Aba Allied Health Professionals’ Council bakoze ekikwekweto e Wakiso

Abafamire ya Cecilia Ogwal baleese muwala we okumuddira mu bigere

Abafamire y’omugenzi Cecilia Barbara Atim Ogwal baleese muwala we, Rosemary Alwoc Ogwal okudda mu bigere bye, ng’omubaka omukyala owa Disitulikiti ye Dokolo wadde ono abadde awangaalira Bungereza naye bagamba nti asobola bulungi okutuukiriza ebiruubirirwa bya Maama we. Bano bagamba nti ono bamuyitiddemu dda ku bizibu by’ kitundu era mwetegefu okukolera abantu. Wabula era bategeezezza nti […]

UNRA epakuse okukuba oluguudo Pulezidenti lweyayogeddeko ebiraka – Ofwono Opondo

Omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo avuudeyo ku mukutu gwa X; “Oluvannyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuvaayo neyemulugunya ku X ngayagala bamunyonyole lwaki oluguudo lwa Mukono-Kisoga-Nkokonjeru-Jinja olwatongozebwa mu 2016/17 lwonooneka ku sipiidi etagambika. Uganda National Roads Authority – UNRA edduse misinde okuziba ebinnya ku luguudo lwa kiromita 68.”

Kibedi Cox asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira

Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Ronald Kayizzi asindise blogger Kibedi Ronald Cox 48, ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa ku lwokutaano lwa wiiki eno lwokukola vidiyo ngavuma Maama ko ne muwala we. Ono avunaaniddwa emisango okuli Cyber Harassment wamu n’okutyoboola ekitiibwa ky’omukyala. Kigambibwa nti okuva omwaka gwa 2021 okutuusa nga 18-January-2024 Kibedi lweyakwatiddwa, […]

Ebigambo ebyogeddwa Hon. Macho bisimuulwe – Sipiika Tayebwa

Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Rt. Hon. Thomas Tayebwa alagidde Clerk wa Palamenti okusimuula mu Hansard ebigambo ebyogeddwa Omubaka wa Busia Municipality Geoffrey Macho ngalumiriza ekibiina kya National Unity Platform okusosola mu mawanga nga agamba nti mu bantu bekyakalonda okujjuza ebifo ku bukiiko bwa Palamenti obwoludda oluvuganya abenjawulo abasingako bava mu Buganda.

Sibuli ssente eziweebwa State House ne Office of the President nti ziriibwa Pulezidenti Museveni – Minisita Musasizi

Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku by’Ensimbi Henry Musasizi, avuddeyo nasambajja ebyayogeddwa Ababaka nti Pulezidenti alina abakozi 1,757 n’emotoka 666 nga bino byonna bisaasanyizibwako ssente z’omuwi w’omusolo mpitirivu. Ono agamba nti sibuli nsimbi eziweebwa State House Uganda ne offiisi ya Pulezidenti nti ziriibwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ng’omuntu.

Uganda ekwata kya 141 mu nsi ezisinga okulya enguzi

Ekitongole ekirondoola obwerufu n’obuli bwenguzi mu nsi yonna ekya Transparency International kifulumizza alipoota eraga Amawanga bwegakoze omwaka oguwedde. Mu alipoota efulumiziddwa olwaleero Uganda yemu ku mawanga aganokoddwayo okwenyigira ennyo mu buli bw’enguzi nga ekutte kifo kya 141 ku Mawanga 180. Peter Wandera Executive Director wa Transparency International Uganda agamba nti waliwo obukwatane bw’amaanyi wakati w’obuli […]

Kkooti eragire Attorney General atuwe abantu baffe – NUP

Aboluganda lw’abawagizi ba National Unity Platform 18 ababuzibwawo nga ne gyebuli kati tebamanyiddwa gyebali balumbye Kkooti Enkulu mu Kampala nga baagala eteeka Attorney General ku nninga ababuulire abantu baabwe gyebali ku buvunaanyizibwa bwe. Bano nga bakulembeddwamu Nabukeera Monica mukyala wa Kibalama JohnBosco eyali omubalirizi w’ebitabo mu BAT Uganda eyabuzibwawo nga 3-June-2019 nga negyebuli eno tabikako […]

Omu ku bagambibwa okubba ssente okuva mu maka g’omuwanika wa NRM akwatiddwa

Uganda Police Force ekutte omuvuzi wa Booda Booda, Ivan Lukungu 25, ateeberezebwa okwenyigira mu bubbi bwa ssente eziwerera ddala obuwumbi 2 n’obukadde 200 nga zino zabbibwa mu maka g’omuwanika w’ekibiina kya National Resistance Movement – NRM, Barbara Nekesa Oundo e Muyenga mu December w’omwaka oguwedde ng’ennaku z’omwezi 15. Ono yasangiddwa mu kibuga ky’e Masaka nga […]

Emotoka y’omwami w’Essaza Busujju eyabiddwa ezuuliddwa

Emmotoka y’omwami wa Kabaka ow’Essaza Busujju, Kasujju Mark Jjingo Byekwaso Kaberenge II eyabbiddwa mu kiro ekikeesezza olwaleero, ezuuliddwa mu ggalagi emu e Nakuwadde-Bulenga. Esangiddwa ng’etimbuddwako number plate y’emabega, n’okusiimuulako obulambe bwayo.