Ebyentambula bitaataganyiziddwa ku luguudo lw’e Masaka – UNRA

Waliwo eddwaliro erikyamanja obukadde 15 olw’okujanjaba Ssimbwa – Dr. Besigye

Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye avuddeyo ku Moses Ssimbwa; “Amazima gal nti Moses Ssimbwa mumanyi nnyo era ayise mu bingi ebitiisa! Nkikakasa bulungi awatali kwekuba ndobo nti Ssimbwa yali mulwanirizi wa ddembe Munnakibiina kya FDC e Jinja era yatuuka ku bingi olwokubeera kino. Bwaba nga yafuna akabenje akabulijjo lwaki […]

Abalaalo mudde ewammwe ogwomulembe gwokubungeeta ggwagwako – Hon. Muwanga Kivumbi

Ababaka ba Palamenti abava mu Buganda abegattira mu Buganda Parliamentary Caucus bavuddeyo nebasitula eddoboozi lyabwe ku balaalo abagobwa okuva mu mambuka ga Uganda abatandise okwesenza mu bitundu byamasekkati ebyenjawulo. Ssente waabwe Muhammad Muwanga Kivumbi avuddeyo nategeeza nti abalaalo bano basaanye bakimanye nti omuzze gwokutambuza ensolo mutala ku mutala byali bya dda, era bakimenya nti omuddo […]

URA ekutte ababadde bakukusa sigala

Omwogezi w’ekitongole ekivunaanyizibwa kukuwooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) Ibrahim Bbosa ategeezezza nti bakutte abantu 4 ku bigambibwa nti babadde bakukusa bbokisi za sigala 64 nga ono abalirirwamu obukadde 140 nga bano babakwatidde ku kyalo Ssenge, mu Muluka gw’e Naluvule mu Disitulikiti y’e Wakiso. Sigala ono yayingiziddwa mu Ggwanga nga bamuyisa mu […]

Minisitule y’ebyenguudo mwanukule ku luguudo lw’e Buikwe olwakakolebwa – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Oluguudo oluva ku lutindo okudda e Mukono ngoyise e Buikwe bakalumaliriza emyaka 2 egiyise naye lutandise okufuna ebinnya. Nabyerabiddeko bwenabadde ngenda e Jinja era njagala Minisitule gyekikwatako ennyinyole. Oluguudo twakalumaliriza!”

Abasirikale 9 baweereddwa emiddaali

Abasirikale ba Uganda Police Force 9 okuli neyaliko omumyuuka w’omuduumizi wa Poliisi DIGP Maj. Gen. Sabiiti Muzeyi baweereddwa emiddaali ku mukolo gwokujaguza amenunula ogwa #NRMAt38 ougabadde ku kisaawe kya Wakitaka COU mu Kibuga Jinja. Abasirikale bano baweereddwa omuddaali gwa Exemplary Service Order Second Class Medal era nga basiimiddwa olw’ebbanga lyebaweerezza mu Poliisi, okwewayo n’emirala nga […]

Tugenda kwanika bemuyita aba Opposition mu kaseera akatuufu – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Ffe abali mu byokwerinda tumanyi ku Ssimbwa Moses kyayogerako era mu kaseera akatuufu tugenda kwanika ebibinja byabalimba byebayita Oludda oluvuganya. Bagenda neboogera n’abazungu nga baagala okufuula Uganda ensi ekiririza mu biruubirirwa by’Abazungu. Bino babikola mu nsi endala naye tebamanyi maanyi ga National Resistance Movement – NRM.”

Aba Opposition bebatambulira mu Drone nga bawamba abantu – Moses Ssimbwa

Moses Ssimbwa avuddeyo neyetondera Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olwakyayise okukonjera Gavumenti ye nti abakuuma ddembe baamutulugunya kyokka nga yali akozesebwa ab’oludda Oluvuganya Gavumenti. Ssimbwa agamba bano baamulimbalimba nti bamutwala mu ddwaliro bamujjanjabe okugulu okumuluma nebamusuubiza ensi n’eggulu nga bamusaba agenda ku ttivi ez’enjawulo alumirize Gavumenti okumutulugunya ekintu naye kyeyakkiriza. Wabula ono agamba nti amaze emyaka […]

Aba Opposition banimbisa nti Gavumenti yantulugunya – Ssimbwa

Moses Ssimbwa avuddeyo nalumiriza aba Opposition okumulimbalimba nti bamutwala mu Ddwaliro e Nairobi okufuna obuyambi wamu n’okumusuubiza ebintu ebiwerako byebatamuwa. Ono agamba nti bwebamutuusa e Nairobi gyeyakizuulira nti baali bamututte mu lukungaana era nti nebamugamba ayogere nti yali atulugunyiziddwa Gavumenti. Wabula Munnamawulire Ronald Muhinda ku mukutu gwe ogwa X (Twitter) nga 27-November-2022 yavaayo okwanukula @Faruk […]

Abakozo abasoba mu 1000 bonna Pulezidenti bamukolera ki? – Hon. Ssemujju

Omubaka akiikirira Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Uganda; “Osobola okutumatiza lwaki Pulezidenti Museveni alina abakozi 761 mu Offiisi ye n’abakozi 996 mu maka ge? Omukulembeze waffe alina abakozi abakolera ewuwe nga basasulwa ssente ya muni wa musolo; Abalongoosa 51, Abafumbi 52, abalabirira ennimiro 80, abalabirira awaka 29, ba ddobi 10, abawandiisi abekyaama 106, abaweereza 14, abayambi […]