Embeera y’Omubaka Ssegiriinya ekyali mbi
Ng’omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Hon Ssegiriinya Muhammad aka Mr Updates akyafuna obujanjabi mu Ddwaliro lya Aga Khan University Hospital e Nairobi mu Kenya olwaleero abadde yetaaga okuteekebwako omusaayi era Bannakibiina okuli Bagonza Thomas ne Alex Lusswa Luwemba oluvannyuma lwokeberebwa nga bafaananya naye blood group omussayi gubagiddwako.
Kitalo! Omuyimbi Baby Deo afiiridde mu kabenje
Kitalo! Omuyimbi Deo Tadeo Mbaziira aka Baby Deo, eyakuyumbira ‘Kawanga Yogera’ afiiridde mu kabenje mu kiro ekikeesezza olwaleero.
Muweerere abaana bazadde banange – John Ssegawa
Omukulu John Ssegawa alina obubaka eri abazadde; “Obutasoma buluma bukulu, twefiirize kyonna ekisoboka tuweerere abaana bazadde, okwewala emitwe nga gino.” Ono abadde ayanukula Eddy Kenzo eyavuddeyo nawagira GRAVITTY OMUTUJJU ayagala Bobi Wine okuzimba eddwaliro ku kitundu ku ttaka lye e Busaabala okuli Beach ya One Love.
Fred Nyanzi atikiddwa
Munnakibiina kya National Unity Platform Nyanzi Fred Ssentamu, olunaku olwaleero yomu ku bayizi abatikiddwa. Ono yamalirizza ddiguli eyokubiri eya Peace and Conflict Studies okuva mu Makerere University.
NRM kiddiiniddiini – Hon. Mbidde
Hon. Mukasa Fred Mbidde; “National Resistance Movement – NRM kiddiiniddiini ekirina Pulezidenti nga Kabona omukulu. Nokutuusa olwaleero tebakiriziganyanga nti oba balina Kibiina oba mugendo!”
LOP agenze okulambula ku Hon. Ssegiriinya
Akulira Oludda oluwabula Gavumenti era omwogezi wa National Unity Platform Hon. Joel Ssenyonyi atuuse mu Ddwaliro lya Aga Khan University Hospital mu Kibuga Nairobi e Kenya okukebera ku Mubaka wa Kawempe North Hon. Ssegiriinya Muhammad aka Mr Updates ali mukufuna obujanjabi. Embeera gyalimu sinnungi era yetaaga essaala. Mungu tusaba amussuuse
Gravity asabye Pulezidenti Museveni ssente okuzimba Eddwaliro
Olwaleero GRAVITTY OMUTUJJU bwabadde ayimba ku kisaawe e Kololo asabye Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuwaayo ssente basobole okuzimba eddwaliro e Busaabala.
Lwaki mwaggyeewo emotoka ezabadde zitutwala okulambula enguudo – Hon. Namugga
Omubaka Gorreth Namugga (Mawogola South) avuddeyo nasaba Obukulembeze bwa Palamenti bunnyonyole lwaki emotoka ezabadde ziteereddweyo okukozesebwa Akulira oludda oluwabula Gavumenti wamu n’Ababaka okugenda okulambula enguudo mu Kampala okulaba embeera mweziri lwaki zagiddwawo.
Big Eye abuuza omusolo ogusasulwa Bannayuganda gyegulaga
Big Eye StarBoss avuddeyo; “Eggwanga lituuse mu mbeera nti kati Eddwaliro omuntu alina kulibanja muntu ssekinoomu eyakeera neyekolera ssente ze, sso ssi Gavumenti gyetuwa emisolo! Emisolo gyetuwa giraga wa?”