku bwa LOP – Hon. Winnie Kiiza
Eyaliko akulira oludda oluvuganya Gavumenti owa Palamenti eye 10 LOP Emeritus Hon. Winnie Kiiza avuddeyo nasambajja ebigambibwa nti yateesa ku kasiimo kobuweereza nga LOP weyawummulira. Ono agamba nti ebintu ebyamuweebwa kwaliko; accolade, diary, calendar n’ensawo era nga bino byaweebwa abo bonna abalina ebifo byobukulembeze mu Palamenti ye 10. Ono agamba nti bintu bino yabifuna mu […]