Abazzi b’emisango bakwatagana nnyo okutusinga – AIGP Magambo
Akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukola okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Uganda Police Force ekya Criminal Investigations Directorate AIGP Tom Magambo Rwabudongo; “Mu mbeera ekyuuse ennyo ng’abamenyi b’amateeka bakwatagana nnyo nokuwuliziganya okutusinga, gye tukoma okunyweza amangu n’enkolagana y’abakwatibwako bonna gye tukoma okukola ekirungi.” #ACR2023
Ssenkulu wa Makerere University, Prof. Barnabas Nawangwe asiimye Buganda
Ssenkulu wa Makerere University, Prof. Barnabas Nawangwe, agamba nti Makerere erina okwesiima olw’okufuna Ssekabaka Sir Edward Muteesa II nga omuyizi waabwe. Kikulu nnyo okukuuma obuwangwa, era ekaddiyizo erigguddwawo lya kutumbula eby’obulambuzi mu Uganda. Yebaziza obwakabaka olwobukadde 70 obuyambyeko okuddaabiriza ennyumba Ssekabaka Muteesa II mweyasulanga, wamu nokuwagira omulimu gwokutandikawo e kaddiyizo.
Ekaddiyizo ly’ebyafaayo bya Ssekabaka Sir Edward Muteesa II mu ssettendekero wa Makerere ligguddwawo
Ekaddiyizo ly’ebyafaayo bya Ssekabaka Sir Edward Muteesa II mu ssettendekero wa Makerere ligguddwawo Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga kulwa Ssaabasajja Kabaka yaligguddewo enkya ya leero. Ssaabasajja Kabaka n’Olulyo olulangira bawaddeyo ebifaananyi eby’enjawulo ebiraga ebiseera bya Ssekabaka Muteesa II nga akyali muyizi ku ssettendekero ono. Mu biweereddwayo kuliko Ssekabaka Muteesa II nga yeetaba mu by’emizannyo ky’enkana ebya […]
Kkooti Enkulu ekirizza abantu 4 abavunaanibwa okusanyaawo obujulizi mu musango gwa Katanga okweyimirirwa
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu mu Kampala Isaac Muwata olunaku olwaleero akirizza bawala b’omugenzi Katanga 2 okweyimirirwa ssaako omukozi wa waka George Amanyire ssaako n’omusawo Otai Charles. Omulamuzi Muwata alagidde Patricia Kakwenza ne Martha Nkwanzi okusasula obukadde 2 ezobuliwo wamu n’okuwaayo ppaasippooti zaabwe eri Kkooti nga tebanayimbulwa. Omulamuzi alagidde bano 4 okulabikangako ewa Registrar wa Kkooti […]
Obubenje bweyongera mu 2023 – Uganda Police
Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nga obubenje ku nguudo mu mwaka 2023, bwebweyongera bwobugeraageranya n’obwo obwagwawo mu 2022 nga obwaloopebwa ku Poliisi bwali 23,608. Poliisi egamba nti ku buno obubenje 4,179 bwali ddekabusa, 12,487 bwali bwamaanyi ate 6,942 tebwali bwamaanyi nnyo. #ACR2023
Bannakibiina kya NUP 2 bagiddwako emisango
Omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende era Munnamateeka wa National Unity Platform ategeezezza nti olwaleero Kkooti y’e Nabweru essudde emisango gyobutujju gyebadde evunaana Bannakibiina kya NUP okuli Masaba Faridah ne Resty Birungi. Wabula ate ku 9 okusigaddewo okuli Magala Umar nabalala 9 eyongeddeko abalala 2 okuli; Ssekabembe Rashid ne Ssebaggala Rashid.
Sipiika asisinkanye LOP Ssenyonyi
Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anita Among akyaddeko mu offiisi yakulira Oludda Oluwabula Gavumenti Joel Ssenyonyi okukubaganya ebirowoozo ku bigenda okuteesebwako mu lutuula lwa Palamenti olwaleero. Ensonga enkulu eri ku mmeeza yeyokugatta ebitongole bya Gavumenti ebimu.
Katikkiro atandise okulambula abalimi b’emmwanyi e Buweekula
Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Ntandise okulambula abalimi b’Emmwanyi, era nsookedde wa mulimi Kayengere John ku kyalo Kyetume mu Ggombolola ya Ssaabagabo Kasambya era ono alina yiika 26 ezemmwanyi. Omukulembeze omutuufu atuuka ku bantu, tatuula mu woofiisi mwokka, era nsaba abakulembeze babeere eky’okulabirako eri abantu be bakulembera nga bakola ebyo byebaagala abantu bakole.”
Owa Military asse muganzi we
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo omusirikale wa Military Police Corporal Andebo Collins avudde mu mbeera n’asindiirira muganzi we Aturinda Peroni amasasi bwamusanze ngalinnya booda booda. Oluvannyuma me Andebo yekubye amasasi. Kitegeerekese nti abaagalana bano bamaze ebbanga lya myaka nga 5 nga balina obutakkaanya era […]