Drone gyebabatiza ennamba nga tesasude musolo ekwatiddwa URA
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) kyakutte emotoka Toyota Hiace Drone eyagibbwa mu Ggwanga lya South Sudan neyingizibwa mu Ggwanga oluvannyuma nannyiniyo nagiteekako ennamba y’emotoka endala ekika kya Drone nga tagisasulidde musolo. Ono teyakoma kugibatiza nnamba wabula yagiteekamu n’ekikuubo kya blue ekya takisi olwo netandika okusaabaza abantu ku luguudo […]
Ow’ekitiibwa omulamuzi nze ndi mulalu – Pressure 247 (Musana Ibrahim)
Musana Ibrahim aka Pressure 247 eyali yegumbulidde okuvuma Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku Tiktok asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi owa Kkooti ya Buganda Road navunaanibwa emisango okuli okuvvoola nokwogera obubaka obwobukyaayi ku Kabaka wa Buganda ne Pulezidenti Museveni. Wabula Musana ategeezezza omulamuzi nti ye byeyakola mu butambi […]
Ab’amaggye 22 abakuzibwa gyebuvuddeko bambaziddwa ennyota zaabwe
Bannamaggye 22 abakuzibwa nga 30-January-2024 olunaku olwaleero bambaziddwa enyota zaabwe mu butongole ku mukolo ogubadde ku kitebe ky’amaggye ga UPDF e Mbuya nga gukulembeddwamu CDF Gen. Wilson Mbasu Mbadi. Abakuziddwa kuliko ne Director ISO Colonel Charles Oluka eyakuziddwa okutuuka ku ddaala lya Brigadier. Bya Kamali James
Omuliro gukutte ekisulo ky’essomero e Lukaya
Nabbambula w’omuliro atanategeerekeka kwavudde akutte ekisulo ky’abayizi abawala ku ssomero lya God Cares Christian Primary School erisangibwa e Kirinnya mu Lukaya Town Council mu Disitulikiti y’e Kalungu mu kiro ekikeesezza olwaleero era ebintu by’abayizi byonna nebisaanawo. Mpaawo muyizi agiiridde mu muliro guno. Ye omwogezi wa Poliisi ow’ettunduttundu ly’e Masaka Kasirye Twaha ategeezezza nti Uganda Police […]
Baminisita abekisiikirize ku ludda oluvuganya balayiziddwa
Baminisita abaggya abekisiikirize ku ludda oluvuganya Gavumenti abenjawulo olunaku olwaleero bakubye ebirayiro okutandika okuweereza mu butongole nga ku bano kwekuli n’Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Shamim Malende olunaku olwaleero alayiziddwa mu butongole nga Minisita owekisiikirize avunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu ng’omukolo guli ku Imperial Royale hotel mu Kampala. Omukolo guno gwetabiddwako […]
Abaagalana babiri bibasobedde bweberemeddemu e Jinja
Alex Muhumuza 38, nga akola bwa Ddereeva e Kawolo Lugazi mu Disitulikiti y’e Buikwe yakiguddeko embeera bweyamutabuseeko nalemera mu ky’ekinnyi kyomukyala omufumbo gweyabadde asona obukeeka mu loogi emu mu Buwenge Town Council eyategeerekese nti ye Sarah Namagoye omutuuze w’e Buwenge Town Council mu Disitulikiti y’e Jinja district. Kigambibwa nti bano basasulidde ekisenge bwebamaze ekiro kiramba […]
Nkiikiridde LOP mukuggulawo omusomo – Hon. Mathias Mpuuga Nsamba
Omumyuuka w’omukulembeze wa National Unity Platform – NUP owamasekkati Owek. Mathias Mpuuga Nsamba; “Nkiikiridde akulira Oludda oluwabula Gavumenti Hon. Joel Ssenyonyi mukuggulawo workshop eyenaku 2 ey’Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko ka Government Assurances and Implementation, akamu ku bukiiko bwembalirira obukulirwa oludda oluwabula Gavumenti. Kano kakubirizibwa Hon. Abed Bwanika ngamyuukibwa Hon. Joyce Bagala Ntwatwa. Ebbanga […]
Olukiiko olukulembera abavubuka mu Kika ky’Omutima Omuyanja, lusisinkanye Katikkiro
Olukiiko olukulembera abavubuka mu Kika ky’Omutima Omuyanja, lusisinkanye Katikkiro ne lumwanjulira enteekateeka zaabwe ez’okwekulaakulanya. Ssalongo Kiwutta Robert Ssenkasi Kakeeto, Ssentebe w’abavubuka mu Kika ky’Omutima omuyanja, nga yakulembeddemu olukiiko luno, agambye nti ezimu ku nsonga ezireese ewa Katikkiro kuliko; Okweyanjula nga abakulembeze b’Abavubuka mu Kika Katikkiro mwava, Okumusiima emyaka 10 nga akutte ddamula, Okuyunga olutindo wakati […]
Eddwaliro e Luweero litubidde n’omulwadde eyafuna akabenje
Eddwaliro ekkulu e Luweero litubidde n’omukyala Margaret Nanyonjo ngali mu myaka nga 70 oluvannyuma lwokutwalibwayo nga afunye akabenje najanjabwa nga 30-December-2023 wabula nga n’okutuusa olwaleero tewabangawo wa luganda lwe ajja kumuddukira. Bano bagamba nti Nanyonjo okuva lweyaweebwa obujanjabi tewabangayo wa luganda lwe noomu ajja kumuddukira yadde okumukyalira. Ronald Ssonko nga ye Medical Social officer w’eddwaliro […]