Abakungu ba KCCA 3 bagaliddwa
Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma avuddeyo nakakasa nga abakungu b’ekitongole ekitwala ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA abafumuulwa okuli; Dorothy Kisaka, David Luyimbazi, ne Dr. Daniel Okello bebakwatiddwa era nabatwalibwa mu buduukulu bwa Poliisi obwenjawulo okuli Kira ne Natete okutuusa olunaku olw’enkya bwebanasimbibwa mu Kkooti bavunaanibwe emisango egyenjawulo. Bya Kamali […]
Nnaalongo Nabirye eyagobwa mutabani we ku ttaka limudiziddwa
Nammwandu NnaalongoYokosabeti Nabirye 93, omutuuze ku Kyalo Busowobi Bulyangada mu Gombolola y’e Nakigo olunaku olwaleero afunye akamwenyumwenyu Abekitongole kya Redeem International bwebamuyambyeeko okuddizibwa ku ttaka lyabba Omugenzi Sousipateero Kaziba, mutabani w’omugenzi ngategeerekeseeko erya Kaziba kweyali amugobye ngamugamba adde ewaabwe kuba bba yaffa dda nga talina kyakola ku ttaka lyabwe. Bya Willy Basoga Kadama #ffemmwemmweffe
Aba NUP bakirizza emisango gyokulya mu nsi olukwe
Bannakibiina kya National Unity Platform okuli Olivia Lutaaya ne Saanya Muhuydin kwoteeka nabalala 14 olunaku olwaleero baleeteddwa mu Kkooti y’Amaggye e Makindye nebakiriza omusango gwokulya mu nsi olukwe oluvannyuma lwokumeera mu kkomera okuva mu 2021. Lutaaya bakuzzibwa mu Kkooti nga 21 October boongere okunnyonyola engeri bano 15 ku 32 gyebazzaamu emisango gino. Bya Christina Nabatanzi […]
Kisaka ne banno muggye mubitebye – Poliisi
Omwogezi wa Uganda Police Force Rusoke Kituuma avuddeyo nategeeza nti abakungu mu Kitongole ekivunaanyizibwa ku Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA abagobwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni gyebuvuddeko okuli eyali Executive Director Dorothy Kisaka, omumyuukabwe Eng. Luyimbaazi David ne Dr Daniel Okello, director for health bwebagenda okulabikako eri ba bambega ba Poliisi ku lwokusatu […]
LOP Ssenyonyi agaaniddwa okuyingira offiisi za Roko
Ababaka okuva ku ludda Oluwabula Gavumenti nga bakulembeddwamu LOP Joel Ssenyonyi, okubadde n’Omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende bagaaniddwa okuyingira offiisi za kkampuni enzimbi eya ROKO construction e Kawempe, gyebabadde bagenze okulondoola ensimbi ezisoba mu buwumbi 260 ezagiteekebwamu okuva mu ddubi lyensimbi mweyali etubidde. #ffemmwemmweffe
Shakib bubefuse ne Kazoora e Lugogo
Ekikonde kinyooka e Lugogo, Shakib wa Zari bugenda kumwefuka ne Kazoora. Abawagizi beyiye mu bungi naye kale waliwo eyabanoonya gyebuvuddeko ku mbaga yagundi temwalabika!? Nomubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende nowuwe tebalutumiddwa mwana. #ffemmwemmweffe Bya Nampala Yusuf
Abavubuka batemyetemye abatuuze e Mityana
Abavubuka nga 7 ababadde babagalidde ejjambiya nga bali wakati w’emyaka 19-20)2 nga babadde batambulira ku booda booda balumbye amaka ga Ssonko ngono yaddukanya essomero lya Dreams Primary School, e Mityana nebatematema bebasanze mu nnyumba noluvannyma nebakuliita ne ssente za School Fees zebabadde bakungaanyizza okuva mu bazadde. #ffemmwemmweffe
Sipiika wa Nakawa agabidde abaliko obulemu obuggaali
Sipiika wa kkanso ye Nakawa Luyombya Godfrey ngayita mu Kitongole kye ekya Godfrey Luyombya Foundation adduukiridde abantu abaliko obulemu n’obuggaali bubayambeko mukutambula okusobola okubaako kyebekolera mu bulamu. #ffemmwemmweffe
Poliisi eyodde abakedde okwekalakaasa
Ekibinja kyabalwanirizi b’obutonde bw’ensi 5 okuva mu Weka Afri Sustainable Biodiversity and Food Security bakwatiddwa ku Jinja Road bwebabadde bekalakaasa okulaga obutali bumativu bwabwe ku kusanyizibwawo kwolutobazi lwa Lwera ngomusango baguteeka ku basigansimbi okuva e China balimiramu omucceere. Bya Kamali James #ffemmwemmweffe