Ntwala obudde bungi okulowooleza Uganda – Hon. Byanyima
Omubaka wa Bukanga North mu Disitulikiti y’e Isingiro Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Nathan Byanyima agamba nti Ababaka abalala bwebaba bebaka essaawa 6 ekiro ye yebaka 3 essaawa endala 3 azimala alowooleza Uganda.
Katikkiro asanyukidde ekyokukwata omuvubuka abadde avuma Kabaka
Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Nneebaza Minisita wa Kabaka ow’Amawulire era Omwogezi w’Obwakabaka Kazibwe Israel olw’ebigambo bino: Omuntu yenna eyepampalika ku Nnamulondo (ng’omuvubuka ono, Ibrahim Musana) abadde avvoola Kabaka n’Obwakabaka, tuggya kweyambisa woofiisi ya Ssaabawolereza okumukwata n’okumusimba mu kkooti, asibwe.”
Bannamawulire ababagobedde ebweru ku Kkooti y’amaggye e Makindye
Bannamawulire ababadde bagenze okusaka amawulire ku Kkooti y’amaggye etudde e Makindye ngewulira okusaba kwa Bannakibiina kya National Unity Platform 28 okwokweyimirirwa babafulumizza wabweru wa ggeeti enkya yaleero. Kkooti ngekubirizibwa Brig. Gen. Freeman Mugabe tewadde nsonga lwaki bano ebafulumizza. Kinajjukirwa nti bano bakwatibwa mu December 2020 mu kunoonya akalulu k’obwa Pulezidenti nga babadde ku alimanda ku […]
Musana Ibrahim abadde yegumbulidde okuvuma Kabaka akwatiddwa
Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga bwebakutte Musana Ibrahim eyeyita Pressure 24.7 ku Tiktok ngabadde yegumbulidde okuvuma abantu okuli ne Ssaabasajja Kabaka, nokukuuma omuliro mu bantu.
Okusaba kwokweyimirirwa kwabannakibiina kya NUP kwa 19 March
Bannakibiina kya National Unity Platform 28 n’olunaku olwaleero tebakiriziddwa kweyimirirwa era Kkooti y’amaggye etegeezezza nti bano bakukomezebwawo nga 19-March-2024 Kkooti lwenatunulamu mu kusaba kwoludda oluwaabi oluwakanya ekyokweyimirirwa kwabano. Bya Christine Nabatanzi
Muyimbule mutabani wange talina musango – Maama wa Wandera
Maama wa Ibrahim Wandera, omu ku bawagizi b’Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine abakwatibwa yayozezza ku munnye bweyabadde asaba Gavumenti okuyimbula mutabani we. Wandera y’omu ku bawagizi ba NUP 32 abali mu kkomera nga bavunaanibwa omusango gwokusangibwa ne bbomu 13 ngabavunaanibwa mu Kkooti y’amaggye e Makindye. Bano bakwatibwa mu December […]
FUFA etongozza omupiira omutongole ‘Zakayo’
Ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) olunaku lw’eggulo kyatongozza omupiira ogunasambibwa mu mpaka zonna ez’omupiira eziri wansi waakyo ngomupiira guno gwatuumiddwa Zakayo okujjukira ezike erigambibwa okuba nga lyeryali lisinga obukulu mu Uganda eryali limanyiddwa nga Zakayo eryafa mu 2018. #itallstartswithaball
Kitalo! Omukulu w’essomero afiiridde mu kabenje ngajja e Kampala okukima ebyavudde mu bigezo
Kitalo! Omukulu w’essomoro lya Awara College Etori mu Kibuga Arua afiiridde mu kabenje bwabadde ajja e Kampala okukima ebyavudde mu bigezo by’abayizi ba S.4 era ng’abayizi 7 babadde bayitidde mu ddaala erisooka. Ms Lillian Letaru (ayimiridde) yafiiridde mu kabenje akagudde wakati wa Kafu–Kigumba ku luguudo lwa Arua – Gulu ku ssaawa emu eyookumakya motoka mweyabadde […]
Abawagizi ba NUP bangi abakyali mu makomera – David Lewis Rubongoya
Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya; “Nga tuvuddeko katono ku ky’abawagizi ba NUP abavunaanibwa mu Kkooti y’amaggye, waliwo abawagizi abalala abavunaanibwa emisango egyekuusa ku byobufuzi mu Kkooti. Abamu ku bano babadde ku alimanda okumala ebbanga erissukka mu mwaka ate abalala ebbanga eriweza omwaka naye tebavunaanibwanga! Bonna bazooka kuggalirwa okumala ebbanga nga babatulugunya bwebaali […]