Kkampuni ya GoGo Electric ekoze booda booda z’amasanyalaze

Omuti gwomuwafu abakiise webatuula okuteeka omukono ku ndagaano yolwenda gugudde

Omuti gw’omuwafu (Canarium Tree) webateera emikono ku ndagaano y’olwenda gwagudde oluvannyuma lwa namutikwa w’enkuba eyatonnya ekiro ekyakeesa bbalaza mu Ssetendekero wa Kyambogo. Omuti guno gukwata ekifo kyakumwanjo nnyo mu byafaayo bya Buganda kuba kigambibwa nti Olubiri lwa Ssekabaka Muteesa I lwali mu kifo kino nga terunasengulwa kutwalibwa Mengo. Photo Credit; Daily Monitor

Ekitongole kya Keddi Foundation kiduukiridde abantu ababundabunda

Ekitongole kya Keddi Foundation kiduukiridde abantu ababundabunda mu nkambi y’e Kyaka II n’ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo obwenjawulo. Bano babawadde ebintu ebikozesebwa mu kusoma omuli ebitabo, emmere wamu n’ebintu ebirala eri ssomero lya Angles Care School, abantu abawangalira mu Kyaka II Refugee Camp wamu n’abatuuze abalala. CEO wa Keddi Foundation Dr. Keddi Steven bweyabadde awaayo […]

Poliisi ekutte abadde abba nnamba z’emotoka

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Oweyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyakutte Muwanguzi Isaac 21, nga mutuuze w’e Salaama ku bigambibwa nti abadde abba ennamba z’emotoka. Isaac yakwatiddwa olunaku lw’eggulo e Kabowa oluvannyuma lwokumunoonyeza ebbanga. Okunoonyereza kulaga nti Isaac abadde abba ennamba z’emotoka nebyuuma ebirala ku motoka mu bitundu by’e […]

Poliisi ekutte musajja waayo eyabba piki piki gyebakwata ku CPS

Omwogezi wa Uganda Police SCP Enanga Fred avuddeyo nategeeza nga Poliisi ya Kampala Metropolitan bweyakutte musajja waayo PC Ahabwe Michael eyadduka ku Poliisi ya CPS oluvannyuma lwokubba piki piki ya y’omuvuzi wa booda booda Walusimbi Samuel. Piki piki ya Walusimbi yali ekwatiddwa mu kikwekweto kya Poliisi y’ebidduka era omusirikale ono nemuweebwa okugitwala mu yard ya […]

Omukulu w’essomero akwatiddwa lwakujingirira ebyava mu bigezo bya P.7

Lillian Ayebazibwe, ngono mukulu wa Ssomero lya Bubaale Primary School e Bushenyi akwasiddwa Uganda Police Force ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu Ggwanga ekya Uganda National Examinations Board-UNEB ku bigambibwa nti yagingiridde ebyava mu bigezo bya P.7 nebatuuka n’okuweebwa ebifo mu S.1 mu masomero agenjanwulo so nga ebigezo by’abayizi bano 114 byakwatibwa ku nsonga ezekuusa ku […]

LOP n’Ababaka ba Opposition bagaaniddwa okuyingira e Lubowa

Ababaka ba Palamenti okuva ku ludda oluvuganya Gavumenti nga bakulembeddwamu LOP Joel Ssenyonyi bagaaniddwa okuyinga mu kifo awazimbibwa eddwaliro lya Lubowa Specialized Hospital olunaku olwaleero nga wakayita emyezi 3 gyokka nga Palamenti eyisizza ssente obuwumbi 2 mu obukadde 700 nga zino zakulondoola mirimu egikolebwa mu kuzimba eddwaliro lino ezasabwa Ministry of Health- Uganda. LOP Joel […]

Abasse omutaka Lwomwa babadde 3 – SCP Fred Enanga

Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nakakasa nti abantu 3 bebenyigidde mu kuttemula omukulu w’ekika ky’Endiga Lwomwa Eng. Daniel Bbosa. Bano kuliko; Enock Sserunkuma, ono nga yatiddwa abatuuze ababakutte ne Noah Lujja ngono ali mu Ddwaliro e Mulago gyafunira obujanjabi olwebisago bweyafunye ng’abantu babakutte ate ye owookusatu kigambibwa nti yemuludde nadduka. Poliisi […]

Katikkiro akungubagidde Omutaka Lwomwa

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Nfunye amawulire g’okutemulwa kw’Omutaka Lwomwa Eng. Daniel Bbosa, omukulu w’Ekika ky’Endiga, akubiddwa amasasi ng’atuuka ewuwe e Lungujja akawungeezi ka leero. Tetunnamanya bali mabega w’ettemu lino. Ebirala tuggya kubitegeeza Obuganda nga tubitegedde. Kitalo nnyo nnyini. Omwoyo gw’omugenzi Mukama agwanirize.”

Kitalo! Omukulu w’Ekika ky’Endiga akubiddwa amasasi

Kitalo! Omutaka Lwomwa omukulu w’Ekika ky’Endiga, Daniel Bbosa, akubiddwa amasasi agamutiddewo e Lungujja bwabadde ava Katosi Mukono kulambula b’Amasiga. Gutusinze Ayi Bbeene twakuumye bubi!