Pulezidenti Museveni atuuse e Jinja ku mikolo gyamenunula
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ngalambula enyiriri z’abasirikale ku mukolo gwokujaguza emyaka 38 egyamenunula. Emikolo emikulu giri ku kisaawe kya St. John’s SS Wakitaka mu Jinja North City Division.
Ebyokwerinda binywezeddwa ku kitebe kya NUP ku Kavule
Uganda Police Force eyiye basajja baayo okunyweza ebyokwerinda ku Kitebe kya National Unity Platform NUP e Makerere Kavule. NUP erina enteekateeka olunaku olwaleero okulaga Documentary Film, Bobi Wine: The People’s President. Bya Kamali James
Ogwa Besigye okukuma omuliro mu bantu gwongezeddwayo
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road olunaku olwaleero ayongeddeyo omusango oguvunaanibwa Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Rt. Col. Dr. Kizza Besigye ogwokukuma omuliro mu bantu oluvannyuma lwoludda oluwaabi okulemererwa okuleeta obujulizi. Besigye avunaanibwa okukuma omuliro mu bantu nga ayagala bekalakaase olw’okulinnya kw’ebbeeyi y’amafuta nga gino yajizza mwaka guwedde. Besigye abadde ayagala omusango guno gugobwe […]
Abayizi 88,269 bebagudde ebigezo bya PLE 2023
Executive Director wa Uganda National Examinations Board-UNEB Dan Odongo avuddeyo nategeeza nti Division U (Ungraded) ewaabwe omuyizi abeera alemereddwa okufuna obubonero obuyinza okumuweebwa Div4. Bano baba tebalina kuweebwa kifo mu S1. Agamba nti omwaka guno abayizi abafunye Division U guli waggulu nga bali 88,269 (10.4%) nga kino kisaanye kitunulwemu. #PLE2023
Minisita ettaka bakuguza mpewo – Kkooti Enkulu e Lira
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu mu Kibuga Lira Alex Mackay Ajiji eragidde Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Abakozi n’ekikuka ky’abantu, Betty Amongi okuva mu bunnambiro ku ttaka lyeyazimbako emu ku nnyumba ze oluvanyuma lwa Kkooti okukizuula nti ettaka lino bamuguza mpewo. Okusinziira ku Kkooti mukyala wa Okaka Minisita Amongi gwagamba okuggulako ettaka teyassa mukono ku ndagaano ekkiriza […]
Bannamateeka ba Molly Katanga baagala Poliisi ebawe ebisumuluzo byawaka
Bannamateeka ba Molly Katanga basabye Kkooti eragire abasirikale ba Uganda Police Force okuva mu maka gaabwe e Mbuya webasiisira okuva nga 2-November-2023. Wabula oludda oluwaabi luwakanyizza kino nerutegeeza nti bambega ba Poliisi balina bisumuluzo bya kisenge byokka ekya Molly Katanda. DPP era ategeezezza nti tewali musirikale wa Uganda Police Force yenna akuuma maka gano. Bannamateeka […]
Omuliro gukutte ebyuuma bya kasooli e Nakuwadde
Ebintu byabukadde na bukadde bisirikidde mu nnabbambula w’omuliro akutte ebyuuma byakasooli ku kyalo Nakuwadde mu Disitulikiti y’e Wakiso enkya yaleero. Kigambimbwa nti omuliro gwatandise eyo mu matumbi budde ku ssaawa nga kumi, wabula ekyavuddeko omuliro guno tekinategeerekeka.
Kyaddaaki Molly Katanga aleeteddwa mu Kkooti
Omulamuzi wa Kkooti ya Nakawa Elias Kakooza enkya yaleero agaanye nnamwandu wa Henry Katanga, Molly Katanga okubaako kyayogera ku musango ogumusomeddwa ogwokutta bba nga 21-November-2023 nategeeza nti guno gwa nnaggomola ogulina okuwulirwa Kkooti Enkulu yokka. Molly aleeteddwa emotoka ya Uganda Police Force okuva mu Ddwaliro lya IHK oluvannyuma lwa DPP okuvaayo ku bbalaza neyemulugunya ku […]
Pulezidenti Museveni asisinkanye Ssaabaminisita wa St. Vincent and Grenadines
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Muganda wange Ssaabaminisita Ralph E. Gonsalves owa St. Vincent and Grenadines, netwogerera okumala akabanga ku bikwatagana ne Caribbean. Twayogedde ku nkolagana wakati wa mawanga gombi. Nsiima nnyo obuyambi bweyawaddeyo mu nkungaana zino.”